OBUNKENKE bw’agudde ku kizimbe ky’omugagga omu mu Kampala ekisangibwa e Nabugabo okumpi ne paaka ya ttakisi empya omuwala omugagga w’ekizimbe kino gwe yawa eduuka ery’obwerere bwe yaddukidde gy’ali ng’aloopa abapangisa abayongezza obuyunba bwe yazimbye ku madaala.
NNABE YAVUDDE WA?
Omugagga w’ekizimbe kino yakuba obuyumba ku madaala agali mu kizimbe kino, abasuubuzi ab’enjawulo ne babupangisa. Kyokka ne wankubadde omugagga yasaba akakadde kamu (1,000,000) buli kayumba, abasuubuzi abasinga ababukinga obuyumba buno basaba abaagala okubukoleramu akakadde kamu n’ekitundu (1,500,000).
Kati obuzubu we bwavudde mu kizimbe ky’omugagga ono kino mulimu abawala abato be yawa amaduuka ku bwerere kubanga abasisinkana mu Serena ne bamusanyusa buli w’abeera ayagalidde. Era ng’abaduuka yagabawa nga akasiimo ku lw’emirimu gy’omubuliri gye bamukolera. Kati omuwala omu yali yapangisaako omuntu ekitundu mu dduuka lye. Wabula omuntu ono yamutegezezza nti agenda kuva mu duuka lye kubanga waliwo eyamufunidde ekifo mu buduuka bw’omugagga obupya bwe yazimbye ku budaala.
Omuwala ono bwe yalabye ng’agenda kufiirwa ssente za buli mwezi omupangisa z’abadde amuwa amusasula, yakubidde omugagga essimu n’amuloopera nti, “Beebbi, obuduuka bwe wawa abasuubuzi ku akakadde kamu, ate bbo bali mu kubupangisa ku akakadde kamu n’ekitundu.”
Kino kyanyizizza nnyo ‘Bbeebi’ (Omugagga) n’ayita maneja we bukubirire n’asalawo naye okwongeza obuduuka bwe ku akakadde kamu n’ekitundu.
Ono Bwino yayongedde okukola okunoonyereza ne tukizula nti abagagga bangi balina abawala be bakozesa ng’okubasasula baabawa maduuka. Abawala bano era bakola nga bambega b’abagagga okubawa amawulire ku basuubuzi abakolera ku bizimbe byaabwe.
BUUBUNO OBUKODYO ABAGAGGA BWE BAKOZESA OKUSIKIRIZA ABAKAZI BABAWE EKIBALA OLW’AMADUUKA
Edward Ntale ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi ekya UATEA, ategeezezza ONO BWINO nti abagagga beyagalira nnyo ku basuubuzi abakolera ku akeedi, abakazi mu akeedi mu Kampala batandika bizinensi nga tebalina ssente ng’okumalako ne bizinensi bagibalidde ku kukozesa bitundu byabwe eby’ekyama, abagagga bakozesa omukisa guno nebaganza abakazi nga tebataliza mufumbo n’atali nga babamatizza nti bagenda kubawa amaduuka ne kapito bongere bizinensi zaabwe zikwateyo.
ABAGAGGA BALIMBA ABAKAZI NTI BAJJA KUBAWA OBWAMANEJA
Abagagga bamatiza abakazi mu akeedi nti bajja kubasasulira ku renti n’okubawa obwamaneja ku bizimbe ne kireetera abakazi okusikirizibwa okubawa ebyalo kyokka olumala okubakozesa nga babeefuulira nga babasuluawo, eby’okubasalira ku lenti nga babivaaako ne yeekwasa nti naye alina bakama be abamuwa omulimu gw’okubaddukanyiza ebizimbe.
WAGGULU KU BIZIMBE WABEERAYO LOOGI NGA ZISINDOGOMA
Waggulu ku bizimbe abagagga abasinga baakolayo loogi gyebatwala abakazi ne babeebakako, abagagga abalala baapangisa obusenge ku Hotel ennene eziri mu Kampala omukazi yenna aba ayagala edduuka nga mulungi, abagagga balagira ba maneja baabwe nti asooka kumutwala butereevu mu kisenge kya Hotel gyeyapangisa gyebabeera bakanyizza eby’edduuka, wabula omukazi olutuukayo omugagga ng’amuganza nga mulyako ebibye ng’amuwa edduuka ku layisi mu kaseera katono ebbanga weriyitawo ng’amwefuulira.
Omugagga bw’aba yaakazimba ekizimbe abasuubuzi abakazi bangi bamwettanira nga baagala abawe amaduuka ku layisi ekizimbe kifune akatale kikwatayo, wano omugagga afuna omukisa ne yeebaka ku buli mukazi ayagala edduuka.
