Ebitiisa Ku Mugagga Drake Azza Abagagga Abaweddemu Mu Kyalo: Ssebalamu Wa Freedom City Asula Akaaba

ABASUUBUZI abakolera ku kizimbe kya Yamaha Centre mu Kampala basattira olw'ebigambibwa nti ekizimbe kwe bakobakolera kyakyusiddwa obwannanyini ne kidda mu mu mikono gy'omugagga omukambwe asinga ebizimbe mu Kampala.

Timothy Nyanzi
7 Min Read
Tycoon Drake Lubega
    • Aguze ekizimbe ky’omugagga Ssaazi owa Yamaha Centre
    • Daudi Mutebi akozesezza abapangisa endagaano ebagoba ku bizimbe bye

ABASUUBUZI abakolera ku kizimbe kya Yamaha Centre mu Kampala basattira olw’ebigambibwa nti ekizimbe kwe bakobakolera kyakyusiddwa obwannanyini ne kidda mu mu mikono gy’omugagga omukambwe asinga ebizimbe mu Kampala.

Ensonda zitegeezezza ONO BWINO nti Yamaha Centre ebadde ya mugagga Christopher Ssaazi eyamanyika ennyo mu kusuubula piki piki ekika kya Yamaha nga kigambibwa nti mweyaggya ssente ezaazimba ekizimbe kino kyokka yakiguzizza omugagga Drake Lubega agambibwa nti yasinga ebizimbe ebingi mu Kampala ebisoba mu 35. Ekizimbe kya Yamaha Centre kisangibwa ku nguudo bbiri okuli Burton Street ne Luwum. Abasuubuzi abakikolerako basinga kutunda bintu by’amasannyalaze okuli Tivvi, firiigi, Woofa ne kalonda omulala.

Drake olwaguze ekizimbe kino yatandikiddewo okukiddaabiriza waggulu kubanga abadde nnyini kyo kyali kyamulemera ku ffulo esooka. Drake kati waggulu akyongeddeko amaduuka okwongera okukiyoolamu ssente.

LWAKI EBYA DRAKE OKUGULA YAMAHA BIKANZE ABASUUBUZI ABAKOLERAWO
Eby’omugagga Drake okugula ekizimbe kino, bitadde abasuubuzi abakolera ku kizimbe kino ku bunkenke abamu amaduuka ne bagaddukamu nga bagamba nti tebasobola kukolera ku bizimbe bya Drake kubanga atulugunya nnyo abasuubuzi ku bizimbe olw’okuba abogenza renti buli waayagadde n’okuwamba emmaali yaabwe n’agikweka mu sitoowa. Kati abasuubuzi abakolera ku Yamaha Centre batya nti nabo bagenda kuloza ku bukambwe bwa Drake.

LWAKI OMUGAGGA SSAAZI AKITUNZE
Ensonda zongeddeko nti omugagga Ssaazi abadde n’amabanja agamuli mu kifuba omuli aga bbanka n’agabagagga banne era waliwo omugagga eyali amubanja ng’ono yamuwawaabira mu kkooti olw’obutamusasula kyokka Ssaazi n’agaana okweyanjula mu kkooti ne bamuyisaako ekibaluwa kibakuntumye.
Omugagga ono yanoonya Ssaazi n’amuyoolera mu Kampala n’amukwata jkeeke, kyokka olw’okutya Ssaazi kweyaliko yawalirizibwa okuddukira mu bbanka n’aggyayo ssente n’asasula omugagga eyali amubanja. Kyokka abalala bategeezezza nti Ssaazi yeetunzeeko ekizimbe kino agende akole ebirala omuli okugaziya faamu ze kubanga akooye puleesa y’emisolo gya KCCA ne URA egiyitiridde egiri ku bizimbe mu Kampala.

DRAKE LUBEGA YAKOMA MU S.6
Drake Lubega yazaalibwa Kasanje e Masaka, yakoma mu S.6, yasooka kutunda matooke ng’ayambibwako baganda be okuli John Ssebalamu ne Christine Nabukeera, gyeyava nadda mu kusuubula amafuta g’ettaala mweyaggya ssente n’atandika okusuubula emmwanyi e Kenya ne Tanzania.

Mu 1986 yayingira Kampala, nga yatandikira kusuubula engoye z’emivumba e Dubai ne China n’afuna ssente n’atandika okuzimba ebizimbe n’okugula ettaka ng’ali ne mu bizinensi y’amasomero.

LWAKI DRAKE AZZA BAGAGGA BANNE MU KYALO
Drake ye mugagga asinga ebizimbe mu Kampala ebisoba mu 35 okuli Pentagon ekisangibwa ku luguudo lw’e Nabugabo, Energy Centre kiri Nakasero okumpi n’akatale, Jesco Beauty Centre e Nakivubo n’ebizimbe ebiral , buli mugagga aweddemu mu Kampala n’abo abaagala okwetundako ebizimbe n’ettaka basooka kwebuuza ku ye kubanga talemwa n’ettaka ne weribeerako enkaayana aligula ne biggwera mu kkooti ettaka n’alikulakulanya olw’amanyi gaalina. Kigambibwa nti Drake akolera muto pulezidenti Museveni Gen Salim Saleh nti y’amuwa amaanyi gaakozesa okugula bagagga banne. Gyebuvuddeko Drake yafulumya akatambi ng’agamba nti alina bakama be baakolera era ku bizimbe 35 byeyalina mu Kampala mu kiseera ekyo alinako ebibye 5 byokka ebirala bya bakama be abamusaba embalirira ya ssente eziva mu bizimbe ng’obubaka buno yali abuwa abasuubuzi ku bizimbe bye abamuvvoola olw’okubongeza renti buli waayagalidde nti tebalina gye basobola kumuloopa.

