PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ayongedde okutabuka ku nsolima ezaagala okumulemesa okutuuka Entebbe mu ntebe bwakunyizza Mutoni Shiko mukyala wa mukwano gwe Ali Bukeni (Nubian Lee) ku pulaani abanene mu kibiina gye babadde baluse okumutwala e Gulu okusisinkana Gen Salim Saleh muto wa pulezidenti Museveni babeeko ensonga z’omunda ze banyumyako.
Ensonda munda mu NUP, zitukakasizza nti Bobi Wine eyalina essanyu eringi olwa mmeeya wa Division y’e Nakawa Paul Mugambe okulonda Mutoni ku bumyuka bwe, kyamusanyusa nyo nga yakiraba ng’okuddiza mukwano gwe Lee eyali mu kkomera e Luzira ku misango gy’okulya mu nsi olukwe egyali gyamuggulwako mu kkooti y’amagye e Makindye.
Wabula kyamuyitirirako bweyakitegeera nti ate omuntu gwe yasanyukira okuwa mukyala wa mukwano gwe omulimu, yalina ddiiru z’okulya mu situlago olukwe zeyali atandise okumuyingizaamu ng’amuperereza bagende ewa Gen Saleh ng’amukakasa nga bwewataliiwo muntu yenna agenda kukitegeera nga olugendo lwabwe lugenda kubeera lwa kyama nyo.
Mugambe bamulumiriza nti yamatiza Mutoni nti okubukulembeze kintu kizubu nyo ng’olina okukolagana n’abantu abawagizi bo be batayagala n’ayongerako nti tosobola kutambuza bukulembeze nga tokwatagana na banene mu gavumenti nti era balina enkwatagana ey’amaanyi ne Gen Saleh era ayagala nyo okumusisinkana babeeko ensonga ze boogerako.
BOBI WINE ATEGEERA KU LUKWE NE YEEWERERA MUGAMBE
Bobi olwategeera olukwe lwonna n’akubira Nubian essimu n’amusaba agende mu maka ge e Magere n’amubuulira byonna ebigenda mu maaso era ne bakkaanya okusisinkana omukazi.
Enkeera Nubian yatwala Mutoni e Magere era eno gye yayogerera byonna Mugambe byeyali amusabye okukola n’abakakasa nti essaawa yonna abadde agenda kubuulirako omwamiwe.
Abakulu mu kibiina okwali Bobi Wine, Lee, Joel Ssenyonyi akulira oludda oluvuganya mu palamenti, David Lewis Rubongoya ensonga baazituulamu era wano we baasalirawo okuggya Mutoni mu byobufuzi ne pulaani y’okuyeekera Mugambe etandikirewo mu bwangu ddala.
BAPANGA OKUGGYAWO MUGAMBE:
Mu kusooka bakkaanya okuleeta Godfrey Luyombya sipiika wa Division y’e Nakawa ku kifo kya Mugambe wabula bwe baakola okunonyereza ne bakizuula nti naye alina embaliga kwekusalawo Lee yenyini ayambale akakoofiira akamyufu ekifo akitwale.
MUGAMBE MUSAJJA MUGAGGA DDALA
Bobi ne banne baakola okunonyereza kwabwe ne bakizuula nti ddala Mugambe musajja akasente akalina ng’alina ne kampuni ekola bbaatule z’emmotoka, gye buvuddeko yamaliriza enyumba ye empya etemya ng’omuntu emuweesa ekitiibwa nga mmeeya.
Mugambe muganda w’omubaka Ronald Balimwezo owa Nakawa East ng’ono abadde amutaddeko akazito ave mu nyumba gyasulamu e Mutungo azimbe endala nga eno y’ensonga lwaki Balimwezo yagula ettaka e Lubowa mu bagagga gyazimba enyumba ye empya nga eno gyagenda okusengukira oluvanyuma lw’akalulu ka 2026.
EBYA BALIMWEZO NABYO BIBI
Ab’omunda mu NUP batubuulidde nti olwa ddiiru za Mugambe, y’ensonga lwaki Bobi yasendasenda Balimwezo okuva ku kifo ky’omubaka wa palamenti owa Nakawa East mu 2026 agende yeesimbe ku bwa Loodi meeya wa Kampala wadde nga bakiriza nti emikisa alina mitono okuwangula Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago.
