Ddogo Ki Eriri Ku Ntebe! Kiki ekifudde situlago y’okusikambula Muzeeyi mu buyinza enzibu?

MUNNAMAWULIRE omugundiivu era MP wa Kira Municipality, Ibrahim Ssemujju Nganda ategeezezza ONO BWINO nti pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olwawamba obuyinza mu 1986, yasooka kusula Kololo ng’enteekateeka z’okulongoosa amaka g’Obwapulezidenti Entebbe ne Nakasero zikolebwa okutandika okugabeereramu ddala ne famire ye.

Kisekka Ronald
19 Min Read
      • Ebyama lwaki buli agyesimbamu amaliriza afukamidde ne yeetonda!

MUNNAMAWULIRE omugundiivu era MP wa Kira Municipality, Ibrahim Ssemujju Nganda ategeezezza ONO BWINO nti pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olwawamba obuyinza mu 1986, yasooka kusula Kololo ng’enteekateeka z’okulongoosa amaka g’Obwapulezidenti Entebbe ne Nakasero zikolebwa okutandika okugabeereramu ddala ne famire ye.

Ssemujju ategeezezza nti Museveni olwasenguka e Kololo, ne wabalukawo olutalo wakati w’omugenzi Eria Kategaya n’eyali Ssaabaminisita wa Uganda Ruhakana Rugunda nga buli omu alumiriza nti adda mu nnyumba Museveni mwabadde asula kibeera kikakasa bukakasa nti ye pulezidenti addako ng’awummudde.

Betty Nambooze Bakireke omubaka wa Mukono Municipality nga naye munnamawulire alumiriza nti essuubi lyali ddene nyo ng’abalwanyi abaali baakawamba gavumenti balowoolereza ddala nti essaawa yonna mukama waabwe Museveni Obwapulezidenti bwa Uganda abuvaako ng’abamatizza nti Uganda olutereera nga yeeyongerayo e South Africa okununula Abaddugavu abaali batulugunyizibwa Abazungu abakabbulu abafuzi b’amatwale.

Munnamateeka Edward Sansa mu nkiiko ezaasooka ng’abayeekera balonda gavumenti, agamba nti enneeyisa ya Museveni yonna yalaga banne nti agenda kufuga akiseera kitono nga yatuuka n’okubeewunya okubeera nga baali bamwegayirira alye Obwapulezidenti ate nga yali agezezzaako nga bwasobola okubatendeka obukulembeze bwebalina okutwala mu kiseera nga bamaze okununula Bannayuganda nga ye yeeyongeddeyo okununula Abafrica abalala abaali mu kutulugunyizibwa obukulembeze obubi.

BESIGYE ABUUSA BANNE NTI M7 ALIMBA ALIMBA!
Omubaka Ssemujju anyonyola nti Dr Kizza Besigye -KB ye mulwanyi ku baaleeta gavumenti ya Museveni eyasooka okubuusa banne nga bayingira emyaka gya 2000 nti Museveni agenda kufuga Uganda obulamu bwe bwonna batuuke n’okumuwalulira ku kalimba.

MU 2000 ABANYANKOLE BEEGAYIRIRA M7 AFUGE EKISANJA KYE EKISEMBAYO
Ebigambo bya KB, bye byatabula olukiiko abakulu okuva mu Ankole ne Kigezi lwe baali batuuzizza ku minisitule y’abakozi ba gavumenti e Wandegeya okumwegayirira aleme kwesimba ku Museveni mu kalulu ka 2001 amuleke kubanga ky’ekyali ekisanja kye ekisembayo nga mu 2006 yali agenda kuwaayo obuyinza ekintu Besigye kyeyawakanya n’abategeeza nti abamukkiririzaamu bamwegatteko bavuganye Museveni abalala basigale naye nga bakimanyi nti abalimba bulimbi ekigendererwa kye kyakufiira mu ntebe.
Omugenzi Joseph Tamale Mirundi eyaliko omwogezi wa State House yakakasa ONO BWINO nga tannafa nti ekimu ku bintu Museveni byeyakugukamu ng’amaze okuwamba obuyinza, kwekubunyweza nga kyekimu ku nsonga enyingi ezimuyambye okuwangula bannabyabufuzi nga n’abamu yalwana nabo abaasooka okulowooza nti asoboka.

