ONO BWINO yagwikirizza Gen Edward Kale Kayihura eyali omuduumizi wa poliisi e Mubende ku mikolo gy’okujaguza emyaka 39 okuva ye ne banne nga baduumirwa pulezidenti Yoweri Museveni bwe baatwala obuyinza bw’eggwanga.
ONO BWINO yabuuzizza Kayihura ku buvunanyizibwa n’ebiragiro ebyamuweereddwa okutuukiriza mu kalulu ka 2026 okutaasa entebe y’omukulu obutamutwalibwako ab’oludda oluvuganya. Gen Kayihura yagaanye okubaako ky’ayogera ku nsonga eno n’atusuubiza okutuyita mu kiseera ekituufu alambulule ensonga wabula n’asaba bannayuganda okwagala ggwanga lyabwe nga y’esonga lwaki bo mu 1980 baasalawo okugenda mu nsiko okulwana n’emmundu okusuula gavumenti z’abakulembeze beyayise bannakyemalira.
Kayihura yalagudde nti abavubuka bwe bataveemu muze gwakwerowoozaako bokka n’okwagala okulya ensi yaabwe nga buli omu ayagala okusinga munne omukazi oba omusajja omulungi, obugagga n’ebirala Uganda eyolekedde amatigga n’okusaanawo ate nga abavubuka be balina okutwala mu maaso bo ebyabalwanya.
Kayihura ategeezezza nti bweyabeerera mu poliisi yeewunyanga okulaba abavubuka abato nga bazimba amayumba agatemya ng’abantu, okugula emmotoka ez’ebbeeyi enyo naye zeyali tasobola kugula, okukola embaga ez’amaanyi enyo nga kino kyamuleetera okutya n’ababuuza gye bajja ssente ezibeeyagaza bwebatyo nga wano weyategeerera nti abamu baali benyingira mu bikolwa by’obumenyi bw’amateeka.
Kayihura e Mubenda yalabise nga musanyufu era nga alabikira ddala nti munda akkakkanye nga mwetegefu okutuukiriza obuvunanyizibwa obupya ensonda mu State House bwezitukakasizza nti bwamuweebwa mu kafubo keyalimu ne pulezidenti Museveni e Rwakitura mu ggandaalo lya ssekukkulu.
M7 BYE YALAGIRA KALE OKUKOLA
Ensonda zitegeezezza nti Museveni yalagira Kayihura okunonya ttiimu y’abantu be yeesiga enyo abagenda okumuyambako okulaba nga NRM ewangula akalulu ka 2026 naddala mu bitundu by’e Kisoro, Kabale, Buganda.
Obuvunanyizibwa buno Kayihura yabutandikiddewo nga January yonna agimazeeko atalaaga ebitundu bya Ankole ne Kisoro ng’asisinkana abantu be abaali beekweka oluvanyuma lw’okugobwa ku bwassaabadumizi bwa poliisi mu 2017 nga bwabakubako enfuufu n’okubamatiza nti bakomyewo mu kintu balina okukirwanirira.
Ensonda zitubuulidde nti Kayihura waakutandika okusisinkana ttiimu ye mu Buganda mu February. Bagenda okusisinkana abakulira abavuzi ba bodaboda, abakulembeze mu butale, ebibiina by’abavubuka n’abakazi.
HAJJAT NAMYALO N’ABAKULU KU KITEBE KYA NRM BASATTIRA
Ensonda zongeddeko nti Museveni amaze ekiseera ng’alowooza ku nsonga za Gen Kayihura okuva mutabaniwe era omuduumizi wa UPDF Gen Muhoozi Kainerugaba amusaba asonyiwe musajjawe gweyalwana naye amuwe n’obuvunanyizibwa obulala ng’akakasa nti omusajja akyali ku mulamwa.
