- Bamugemereire ne Ssekaana basindise babbulooka ewa M7
AKASATTIRO k’amaanyi nnyo mu kkooti olw’ekisanja ky’omulamuzi Benjamin Kabiito akulira akakiiko ka Judicial Service Commission (JSC) akasunsula, okuwandiisa n’okukwasisa abalamuzi empisa okuggwako nga tannasunsula agenda okutwala ekifo ky’omumyuka wa ssaabalamuzi Richard Butera awummula mu April wa 2025 oluvannyuma lw’okuweza emyaka 70 amateeka kwegamulagirira okuwummulirako.
Omulamuzi Kabito ne banne okuli omulamuzi Faith Mwondah, bannamateeka Ruth Ssebatindira, Norah Matovu Muwanga kiggwako nga 20 January 2025 ng’amateeka tegabakkiriza kuddamu kutuula ku kakiiko ka JSC oluvanyuma lw’ebisanja byabwe ebibiri okuggwako nga pulezidenti Museveni alina okulonda abantu abalala okujjuza ebifo byabwe.
Ensonda mu kkooti zitubuulidde nti omulamuzi Kabiito ali ku bunkenke bw’amaanyi nga tamanyi oba pulezidenti Museveni agenda kumulonda okugenda okutuula ku kkooti ejulirwamu oba kkooti ensukkulumu nga takyasobola kudda mu kkooti enkulu gye baamuggya okumuwa obwassentebe bwa JSC oluvanyuma lw’okuweza emyaka 65 abalamuzi ba kkooti enkulu kwebawummulira.
BAABANO ABEEPIKIRA OKUKULIRA ABALAMUZI
Ensonda mu JSC zitubuulidde nti omulamuzi Kabiito ne banne, ekisanja kyabwe kigenze okuggwako nga baamalirizza okusunsula amannya g’abalamuzi abalina okulondebwako omuli Catherine Bamugemereire owa kkooti ensukkulumu, Monica Mugenyi owa kkooti ejulirwamu, Geoffrey Kiryabwire owa kkooti ejulirwamu, Irene Mulyagonja owa kkooti ejulirwamu, Dr Flavia Zeija akulira abalamuzi ba kkooti enkulu, Dr. Pamela Kalyegira akulira ettendekero lya bannamateeka erya Law Development Centre (LDC).
Ensonda zitubuulidde nti akasattiro akaliwo singa omulamuzi Kabiito ne banne bagenda mu maaso ne basunsula amannya g’abantu 3 ne bagaweereza ewa pulezidenti Museveni okulondako adda mu kifo kya Butera ng’ekisanja kyabwe kiweddeko, ebikoleddwa byonna biyinza okuwakanyizibwa mu kkooti ng’abiwakanya alumiriza nti bimenya mateeka.
ENSALA Y’OMULAMUZI SSEKAANA EBITABUDDE
Ekiragiro ky’omulamuzi Musa Ssekaana owa kkooti enkulu kyayongedde okutabula embeera bweyayimirizza enteekateeka za bannamateeka abeegattira mu kibiina kya Uganda Law Society okulonda balooya 2 abalina okubakiikirira ku kakiiko ka JSC oluvanyuma lw’okuwakanya enteekateeka yonna eyali egobereddwa, balooya abamu balumiriza nti yalimu kyekubiira ng’emivuyo gyonna bagiteeka ku Isaac Ssemakadde akulira balooya bonna mu ggwanga nti alina baasosola obutalondebwa ku bifo ebyo olw’okuba tebamuwagira.
Mu kiseera kino ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka, omulamuzi Dr Elizabeth Musoke, Jimmy Okello, Badru Lubega Waggwa ebisanja byabwe be bakyalina olukusa okutuula ku kakiiko ka JSC.
ENKOKOLA KU KIFO KYA BUTERA NE DOLLO ZEEYONGEDDE
JSC olumaliriza okusunsula amannya 3 ge bagenda okuweereza ewa Museveni okudda mu kifo kya Butera, nga batandika okusunsula abalala abanaaba basabye okuweebwa ekifo ky’obwassaabalamuzi kubanga ssaabalamuzi aliko kati Owiny Dollo agenda kuwummula mu January wa 2026 ng’ensonda zitubuulidde nti ayinza n’obutawuliriza musango gwa byakulonda singa omu ku bagenda okuvuganya ku bwapulezidenti awakanya ebinaabeera birangiriddwa akakiiko k’ebyokulonda mu 2026.
BAMUGEMEREIRE BANAAMULONDA KU BUMYUKA BWA SSAABALAMUZI?
Abatunuulira ensonga za kkooti batubuulidde nti singa Museveni alonda omulamuzi Bamugemereire ku bumyuka bwa ssaabalamuzi, kibeera kitegeeza nti omulamuzi wa kkooti ensukkulumu Mike Chibita atunuuliddwa enyo okulya obwa ssaabalamuzi olwenkolagana ey’amaanyi gyalina ng’omuntu ne Museveni kibeera kigenda kumubeerera kizibu okubulya.
Chibita yakulirako ekitongole ky’amateeka mu State House, Museveni yamulonda okubeera ssaabawaabi w’emisango gya gavumenti ng’adda mu kifo ky’omulamuzi Butera eyali atwaliddwa mu kkooti ensukkulumu ng’oluvanyuma naye yamutwala mu kkooti ensukkulumu ng’abasinga balumiriza nti bamutegekedde ekifo ekisava mu kkooti wabula tasobola kubeera ssaabalamuzi ate Bamugemereire nga mumyuka we nga bonna bava mu kitundu kya Bugisu ne Bukedi.
EKIBALO KITABUSE!
Omulamuzi Bamugemereire ne Chibita mu okulondebwa ku bwassaabalamuzi n’obumyuka, era kifiiriza omulamuzi Chibolion Barishaki owa kkooti ejulirwamu nga naye yeegwanyiza ebifo ebyo era ensonda mu kkooti zitubuulidde nti awagirwa nyo sipiika wa palamenti Annet Anita Among.
Abatunuulira ensonga batubuulidde nti omulamuzi Zeija bw’alya obumyuka bwa ssaabalamuzi, kibeera kitegeeza nti omulamuzi Mugenyi agenda kusuulibwa wabula abamanyi eby’omunda batubuulidde nti Mugenyi alina enkizo nnene ku Zeija olw’enkolagana ey’amanyi Museveni gyalina ne famire ye.
Wabula abaagala obwassaabalamuzi n’obumyuka balina okutya nti Museveni ayinza okukola nga bweyakola ng’alonda Dollo ne Butera nga bonna baali basabye bwassaabalamuzi naye n’asalawo n’asuula bonna abaali basabye obumyuka bwa ssaabalamuzi n’alonda Butera eyali takisabye ng’ayagala bwassaabalamuzi ekintu bannamateeka kyebalumiriza nti kimenya mateeka era Male Mabirizi n’addukira mu kkooti y’amawanga ga East Africa.
EKIBALO KY’OMULAMUZI SSEKAANA
Ensonda mu kkooti zitubuulidde nti omulamuzi Ssekaana owa kkooti enkulu atunuulidde kifo kya Principle Judge akulira abalamuzi ba kkooti enkulu mu ggwanga lyonna.
Wabula abalamuzi abalala okuli Oscar Kihika eyakulirako ekitongole ky’amateeka mu kibiina kya NRM ne Muzamiru Kibedi nabo bakyegwanyiza.