ONO BWINO olwaleero atunuulidde bannabyabufuzi ne bannamagye abeegezezza mu kutwala ENTEBE ya Museveni mu mirembe ne ku kifuba na wa gyebali mu kiseera kino nga n’abamu obwavu bubatta, ate abalala bakyalemeddeko bagamba tebagenda kuweeza okutuusa ng’omusajja omukulu ow’ekikoofiira bamuggye mu buyinza…

DR. PAUL KAWANGA SSEMOGERERE

Munnamawulire Dr. Sam Kazibwe anyonyola nti Museveni olwakakasa nti gavumenti bagiwambye, kye yasookerako kwekutumya omugenzi Dr Ssemogerere okumuyambako okukola gavumenti kubanga abantu abasinga beyali nabo baali tebalina bukugu bwakuddukanya gavumenti.

Ssemogerere olwava e Maya gye yasisinkana Museveni, n’amatiza banne mu kibiina kya Democratic Party -DP ng’omugenzi John Ssebaana Kizito okwegatta okukola gavumenti n’abayeekera era Museveni yamuwa obwaminisita bw’ensonga z’ebweru w’eggwanga nga y’avunanyizibwa ku poliisi, ekitongole ky’amakomera n’ensonga zonna munda mu ggwanga.

Abatunuulizi b’ensonga balumiriza nti Ssemogerere yakimanya nti waatali Museveni tasobola kuddukanya gavumenti era yalina essuubi ddene nti yali agenda kumuwangula mu kalulu ka 1996. Ssemogerere yalina obuwagizi bungi okuva e Mengo mu gavumenti ya Kabaka ne mu Ekereziya Katolika e Lubaga ng’era waalina n’amaka, wabula Museveni yamuwangula mu kalulu akoogerwako nti ke kakyasinze okutuuyanya Museveni.

SSEMO M7 YAFA AMUWANDA LULUSU
Ssemogerere teyaddayo kwesimba ku Museveni wadde okwegatta ku gavumenti ye okutuusa mu 2022 bweyafa ng’ekibiina kyeyali alwanirira ekya DP kyakola dda omukago ne National Resistance Movement (NRM) eya pulezidenti Museveni. Ssemo yafa akooneddemu Bobi Wine ng’agamba ly’essuubi ly’okununula Uganda era emirundi mingi Bobi yamukyalirangako mu maka ge e Lubaga ne beekubya n’ebifaananyi.

DR KIZZA BESIGYE

Munnamawulire Andrew Mwenda atubuulidde nti kigenda kubeera kizibu nyo okumatiza Dr Kizza Besigye okuwummula eby’obufuzi nga Museveni akyali pulezidenti era alina okukkiriza nti okuva bwe baayawukana mu 1999 Besigye n’alangirira nga bwagenda okumwesimbako ku bwapulezidenti oba baali bazzeemu okwogerezeganya.

M7 YASATTIRA NG’AKALULU KA 2021 KAAKAGGWA
Ono atubuulidde nti akalulu ka 2011 nga kawedde, Besigye yateekawo embeera ng’abantu basiba ku nguudo nga beekalakaasa nga bawakanya obuwanguzi bwa Museveni akyamuleetera okusattira nti embeera eyatwala mukwano gwe omugenzi Muammar Gaddafi owa Libya yali egenda kumutuukako.

Mwenda yateekateeka ensisinkano wakati wa Museveni ne Besigye balabe engeri gye basobola okugabanamu obuyinza nga byonna Museveni yali abikkiriza olw’akazito Besigye keyali amutaddeko wabula ku ssaawa esembayo abavubuka abawagizi ba FDC ne bagaana Besigye okusisinkana Museveni. Amawanga g’Abazungu nga Sweden ne Norway nago gaakola kinene okulaba nga Museveni ne Besigye nga basisinkana.

Ssemujju ategeezezza nti Besigye okuva mu ddiiru eno, yakimanya nti Museveni yali ayagala kumukozesa bukozesa okukkakkanya Bannayuganda abaali bawakanya obukulembeze bwe nga beekuba ebifaananyi mu State House.

Besigye kati ali mu kkomera ku misango gy’okugezaako okusekeeterera gavumenti ya Museveni nga yeekobaanye n’Abazungu okumuwa eby’okulwanyisa wadde nga yalaalika nti bw’anaaweza emyaka 70 nga situlago aginnyuka.

JOHN PATRICK AMAMA MBABAZI ANYENYA ENTEBE YA MUZEEYI
Mbabazi bakimuteekako nti yatandika okupanga okutwala Entebbe ya Museveni ng’akyali minisita wa securite.