Okusaba kwa Muhoozi kuno kwe kwayamba Kayihura okuggyibwako emisango egyekuusa ku kulya mu nsi olukwe egyali gimugguddwako mu kkooti y’amagye, okumugulira enyumba ey’ebbeeyi e Kira oluvanyuma lw’okukitegeera nti gyeyali asulamu e Muyenga olwamugoba ku bwassabadumizi bwa poliisi nanyinniyo n’amutabukira kubanga poliisi ye yali egimupangisiriza, okumugulira emotoka ey’ebbeeyi, okuyweza securite ye n’okumutwala e Turkey okumujjanjaba ekirwadde ky’omulubuto ekyali kimutawanya nga kati yatereera.
M7 BE YEEBUUZAAKO NGA TANNADDIRAMU KAYIHURA
Ensonda zongerako nti Museveni okuzza Kayihura yeebuuza ku banene bangi okuli muto we Gen Salim Saleh, Al-Hajji Moses Kigongo omumyuka wa NRM asooka bonna ne bamukoneramu nga bakakasa nti yaagenda okubataasa nti abakulu ku kitebe kya NRM abakulirwa ssaabawandiisi Richard Todwong beebakidde ku mulimu.
Ensonda zigamba nti Museveni baamuwabula nti Hajjat Uzeyi Namyalo gweyali asibiddeko olukoba okumutaasa mu Buganda ne Busoga mu kalulu ka 2026 nga bwatalina mirandira nga Kayihura gyeyali asimbye mu bantu nga ate yeetololerako entalo nyingi n’abanene mu gavumenti ne mu NRM nga tasobola kuduumira kikwekweto ekinawanguza Museveni ne NRM.
KIVUMBI WA NUP TUMWETEGEKEDDE
Omunene mu State House atubuulidde nti Museveni kyeyakoze okuleeta Kayihura kigenda kubayamba okusobola okwang’anga obulungi Muhammad Muwanga Kivumbi eyaleeteddwa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okumuyambako okunyweza obuwanguzi bwe n’obwa NUP mu Buganda.
Mu kalulu ka 2021, Museveni ne NRM baawangulwa bubi nyo mu Buganda, Kivumbi yalangiridde nga bwagenda okulwana okulaba ng’obuwanguzi obwo bweyongerako wabula Museveni bweyabadde e Busoga yalayidde nga bwatagenda kukkiriza bulimba bwa Bobi Wine ne NUP okumuwanguza mu Buganda.
Museveni yategeezezza nti agenda kutandikira mu kusaabulula bulimba bwa Bobi Wine bweyateeka mu bantu ba Buganda ku Mmwanyi nti ayagala kuzibabbako ate nga ye alwana okulaba ng’omulimi yenyini yaafuna mu Mmwanyi mu kifo kya babbulooka.
GEN TUMUKUNDE AMUKOMEZZAAWO
Lt Gen Henry Tumukunde naye Museveni yamukomezzaawo ku ttiimu egenda okumunonyeza akalulu mu 2026 ng’ono yamukwasizza kitundu ky’e Rukungiri ezaalwa Dr Kizza Besigye ali mu kkomera ku misango gy’okugezaako okuggyako gavumenti ya Museveni.
Ensonda zitubuulidde nti Tumukunde baamukwasizza Gen Saleh nga yagenda okulondola emirimu gye. Ono yatandise dda okumuwa ebyetaagisa ebigenda n’okumuyamba okuwangula ekifo ky’omubaka wa Rukungiri Municipality mu palamenti.
Tumukunde yeesimbawo ku bwapulezidenti mu 2021 oluvanyuma lwokutabuka ne Museveni n’amugoba ku bwaminisita bwasecurite n’amuggulako n’emisango gy’okukuma omuliro mu bantu mu kkooti ya City Hall mu Kampala.
Wabula Tumukunde yayamba nyo Museveni okunafuya John Patrick Amama Mbabazi mu bitundu by’e Kabaale, Kisoro ng’ono yatambuliranga mu nyonyi nga bw’akasukira abantu ssente era Museveni yawangulayo.