Muhammad Katanyoleka omu ku basuubuzi abaludde mu Kampala ate nga mukulembeze, ategeezezza ONO BWINO nti Drake weyali azimba ekizimbe kya Jesco Beauty Centre ekisangibwa e Nakivubo, Gen Muhoozi Kainerugaba omuduumizi wa UPDF, yajja mu kifo kino n’awa Drake ebiragiro ku kizimbe ekyali kizimbibwa n’abasuubuzi abaali bagaanye okuva mu kifo kino nga baagala bamale kubasasula , kyokka bano enkeera nga Muhoozi avudde mu kifo amagye ge gaabasengula ku kifuba nga tebaliyiriddwa.

WALIWO ABABITADDEMU OBULOGO
Abasuubuzi abakolera ku bizimbe okuli SB Plaza balumiriza Drake okubeera omulogo, bagamba nti alina ebigambibwa okuba ebyokoola byeyateeka mu bizimbe bye era ne bagagga bane bamutya buli amwesimbamu amuvaako ayavuwadde ng’emmaali ye agimuguzizza. Abasuubuzi bagamba nti Drake alina kkapa enjeru zeyateeka mu bizimbe bye ezisula zikaaba kyokka webazimuloopera abaddamu nti ago maanyi ge, abasuubuzi abawulira nga tebaagala kuzirabako bave ku bizimbe bye.

LUBEGA AGAMBA KI
Omu ku ba maneja b’omugagga Drake atayagadde kumwatuukiriza mannya, ategeezezza nti ekizimbe kya Yamaha kyusiddwa ne kidda mu mikono gya Drake era emirimu gitambula bulungi, wabula eby’okutulugunya abasuubuzi n’akigaana kubanga Drake y’omu ku bagagga abasinga okuwulizianya n’abapangisa be.

OMUGAGGA EYAGUZE EKYA SEBALAMU ATABUSE
Omugagga Daudi Mutebi nannyini kizimbe kya Freedom Centre ekisangibwa e Nabugabo kyeyagula ku John Bosco Ssebalamu nanyini Freedom City, atabuse n’abapangisa be lwakubalagira basse emikono ku kiwandiiko ekiraga nti abongezza renti abasuubuzi abamu kyebagaanye era bano n’abawa ennaku 3 nga bamuviiridde ku kizimbe. Daudi yayongezza renti okusinziira ku bunene bw’edduuka, ow’edduuka eddene abadde asasula wakati wa 1,000,000 ne 2,000,000 buli mwezi yamwongeddeko 400,000 ate ab’amaduuka amatono ababadde basasula 500,000 ne 900,000 yabongeddemu 200,000. Ekiragiro kino kitandika February, ekyanyiizizza abamu ku basuubuzi ne baggalawo nga balumiriza omugagga ono okumenya obuwaayiro obuli mu tteeka erirung’amya omupangisa ne landi loodi, eteeka ligamba nti landiloodi waba ayagala okwongezza ekizimbe alina okutegeeza omupangisa emyezi ebiri mu maaso nti ajja kwongezza ssente z’ekizimbe ate talina kwongeza kusukka bitundu kumi ku buli kikumi kyokka abasuubuzi bagamba nti omugagga Daudi obuwaayiro buno yabumenye.

OMUGAGGA MUTEBI YEEWOZEZZAAKO
Kyokka Daudi Mutebi bw’atuukiriddwa ategeezezza nti okusalawo okwongeza renti baakikkanyizzaako n’abasuubuzi era buli ekyakoleddwa kiri mu mateeka abasuubuzi abanaagezaako okumenya endagaano gye baakoze ajja kunoonya awalala w’akolera.Mutebi alina ebizimbe ebirala okuli Arrow Centre, Premium byonna bisangibwa Nabugabo.

SEBALAMU WA FREEDOM CITY ASULA AKAABA LWA MABANJA
Embeera y’obwavu etwalaganya omugagga John Bosco Ssebalamu nanyini kizimbe kya Freedom Centre e Namasuba. Ono amabanja agali eyo mu buwumbi ge gamusuza ng’akukunadde, yatuuka n’okwetundako ebizimbe bye omuli Freedom Centre n’asasula ku bamubanja kyokka ne gataggwayo ate n’ekizimbe kya Freedom City e Namasuba ekyali kimukolera ku ssente tekikyakola bulungi kubanga abategesi b’ebivvulu batyayo olw’ekikangwabwa ekyatuuka mu kifo kino abantu abasoba mu 20 we baafiirayo nga kati baana bato be baasigalira okugendayo. Mu njega eno kigamibwa nti Ssebalamu yasaasaanya ssente nyingi mu bitongole bya ssecurite okunafuya omusango ng’asuubira ajja kuddukira ewa pulezidenti Museveni amutaase kyokka naye amwekwese.

Share This Article