GEN MUHOOZI KAINERUGABA omuduumizi wa UPDF era omuwabuzi wa pulezidenti Museveni ow’oku ntikko ku bikwekweto alangiridde nti essaawa yonna securite egenda kubaako ebikwekweto eby’amaanyi byekola munda mu ggwanga mwegendera okukwata abo bonna abaneenyigira mu bikolwa by’okukola effujjo ku bakazi n’abakadde mu kiseera ky’akalulu.
Nti bonna abanaakwatibwa baakutwalibwa mu beesimenti ye gyabadde yaggala oluvanyuma lw’okusomesezaayo Edward Ssebuufu (Eddy Mutwe) Olunyankole.
Muhoozi agenze okulangirira ekikwekweto kino, nga pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu(Bobi Wiine) yaakasisinkana Sir Mo Ibrahim nnaggagga Omungereza alimu n’Omusaayi gw’e Sudan amanyiddwa ng’omukozi wa likodi ezisendasenda bapulezidenti abatiibwa ennyo mu Africa okuwaayo obuyinza mu mirembe era akasiimo abawa ka bukadde bwa ddoola za America 5.
NNAGGAGGA ATABUKIDDE M7 OKULEMERA MU NTEBE
Nnagagga ono yatabukidde nyo pulezidenti Museveni gweyayogeddeko nga mukwano gwe okutulugunya enyo abamuvuganya naddala Bobi Wine n’amusaba abeeko kyakola ku mutabaniwe Gen Muhoozi.
Ibrahim nga ye yatandikawo kampuni y’amasimu eya Celtel, eyavaamu Airtel, yategeezezza nti yabadde tasuubira nti Bobi Wine agenda kwetaba mu musomo gweyategese e Morocco abakungu gye baakubaganyirizza ebirowoozo ku ngeri amawanga g’Africa bwegasobola okwebeezaawo mu by’obukulembeze nga tegeesigamye ku Bazungu n’obukodyo obulina okukolebwa okutumbula enfuga ya demokulasiya mu Africa.
Mo eyabadde omukambwe yeewunyizza nyo Museveni okutulugunya Bobi Wine ate ng’akimanyi nti abantu gwe baagala n’amusaba okuteekesa mu nkola demokulasiya eyamutwala mu nsiko okulwanyisa gavumenti za bannakyemalira bannayuganda basobole okwenyumiriza mu ggwanga lyabwe.
Ono yategeezezza nti tamanyi oba ne Bobi Wine bwanaatwala obuyinza bw’eggwanga agenda kweyisa nga Museveni nga kino okukikakasa Museveni alina okuwa bannayuganda omukisa ne bamulonda ku bwapulezidenti.
Alex Waisswa Mufumbiro omumyuka w’omwogezi wa NUP atubuulidde nti Bobi ne ssabawandiisi wa NUP David Lewis Rubongoya baafunyeemu akafubo ak’ekyama ne nnaggagga Mo mwe baayogeredde ku nsonga enyingi eziruma Bannayuganda, omugagga yabasuubizza okubayamba mu ngeri yonna okulaba ng’efuga ya demokulasiya enywera mu Uganda.
Mufumbiro atubuulidde nti balina abagagga abalala mu America, Bungereza ne mu mukago gwa Bulaaya be boogerezeganya nabo okulaba nga bawagira situlago y’okukyusa obukulembeze mu Uganda.
ATWALIDDEMU NE PULEZIDENTI WA TZ
Mo teyakomye ku Museveni, wabula yatwaliddemu ne pulezidenti wa Tanzania Hassan Suluhu gweyasabye okukomya okutulugunya aba Opozisoni naddala Tindu Lissu gweyaggulako emisango gy’okulya mu nsi olukwe nga yamuwera n’okwetaba mu kalulu akabindabinda.
Mo, mu 2007 yatandikawo ekibiina kya Ibrahim Mo foundation nga muno mwayita okusiima bapulezidenti abalwaniridde enfuga ya demokulasiya mu mawanga gaabwe n’okuwaayo obuyinza mu mirembe nga buli akikola amuwa obukadde bwa ddoola za America 5 ( Eza Uganda; 18,098,551,700).
Omugenzi Nelson Mandela eyaliko pulezidenti wa South Africa, Mohammad Issoufou eyaliko pulezidenti wa Niger, Hifikepune Pohamba eyaliko pulezidenti wa Namibia, Justus Mogae eyaliko pulezidenti wa Botswana, Joaquim Chissam eyaliko pulezidenti wa Mozambique be bamu ku bawangudde ebirabo ne ssente ezaateekebwawo Mo olw’okuwaayo obukulembeze mu mirembe, era ekirabo kino n’okutuusa kati akyakigaba.
Mo enzaalwa y’e Sudan naye nga kati yafuna obutuuze e Bungereza, obugagga bwe obusinga abukoze mu byampuliziganya olw’okutandikawo kampuni y’ebyempuliziganya Celtel mweyakola ssente empya n’enkadde oluvanyuma gyeyaguza Abawalabu ba Zein nga kati baagitunda ne bagituuma Airtel.