Bobi Wine e Nakawa yatwalayo musajjawe Alex Waiswa Mufumbiro omumyuka w’omwogezi wa NUP nga wadde Balimwezo yakkiriza okuviira Mufumbiro wabula ensonda zitukakasizza nti munda amuyeekera era tatambula naye ng’ayigga akalulu.
Bobi Wine yalangirira dda nti ne bwanaabeera mugandawe nga Chairman Fred Nyanzi oba mukwano gwe Eddy Mutwe n’akizuula nti nsolima, agenda kumwabya era tagenda kuddamu kukolagana naye mu situlago nga kino kyeyakola Mathias Mpuuga Nsamba eyali akulira oludda oluvuganya mu palamenti olwokulya obukadde bwa ssente 500 ng’akasiimo okuva ewa pulezidenti Museveni.
Mufumbiro yakakasa ONO BWINO nti Bobi ateeka ssente n’ebiseera bingi mukuketta n’okufuna amawulire agava mu ttiimu ya pulezidenti Museveni nga eno y’ensonga lwaki ebiseera ebisinga takola nsobi bw’abaako ensonga gyasalawo.
BOBI BAMULABUDDE KU KWEGGYAKO MUGAMBE
Abagoberera ebyobufuzi e Nakawa batubuulidde nti wadde Mugambe alina emikisa mitono okuwangula kaadi ya NUP, ate Nubia alina emikisa mitono naye okumuwangula mu kalulu ka bonna singa anaasalawo okwesimbawo ku lulwe.
ENGALO ZA MUGAMBE ZIWEWEERA
Mugambe abalonzi bamwogerako ng’omusajja omugabi adduukirira enyo abali mu bwetaavu ate abakyala bamweyunira nyo olw’akasente akangi kaalina ate akagaba nga ne bakansala abakyala bamutegeera, era abalonzi bangi bagamba nti Mugambe agaba nga jjenge alina engalo eziweweera.
Mutoni y’omu ku bakansala ku lukiiko lwa Mugambe aboogerwako ng’abakozi nga omukulu teyejjusa lwaki yamuwa obumyuka bwe wadde ng’omwamiwe yamugobye mu byobufuzi n’amulagira addeyo ewaka alabirire abaana.
MUFUMBIRO BAMUSUUZIZZA OGUFO
Ensonda mu NUP zitubuulidde nti Mufumbiro agenda akkakkana oluvanyuma lwa Bobi Wine okumulemesa okwesimba ku mukamawe Joel Ssenyonyi ku kifo ky’omwogezi wa NUP mu ttabamiruka waabwe awedde.
Mufumbiro empapula yaziggya mu kakiiko k’ekibiina ak’ebyokulonda nga talina muntu yenna gwategezezzaako nga Bobi Wine olwakitegeera n’amuyita n’amusaba obuteesimba ku mukamawe nga kino kyali kigenda kwawulamu ekibiina naddala mu kaseera kano nga abalabe baabwe beeyongera.
Mufumbiro yakkiriza wabula Bobi Wine n’alagira Ssenyonyi okumukwatirako ku nsonga za kampeyinni zeyatandise e Nakawa East ng’amuteekamu akasente k’okunonya akalulu.
Mufumbiro akimanyi nti okutuula mu lukiiko lw’abanene mu kibiina, alina okubeera ng’aliko ekitongole kyakulira ng’ate alaba nti Ssenyonyi alina emirimu mingi kubanga yaakulira oludda oluvuganya mu palamenti.
Ono emirimu gy’okwogerera ekibiina egisinga yaagikola ate nga mukamawe bweyali yaakalonda Ssenyonyi okudda mu kifo kya Mpuuga mu 2023, yamusuubiza okumukuza akulire ekitongole wadde nga weyamugambira bino ng’obunkenke bwamanyi ng’atya nti munnamawulire kati eyagenda ku kyeyo e Canada, Patrick Kanyomozi ekifo yali akimutwalako.


