Pulezidenti Wa Netball Ataamye! Sisobola kukomyawo Byekwaso ne Babirye ab’emivuyo

UCANDA: Omuntu yenna ng'erinnya lye teririiko bbala nga talina musango gweyazza, nja kumukomyawo.

Juma Ali
2 Min Read

OLUVANYUMA lw’akakiiko ak’ekiseera akakulira Moses Mwase okukwasa Pulezidenti w’omuzannyo gw’okubaka omulonde Jocelyn Ucanda woofiisi mu butongole ku mukolo ogwali ku Noble View e Ntinda, omusasi waffe yatuukiridde Pulezidenti okuwaayamu naye ku biseera eby’omumaaso eby’omuzannyo gw’okubaka era emboozi yagenze bweti;

ONO BWINO: Kiki ekiddako oluvanyuma lw’akakiiko k’ekiseera okukukwasa woofiisi mu butongole?
UCANDA: Tuli mu kunoonya woofiisi wetugenda okukolera emirimu gyaffe.

ONO BWINO: Ate woofiisi eyali ku Old Kampala?
UCANDA: Eyo woofiisi yali ya kibiina kya Uganda Netball Federation ate nga ffe tuli ba Netball Uganda ate yali ebangibwa.

ONO BWINO: Tageti yo ku mu kisanja kyo ekisooka eri ki?
UCANDA: Okukola ebintu ebyalema ababaddeko.

ONO BWINO: Osobola okukomyawo Sarah Babirye ne Brig Flavia Byekwaso?
UCANDA: Omuntu yenna ng’erinnya lye teririiko bbala nga talina musango gweyazza, nja kumukomyawo.

ONO BWINO: Mutuse wa ku kya minisita okubasuubiza okuzza ssente z’okubaka obuwumbi obusatu zebalina okufuna oluvanyuma lwa government okusalako ssente zaabwe?
UCANDA: Minista yeeyama okukikola era abadde alinda tulayire.

ONO BWINO: Pulogulaamu ki z’osookerako?
UCANDA: Okubunyisa omuzanyo gw’okubaka mu Uganda wonna.

ONO BWINO: Lwaki She Cranes yalemwa okuwangula ekikopo ky’Afrika?
UCANDA: Tumaze emyaka 2 nga tetulina Liigi ate ng’Amawanga okuli Zimbabwe, Malawi ne South Africa gatendekebwa buli kiseera.

ONO BWINO: Liigi esuubira kutandika ddi?
UCANDA: Mu mwezi gw’okusatu omwaka guno.

ONO BWINO: Lwaki mwagobye omutendesi Nelson Bogere ku butendesi bwa She Cranes?
UCANDA: Nelson Bogere yali yalondebwa ‘normalization committee’ wabula akakiiko kaffe kaatuula ne kalaba nga Rashid Mubiru ye mutuufu.

ONO BWINO: Kituufu oliwo ng’ekifaananyi nga NCS yeefuga?
UCANDA: Obwo bulimba kubanga nze nfuga olw’okuba tukolangana bulungi ne NCS y’ensonga lwaki abantu abamu boogera batyo.

Share This Article