KYEBAKOLA ABALEMEDDWA OKUSASULA ENKOKO BAANA
Abagagga bangi era balumirizibwa okwebaka ku bakazi nga bagenzeeyo okubeegayirira babaggulirewo amaduuka agaggaddwa olw’abasuubuzi okulemererwa okusasulira mu budde, wano abagagga beeyambisa omukisa guno ne beebaka ku bakazi basobole okubaggulirawo amaduuka bakole.
OKUBAGULIRA AMAMOTOKA AGATEMYA NG’OMUNTU
Abagagga basuubiza abakazi abanyirira mu bizimbe nti bajja kubagulira emmotoka ez’ebbeeyi n’okubazimbira ebizimbe mu Kampala kumbe babasika eriyo ebafabbakula.
OMUGAGGA W’OMU KIKUUBO ASUDDE KOJJA WE EDDALU GWE YAYAGALIDDE OMUKAZI
Ntale ategeezezza nti abagagga tebataliza bakazi ba bang’anda zaabwe, waliwo omugagga alina ebizimbe mu Kikuubo [amannya ge agasirikiddwa] eyanaaba ensonyi n’asigula muka kojja we omuto akolera ku bizimbye bye. Omugagga ono ye nanyini kizimbe kya JKP Plaza mu Kikuubo, kigambibwa nti yasooka kusonyiwa mukazi wa kojja we lenti n’ekigendererwa eky’okumuganza era omukwano gwabwe negwongera okukula, kyokka nti nanyini mukazi [kojja w’omugagga] ensonga za mukazi we n’omugagga abapangisa ku JKP baali baazimugamba naye nga tabakwatanga okutuusa we baamubagulizaako nti mukazi we n’omugagga baalina loogi emu gyebaalimu naye kwe kubalumbayo n’abakwata lubona nga beesaafiisa mu loogi esangibwa ku kizimbe kino waggulu.
Wabula olw’ensonyi omugagga yateesa ne kojjawe namusasula ssente obukadde obwasoba mu 15 mu kkaasi, kojja ensonga n’azivaamu omukazi namulekera omugagga, wabula kigambibwa nti oluvannyuma lwa bino byonna okubaawo kkojja w’omugagga eyali nanyini mukazi yagwa eddalu abamu kyebagamba nti omugagga ye yaloga kojja we aleme kumusaasaanya mu bantu nti yamukwata ne mukyala we aswale.
ABAGAGGA BEEYAMBULULIRA MU BAKAZI OKWEGOBAKO EBISIRAANI:
Waliwo abagagga abeeraguza n’okusaddaaka mu masabo nga baagala bongere ku bugagga bwebwalina n’okuwangaaza ssente zebalina. We batuuka mu balogo babalagira okukola saddaaka ez’enjawulo omuli n’okwebaka ku bakazi abakyali embeerera naabo abazaalako babeeyambuliremu ebisiraani ebibalemesezza okugaggawala ennyo. Abaggaga bano kati baayiga akakodyo k’okufuna abawla abato be beeyambululiramu ebisiraani byaabwe nga bamaze okukola ssadaaka.
Nga bayita mu bamaneja baabwe be beesiga, abagagga banoonya mu kizimbe abapangisa abakazi abalina abaana baabwe embooko. Bwe bazuula omuwala gwe beetaaga, babulooka b’abagagga bano batandika okuperereza Maama w’omuwala nga bamusuubizza nti tagenda kuddamu kusasula Rent obulamu bwe bwonna. Bamugamba nti singa omwana we asanyusa nnyo omugagga, n’omwana basobola okumuwa edduka erirye ku bwerere n’alikozesa oba n’alipangisa omuntu omulalala ye ne bamusasula buli mwezi.
EBIZIMBE BY’OLABA BITUDDE KU MUSAAYI GW’ABANTU
Kigambibwa nti ebizimbe by’abagagga ebisinga bitudde ku musaayi gw’abantu n’ebisolo olwa saddaaka ezaabaweebwa abalogo nti singa bazivaako emmaali yabwe yonna esaanawo.
ABAGAGAGGA BOOGEDDE
Omugagga Fesito Kasajja nanyini bizimbe okuli Kasajja 1, 2ne 3 mu Kisenyi, ategeezezza ONO BWINO nti bwe baakimanya abakazi baagala nnyo okubeetega babaganze, kati baakyusa mu nkola okwewala okugwa mu mukano n’abakazi, baasalawo ensonga za lenti okuzikwasa bamaneja b’ebizimbe era bano be bavunanyizibwa ku kugaba n’okugeraka ebisale by’amaduuka era omupangisa yenna alemagana ne manejja ng’ava ku kizimbe.
Ayongeddeko nti abagagga baakowa abakazi kubanga babeesimbyemu nnyo nga bagala okubatwalako ebizimbe byabwe nga babalumiriza nti baabaganza nebabazaalamu abaana.