Museveni yali amuwadde obuyinza bw’okusoma lipooti z’ebitongole by’eggwanga ebikessi nga tezinatuuka wa Museveni nga ye amuwabula buwabuzi ku kirina okukolebwa okunafuya omulabe.

Ensonda zitegeezezza nti omugenzi Noble Mayombo mu kiseera ekyo ye yali agezaako okulengera ku buyinza bwa Mbabazi wabula n’afa ekibwatukira.

Mu kiseera ekyo, wabalukawo olutalo olw’amaanyi wakati wa Mbabazi n’eyali omumyuka wa pulezidenti Gilbert Bukenya nga buli omu alaba munne ng’omulabe amulemesa okutwala entebe.

Museveni yagoba Bukenya mu gavumenti olwo Mbabazi n’alabira ddala ng’ekintu akimaze kubanga baali bamuwadde n’obwassabaminisita nga Museveni amuwadde n’olukusa okukubiriza olukiiko lwab aminisita nga taliiwo.

M7 ALAALIKA NTI ENTEBE WA KUGIKWASA MBABAZI
MP Ssemujju alumiriza nti Museveni yagenda e Kanungu n’akakasa abaayo nti Mbabazi gwagenda okukwasa obuyinza ng’awummudde nga tebalina kusumagirira ku kizigo ate baleete omugagga Garuga Musinguzi eyali amwesimbyeko ku kifo ky’obubaka bwa palamenti.

Ssemujju agasseeko nti Mbabazi baamuwa obuyinza obukolera Museveni kabinenti ng’abaagala obwaminisita bonna gwe batuukirira, emirimu gya gavumenti emisava nga y’agigaba okuli n’obulamuzi ng’abasinga naddala omubaka James Kakooza nga bakakasa nti essaawa yonna omusajja ekintu akikwata.

MBABAZI ‘AKUTUKA OMUTIMA’

Akalulu ka 2011 nga kawedde, Mbabazi yatandika okwekengera Museveni bweyawulira nti yalina pulaani gyeyali aluse n’abavubuka abaakulemberwamu minisita Evelyne Anita okumulangirira mu lukiiko lwa NRM e Kyankwanzi okwesimbawo ku bwapulezidenti ku tiketi ya NRM mu 2016 nga tavuganyiziddwa.

Abatunuulizi b’ensonga bakakasa nti eno pulaani ye yakutula Mbabazi omutima kubanga yalina okukkiriza nti Museveni bwalemerako okwesimbawo mu 2016 yali agenda kumuwangulira mu kamyufu ka NRM e Namboole mu lukiiko lw abonna olw’ekibiina nga Museveni kyeyakola kwekulemesa akalulu kano.

Museveni wadde yagoba Mbabazi ku bwassabaminisita wabula yasigala amwekengera olw’abagagga n’Abazungu abali bamusuubizza obuwagizi nga baagala akwatire oludda oluvuganya tiketi olwo battunke ne Museveni babiri mu kalulu wabula ekibalo Dr. Besigye n’akiyiwa n’asigala mu kalulu.

M7 ATANDIKA OKUZOGANYA MBABAZI

Museveni yanyiga Mbabazi mu kalulu nga yasooka kunafuya abagagga beyali ateeseteese okumuteekamu sente nga ababinnika emisolo eminene, ssente zeyali aterese mu banka n’azisiba nga n’ezikola kampeyini Mbabazi tazirina n’asigaliza kuweereza bubaka ku mikutu gya yintanenti ate mu kiseera ekyo gyali si gy’amaanyi nga kati.

Mbabazi embeera yamusukkako n’akkiriza okudda ewa Museveni okumutaasa nga n’ebirwadde ebikambwe byali bitandise okumufunza ne mukyalawe Jacquline Mbabazi.

GEN EDWARD KALE KAYIHURA

Ensonda zirumiriza nti Gen. Kayihura olwasanyaawo akabinja Mbabazi keyali azimbye munda mu gavumenti ne wabweru waayo ng’akozesa ekifo ky’obuduumizi bwa poliisi mu ggwanga lyonna n’amanya nti essaawa yonna ekintu akitwala.

Okufaananako Mbabazi, bambega lipooti zonna ez’ekikessi ze baawandiikanga zaasookeranga wa Gen Kayihura nga tezinatwalibwa wa Museveni ng’ebiseera ebisinga Museveni yakoleranga kukuwabulwa kwa Kayihura.

