Ani Yakubye Nantaba Ettalo? Addusiddwa mu ddwaliro ng’ali bubi n’akolimira aba NRM…

OMUBAKA omukyala owa disitulikiti y’e Kayunga era eyaliko minisita w’ebyettaka, ali mu kutya olw'ebikolwa by'ekirogo ebyeyongedde ennyo mu disitulikiti eno, ebiyinza n'okuba nga bye byamuviiriddeko n'ekirwadde ekikambwe ekibadde kimubala embiriizi nga kati aliko ekifo ekyekusifu gye yeekukumye nga bwafuna obujjanjabi obwenjawulo.

Joseph Luboyera
3 Min Read
OMUBAKA omukyala owa disitulikiti y’e Kayunga Aidah Nantaba

OMUBAKA omukyala owa disitulikiti y’e Kayunga era eyaliko minisita w’ebyettaka, ali mu kutya olw’ebikolwa by’ekirogo ebyeyongedde ennyo mu disitulikiti eno, ebiyinza n’okuba nga bye byamuviiriddeko n’ekirwadde ekikambwe ekibadde kimubala embiriizi nga kati aliko ekifo ekyekusifu gye yeekukumye nga bwafuna obujjanjabi obwenjawulo.

Nantaba yategeezezza ONO BWINO nti, ”Mbadde mu mbeera mbi nnyo nga ntawaanyizibwa ekirwadde ekyali kisoose n’okulema abasawo mu malwaliro gyembadde okutegeera, kyokka Katonda w’amaanyi nti n’alongooseddwa era ndiko bulungi ko. “Ono yayongedde n’ategeeza nti, sisobola kwogera ddwaliro gye banzijanjabira yadde ekifo mwendi kati, kuba abantu bangi abanwanyisa abaagala okumalawo obulamu bwange.

Abantu abeegwanyiza ekifo kino kuliko Rebbeca Mbatudde, Nakwedde Harriet owa NUP, Nalubwama Agatha, Jacquline Birungi owa NRM ono nga muwala w’omugagga we Kayunga Moses Karangwa ne Maama Kayunga Ida Erios Nantaba, kyokka nga bangi bakyalangirira nga bweganeda okwesimba ku kifo kino.

ONO BWINO: Abantu abeegwanyiza ekifo kyo beeyongedde obungi, tofunyemu kutya nti oba be bakusindikidde ekirwadde ekikambwe basobole okukulemesa okudda mu palamenti ng’abantu abamu bwe bagamba?

NANTABA: Nze Nantaba sigenda kufiira ku bantu be Kayunga ng’abamu bwe balowooza, Katonda wange y’amanyi ebiseerra byange bye ng’enda okumala nga nkulembera abantu be Kayunga, era kyansalirawo kye ng’enda nakyo. Abo abatandise okwewaana nga bwe bansindikidde eddogo ekkambwe bategeeze nti nze ndi mwana wa Katonda sirogwa, kuba ndiko olukomera olw’amaanyi era saagala bamale biseera byabwe ku nze, nze nabadde n’abirwadde byange era ndi mu kussuuka, teri yandoze yenna, abo abanjagaliza ebikyamu babeera ng’abanjagaliza ate omukisa.

ONO BWINO: Tegubeera ng’omuliro gw’ebyobufuzi gwe gutandise okukulwaza osobole okufuna akalulu k’okusaasira ng’ababaka abamu bwe bakola?

NANTABA: Okuva lwe nawangula, omuliro tegukendeerangako e Kayunga era entalo nnyingi ze nwana omuli n’abeeyita abagagga abagobaganya abanaku ku ttaka lyabwe.

Abagagga abamu basinze kwekweka mu kibiina kya NRM, naye tuli bamalirivu okubalwanyisa okutuusa nga tubafufuggazza. Bwe tubeera nga twasobola okuwangulira waggulu ku muliro, entalo n’omuyaga ogwamaanyi ebyaliwo mu kulonda okuwedde ate nga tetulina kkaadi ya kibiina kyonna, tetulina kye tusobola kutya.

ONO BWINO: Ng’eyaliko minista mu gavumenti ya pulezuidenti Museveni, okkiriziganya n’ekyababaka ba NRM okuddamu okumusimbawo okubakwatira bendera mu kulonda kwa 2026 ku bwapulezidenti ng’ate waliwo abeegwanyiza entebe eno abataweereddwa mukisa omuli ne balwanyi banne?

NANTABA: Omukulembeze yayagala atufuge okutuusa ku myaka 80, tetumanyi oba bwe ginaawera [gyawera mu September wa 2024] aneeyongezaayo n’atuusa 90, naye byonna byakola ebeera nteekateeka ya mukama kuba ne Bayibuli etugamba nti Katonda y’asitula abakulembeze era y’abassa wansi, kale tumusaba katonda bwabeera akyamusitudde asigale nga mugonvu eri abantu b’akulembera.

ONO BWINO: Osuubira okuddamu okukolera mu gavumenti ya pulezidenti Museveni singa oddamu n’oweebwa omukisa ku kisanja ekijja?

NANTABA: Nakugambye nti ndi mulwadde naye nkulaba otandikiriza okunsima era obeereko ky’onziggyamu, kye nnyinza okukuddamu ku kibuuzo ekyo kiri kimu kya kwesabira, kuba mu maaso ga Katonda buli kimu kisoboka.

Share This Article