NE M7 AKYAWERA
Wadde Bobi Wine yeewaga nga bwagenda okukozesa abagagga okumuyambako okutwala obuyinza, Museveni yeewera nti Bannayuganda be balina okwesalirawo ani abeera pulezidenti waabwe era yalabula nti Bobi Wine ne banne ssente zebafuna mu Bazungu okulwanyisa gavumenti ye bazifuna mu bumenyi bw’amateeka nga yalaalika nti essaawa yonna bwino yenna ku ngeri ssente zino bwezibadde zitambulamu baakumulaga Bannayuganda.
Gen Muhoozi naye yalabula nga bwagenda okukola ku Bazungu naddala b’ambasada abayambako Bobi Wine okubalwanyisa n’awera nga bwagenda okubakwata abazzeeyo mu mawanga gaabwe embeera eyabaleetera okwemulugunya ewa Gen Salim Saleh okubataasa.
NUP LEERO LWESALAWO KU NSOLIMA MU KIBIINA
Olwaleero NUP lwetuuza Ttabamiruka waabwe ku tendekero ly’obukulembeze e Kamwokya. Mufumbiro atubuulidde nti bakulonda obukulembeze bw’ekibiina obupya nga baakutandikira ku bwapulezidenti, ssaabawandiisi, omuwanika, omwogezi n’ebifo ebyenkizo ebirala.
Okusinziira ku bbaluwa ONO BWINO gyeyalabyeko ng’eteereddwako omukono gwa Rubongoya, Bobi waakubuulira bakulu banne engeri ekibiina gy’akitambuzaamu, Rubongoya naye waakusoma lipooti ku ngeri emirimu bwegitambudde mu kibiina, kuno baakugattako lipooti z’abakulira ebitongole ebyenjawulo mu kibiina abagenda okusomera abakulembeze lipooti zaabwe.
Ensonda zitubuulidde nti mu lukiiko luno, obukulembeze webugenda okusalirawo ku kigenda okukolebwa abakulembeze abatali bagonvu, abayisaamu obukulembeze bwa Bobi Wine amaaso. Bano okusinga batunuulidde babaka ba palamenti, bakansala n’abanoonyeza ekibiina obuwagizi wansi abaakazibwako ba ‘foot soldiers’.
Bano Muhammad Muwanga Kivumbi omumyuka wa Bobi Wine mu Buganda era omubaka wa Butambala yabawa omwezi gumu nga beetonze ekintu kye bataakola, kyokka abamu beyasaba okwetonda nga Owek. Mathius Mpuuga, Abed Bwanika, Micheal Kakembo, Juliet Kakande baatandiseewo ekibiina ekyabwe ki Democratic Front-DF, ate ababaka Jimmy Lwanga, Twaha Kagabo ne beegatta ku NRM.
AMAASO KU SSEGGONA, KAZIBWE NE BAAGALA
Kati amaaso bagatunuulizza Joyce Baagala (MP Omukazi, Mityana), Medard Lubega Sseggona (Busiro East), Bashir Kazibwe Mbaziira (Kawempe South), Veronic Nanyondo (MP Omukazi, Bukomansimbi) be balumiriza nti bakukuta ne Mpuuga eyali ayagala okuwamba obwapulezidenti bwa Bobi Wine mu NUP.
BAKANSALA BASATTIRA
Bakansala ba NUP abakiika ku lukiiko lwa Division y’e Lubaga, abakiika ku disitulikiti y’e Wakiso nabo baakukubwamu ttooci kubanga obujulizi weebuli obubalumiriza okukukuta ne Museveni nga y’ensonga lwaki baalonda sipiika w’e Lubaga Musa Mbazira owa NRM ate ab’e Wakiso ne bakkiriza okugenda e Galuga okusisinkana pulezidenti Museveni n’abawa ssente.
Ensonga ya ba foot soldier okusiiwuuka empisa nayo yakutunulwamu, abamu ku bakulembeze naddala ababaka ba palamenti balumiriza Bobi okubawenduliranga ba foot soldiers ne babalebula n’okubatyobolera mu nkung’aana z’abantu abangi ne ku mitimbagano.
Ba foot soldiers baatabuka nga kati ne Bobi Wine yenyini bamuyisaamu eggaali nga bamulumiriza okwekobaana ne mukulu we Fred Nyanzi Ssentamu okubalemesa okulya ebifo by’obukulembeze mu kalulu ka 2026 nga baleeta ensolima okulya ebifo byabwe olwokuba bo balina ssente zebabawa.
Abamu kuba foot soldiers nga Rabaj Bukenya abasinga gwebamanyi nga Mulyakimu abeegase edda ku kibiina kya People’s Front Freedom (PFF) abakulemberwa Dr Kizza Besigye n’Omuloodi Erias Lukwago, baatandise kakuyege w’okwesimba ku bantu NUP beeyagala okusimba ku bifo byabwe byebamaze ekiseera nga beeteekerateekera.