Mubarak Munyagwa eyali omubaka wa Kawempe South alumiriza nti Kayihura yakola ky’amaanyi nyo okunafuya pulaani za Besigye okutwala obuyinza ng’akozesa omusimbi Museveni gweyali amuwa okubagula n’okumukolera obwambega.

KAIHURA AKOLA GAV’T EYIYE MU GAV’T YA M7

Kayihura olwakuba Besigye ne Mbabazi olwo n’atandika okuzimba ttiimu ye munda mu gavumenti ne wabweru waayo ng’abakulembeze mu butale, aba bodaboda, taxi, bamalaaya bonna nga bamuwagira, kuno yagattako ogubinja gw’abavubuka gwe yatuuma ‘Crime Preventors’ ng’obukulembeze bwabwe butandikira ku kyalo.

EKIBALO KYA KALE OKUWAMBA M7
Ensonda zirumiriza nti Kayihura yali abaze okuwamba Museveni nga talinze by’akalulu ng’olukwe luno yali alukoze n’eggwanga ly’omulirwano eryali lyewalana n’obukulembeze bwa Museveni.

Museveni olwakitegeera yaleeta Lt Gen Henry Tumukunde alina akakuku ak’amaanyi ku Kayihura nga minisita wa securite ng’ono gweyakozesa okusanyaawo obubinja Kayihura bweyali apanze okuwamba ekintu.

Maj. Gen Abel Kandiho eyali aduumira CMI, Col Frank Bagyenda Kaka eyali aduumira ISO baakola nyo okukwata basajja ba Kayihura omwali ne Abdallah Kitatta eyali akulira bodaboda 2010 n’abaggulwako emisango mu kkooti z’amagye n’eza bulijjo.

Museveni yalagira Gen. Wilson Mbadi kati minisita w’ebyobusuubuzi okuyigga Kayihura amukwate nga kino okukikola yali akitegeddeko nti atandise pulaani edduka mu ggwanga nga n’okumugoba ku bwassaabaduumizi bwa poliisi ng’akimalirizza ng’amusikiza Martin Okoth Ochola.

Kayihura baamutwala mu kkooti y’amagye n’aggulwako emisango gy’okulya mu nsi olukwe wabula bwe yeegayirira baamusonyiwa ne bamuggyako emisango ne bamuwummuza ne mu magye, agava munda galumiriza nti essaawa yonna Museveni amukomyawo okumuyambako ku kalulu ka 2026.

GEN DAVID SEJUSA

Col. John Kazoora omu ku baAlwana olutalo olwaleeta gavumenti ya Museveni mu ntebe, mu kitabo kyewandiika ‘Betrayed by My Leader’ annyonnyola nti kuviira ddala mu nsiko nga Gen Sejusa awakanya ebiragiro bya Museveni. Era enfunda nyingi yasibwa nga mu kkomera l’yabayeekera n’okutulugunyizibwa wadde nga yali kamanda w’amaanyi nyo.

Museveni yasooka okutabuka ne Sejusa nga bamaze okuwamba obuyinza bweyamusaba amukkirize awummule amagye, bweyagaana Sejusa ensonga yasalawo okuzitwala mu kkooti z’amateeka nga mu kiseera ekyo Ssaabalamuzi eyawummula Bart Bagunda Katureebe ye yali ssaabawolereza wa gavumenti nga baawozeng’anya okutuuka mu kkooti ensukkulumu eyalangirira nti Sejusa tasobola kwewummuza okuva mu magye ku kifuba.

LWAKI MUZEEYI YALI ATYA OKUWUMMUZA SSEJUSA
Ensonda zitubuulidde nti Museveni yali atya okuwummuza Sejusa ng’alowooza nti ayinza okukunga abantu ba bulijjo ne bawakanya gavumenti ye ate nga munda mu magye asobola okumulondoola n’okumufuga obulungi ng’akozesa amateeka g’amagye.

Museveni okukkakkanya Sejusa yamuwa obuvunanyizibwa bw’okwanaganya ebitongole ebikessi mu ggwanga wabula Ssemujju alumiriza nti olwokuba Museveni yali atya Sejusa yalagira abakulira ebitongole ebyo obutawa Sejusa lipooti zaabwe nga balina okuzimuweereza butereevu.

PULAANI Y’OKUGGYAWO ABANENE BAYISEEWO MUHOOZI
Sejusa yanyiiga n’ayasa ebyama nga Museveni bweyalina pulaani esanyaawo abanene mu magye n’abantu ba bulijjo okusobozesa mutabani we Gen Muhoozi Kainerugaba okutwala obuyinza nga tewali amutawaanya.

ADDUKIRA E BUNGEREZA
Sejusa yatya okusibwa n’addukira e Bungereza mu buwang’anguse wabula oluvanyuma Museveni yamusindikira abantu boogere naye akomewo ewaka ng’ensonda zitubuulidde nti yali amutya nti ayinza okutandika obuyeekera wadde nga ye yanyumiza banne nti akyamukomyawo kwekubeerawo nga gavumenti ya Museveni egwa abeere omu ku bagenda okugabana obuyinza amangu ng’okubeera e Bugereza kigenda kumuleetera okusanga ng’ebintu byonna babigabanye.

Sejusa yaddamu okutabuka ne Museveni n’akola omukago n’aboluda oluvuganya n’alabikira ne ku kampeyini za Besigye ez’akalulu ka 2016 era Museveni n’addamu okumukwata naye n’addayo mu kkooti ng’ayagala emukkirize awumule amagye ekintu Museveni kyeyagaana okutuusa bweyakakasa nti aweddemu embazuulu nga n’abamuwaga mu gavumenti ne mu bitongole by’ebyokwerinda nga baweddemu n’amuwummuza mu 2022.

Sejusa yaddayo kati ali ku ffaamu ye e Lyantonde alima n’okulunda, ebiseera ebimu awandiika ng’anyonyola entalo ezirwanibwa mu nsi naddala olwa Russia ne Ukraine, Isreal ne Palestine n’okuwambibwa kwa pulezidenti Asaad owa Syria.

MAJ GEN JAMES KAZINI

Omubaka Semujju alumiriza nti Kazini y’omu ku bajaasi Museveni baakyasinze okwesiga ng’ono yamukkiriza okukozesa emmotoka ze mwatambulira nga pulezidenti era enfunda nyingi ab’amagye n’abakungu mu gavumenti baamwekanganga ku mikolo gy’eggwanga ne bapakuka nga balowooza pulezidenti y’atuuse nga beewunya okulaba Kazini nga y’afubutukamu.

Kazini yalina obuyinza bungi omuli n’okukyusa ab’amagye nga tasoose kwebuuza ku Museveni wabula ng’apanga okukozesa omukwano ogwo okuwamba Museveni.

Ensonda zitubuulidfe nti Museveni okumukwata n’amuggulako emisango gy’okutambuza ebyokulwanyisa nga tafunye lukusa okuva gyali, yali amaze okukitegeera nti yalina ab’amagye beyali apanze nabo okumukwata ng’abasinga baabakwatira mu kiwendo mwe baamukwatira.

Mu 2009, Lydia Draru yattira Kazini omujaasi omutendeke mu kazigo mwe baali beesanyusiza e Namuwongo mu Kampala ng’okugenda okufa nga Museveni akyamwekengera.

‘MAHOGANY’ POLOF. GILBERT BUKENYA

Sadam Gayira akulira ekibiina kya People’s Progressive Party (PPP) atabuulidde nti akalulu ka 2006 nga kawedde, Museveni yasisinkana abakulembeze b’eddiini mu Buganda, abakulu e Mengo n’abantu ab’enkizo mu ggwanga lyonna n’abategeeza nga bwagenda okuwumula n’abasaba okumuwa omuntu gwe beekakasa obulungi nti asobola okutwala eggwanga mu maaso.

Mu Buganda ng’oggyeko abakulu mu kanisa ya Ugand,a abasigadde baasemba Polof. Gilber Baalibaseka Bukenya eyamanyika ennyo nga ‘Mahogany’ ng’olwakitegeera n’atandikira ddala okweyisa nga pulezidenti Museveni n’okwetunda mu bantu ng’abakakasa nti ye pulezidenti addako.

KIBAZO NE MIRUNDI BAALI BETTA
Yatandika okuwandiisa abagenda okukola mu gavumenti ye, ekikonde kyabula kata kinyoke wakati w’omugenzi Tamale Mirundi ne Peter Kibazo munnamawulire wa Leediyo Simba nga buli omu Bukenya amusuubizza obwogezi bwa gavumenti ye.

Museveni yatandika okukwasa Bukenya pulojekiti za gavumenti ezirimu ssente enyingi ng’eyo gye zaabulira, okukkakkana nga bamugguddeko emisango gy’obubbi ne bamusiba mu kkomera e Luzira n’akaaba nga bamutwala ku kimotoka ky’amakomera eky’ekikuusikuusi-Brown.

Bukenya baatandika okumuggulako emisango gy’okusigula bakaabasajja n’okukwana obuwala obuto nga gye byaggwera nga Museveni amugobye ku bumyuka bwapulezidenti.

Okumugoba yasooka kumuyita e Rwakitura mu maka ge Mbabazi n’amulumiriza nga bweyali asisinkana bagenero ab’amaanyi mu magye n’abanene mu gavumenti ng’abasuubiza ebifo nga kino kyaleetera Museveni obusungu n’amubuza lwaki ayagala okumuwamba ate nga abadde amwesiga nyo.

Bukenya yakaabira mu lukiiko olwo wabula Museveni nga munyiivu nyo, yaddayo asomesa busawo mu ziyunivasite munda mu ggwanga ne wabweru waayo nga kuno Museveni yamugattirako okumulonda ku buwabuzi bwe ku nsonga z’obutonde bw’ensi nga bw’addukanye wooteeri ne bizinensi ze endala.

LT GEN HENRY TUMUKUNDE

Ono Museveni yamwesiga nyo n’amusindika mu Acholi okulwanyisa ssaabayeekera Joseph Kony aba Lords Resistance Army (LRA), yamulondako okuduumira ekitongole ky’eggwanga ekikessi ekya Internal Security Organisation (ISO).

Olwamugoba n’anyiiga n’agezaako okwekobaana n’omugenzi Tamale Mirundi okutandikawo ekibiina ky’ebyobufuzi okulwanyisa gavumenti ya Museveni nga teyakoma okwo yagenda ku Leediyo CBS n’akunga bannayuganda okwegatta okugoba Museveni ng’alumiriza nti akaddiye nyo nga bwe batakikola, obuyinza bugenda kudda mu bafamire ye nga be basalawo ku nsonga enkulu ez’eggwanga.

Ono Museveni yalagira ne bamukwata ng’alumiriza nti Mirundi ye yamutunda kubanga ye bwe baamukwata ate Mirundi ne bamuwa omulimu mu State House ekintu Mirundi kyeyafa yeegaana.

Tumukunde baamukuba akatebe ne kamunyiga okukkakkana mu 2016 ng’azzeeyo okukola ne Museveni nga yamuyamba nyo okulwanyisa Mbabazi mu kalulu ka 2016 mu bitundu by’e Kigezi ne Ankole, Bunyoro ne Toro nga yalina enyonyi mweyatambuliranga bwagabira abantu ssente obutalonda Mbabazi.

Museveni olwawangula akalulu n’amuwa obwaminisita wa securite nga ye yakulemberamu okukwata n’okusiba basajja ba Gen Kayihura nga kino yakikola ng’okwesasuza kubanga ne Kayihura ye yamukwata nga Mirundi amuliddemu olukwe.

Mu 2017, Museveni yamugoba ku bwaminisita n’anyiiga n’amwesimbako mu 2021 nga balumiriza nti yalina akabinja k’abavubuka keyali azimbidde munda mu buwagizi bwa NUP ne pulezidenti waabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ng’ekigendererwa kyakumuyambako kutabangula kalulu ka 2021 ekitaasoboka.

Ono abamuli ku lusegere batubuulidde nti apanga kuvuganya ku kifo ky’obubaka bwa palamenti ewabwe e Rukungiri mu kalulu ka 2026.

GEN MOSES ALI

Museveni bweyawamba obuyinza ne bakola endagaano n’abayeekera ba Uganda National Rescue Front (UNRF) abaali badumirwa Gen Moses Ali ne babawa n’ebifo mu gavumenti.

Oluvanyuma Museveni yamukwata ne basajjabe n’abasiba ng’abalumiriza nti baali bagezaako okuwamba gavumenti.

Mu kiseera kino Moses Ali alina ekirwadde ekimutawanya naye akyali mu gavumenti ya pulezidenti Museveni ng’omumyuka wa ssaabaminisita ow’okubiri nti kino kyaliwo olw’endagaano ya tontabaalanga nange sirikutabaala gye baakola.
Abalala kuliko omugenzi Al-Hajji Nasser Ntege Ssebaggala, Joseph Kony, Alice Lakwena, Jamil Mukulu, Olara Otunu n’abalala betujja okwongera okukuleetera.

Share This Article