OMUWABUZI wa pulezidenti Museveni ku bikwekweto eby’enkizo era omuduumizi wa UPDF nga y’akulira n’ekisinde ky’ebyobufuzi ki Patriotic League of Uganda (PLU), Gen Muhoozi Kainerugaba yalangiridde David Lewis Rubongoya ssaabawandiisi wa NUP ng’omu ku baaduuyi abawagizi be be balina okutunuulira n’eriiso ejjogi ng’alumiriza nti yabalyamu olukwe.
Muhoozi yalumirizza Rubongoya [ng’abasinga mu NUP batera kumweyita SG ekitegeeza Secretary General] nga bwatali Munnayuganda mbu Murundi gwe baazaala e Burundi.
Bino mutabani wa Museveni byonna yabitadde ku mutimbagano gwe ogwa X, eyadda eyayitibwanga Twitter, nga minisita w’abaana n’abavubuka Balaam Bagaruhare bw’agattamu ssupu nti omuli w’enkwe Rubongoya abonerezebwe.
Frank Gashumba omumyuka wa ssentebe wa PLU atwala Buganda ye yasoose okusaasaanya obutambi ng’akubiriza abawagizi ba NUP naddala abavubuka ba Foot Soldiers okwegendereza enyo Rubongoya gweyalumirizza obwambega nti Museveni yamuteeka mu NUP okusobola okunyweza oludda oluvuganya ng’eno y’ensonga lwaki mu banene mu NUP bonna abazze bakwatibwa ne baggulwako emisango mu kkooti n’okusibwa mu makomera Rubongoya taliiko.
M7 RUBONGOYA YASOOKA KUMUKWASA KAYIHURA?
Gashumba yalumirizza nti Rubongoya y’omu ku bavubuka pulezidenti Museveni beyakwasa Gen Edward Kale Kayihura ng’akyali ssaabaduumizi wa poliisi okunywereza gavumenti ye mu buyinza era omulimu ogwo agukoze bulungi n’akakasa n’okukakasa nti eyaduumidde bakkomando ba JATT abaakubye n’okutulugunya abawagizi ba NUP e Kawempe mu kampeyini z’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North nti yabadde muganda wa Rubongoya.
Rubongoya n’abakulu mu NUP baabadde bakyewozaako ku bulumbaganyi obwabadde bubakolebwako ate n’abakulu mu Democratic Alliance (DA) ekisinde ky’ebyobufuzi ekikulemberwa Mathias Mpuuga Nsamba eyali akulira oludda oluvuganya mu palamenti nabo ne bamulangirirako olutalo.
NE KASIBANTE ALANGIRIDDE SSEMATALO KU RUBONGOYA
Moses Kasibante eyaliko omubaka wa Lubaga North nga Mpuuga gweyakwasizza obuvunanyizibwa bw’okukwanaganya okukungira ekisinde kyabwe obuwagizi mu Kampala, yalangiridde nga bwagenda okulwana enyo okulaba nga Rubongoya tawangula bubaka bwa palamenti okukiikirira abantu ba Kampala Central mu kalulu ka 2026.
Ono ategeezezza nti bo ng’abaludde ku ludda oluvuganya nga balwanyisa gavumenti ya Museveni, tasobola kukkiriza Rubongoya kweyagalira mu ntuuyo zaabwe nga ze zaaviirako n’okugoba Museveni mu Kampala ne Buganda okutwaliza ewamu n’anyonyola nti Rubongoya bw’abeera ayagala okwesimbawo mu 2026 addeyo ewaabwe e Kiruhura gyalina ffaamu y’obuwumbi n’obuwumbi bwa ssente gy’abeera yeesimba.
ABED BWANIKA NAYE AWERA NKOLOKOOTO
Abed Bwanika eyakwasiddwa okukulira okunoonyeza DA obuwagizi mu Masaka, ye yasooka okulangirira olutalo ku Rubongoya n’ategeeza nti ne bwekinaabeera kyetaagisa butaddayo waabwe e Kabonera mu Masaka okunoonya obululu okudda mu palamenti mu kalulu ka 2026, agenda kukikola amaanyi ge gonna n’obusobozi bwe abiteeka mu Kampala alwanyise Rubongoya ne Alex Mufumbiro omumyuka w’omwogezi wa NUP ayagala okwesimba ku kifo ky’omubaka wa Nakawa East ekirimu MP Ronald Balimwezo mu 2026.
KASIBANTE NAYE SSENTE AZIGGYA WA SALEH
Wabula ensonda mu Democrat Party (DP) Kasibante gye yasookera okuzannya ebyobufuzi zitubuulidde nti Kasibante tasobola kulumba Rubongoya nga naye sente kwagaggawalidde n’atandikawo ensuku n’ebiyumba by’embizzi kwokomya amaaso e Nsangi-Maya, ssente aziggya wa Gen Salim Saleh gwaguza embizzi ento n’ebirala mu nkola ya Operation Wealthy Creation.
NAYE DDALA LWAKI RUBONGOYA BAMULWANYISA?
Ensonda ku lusegere lwa Gen Muhoozi zitubuulidde nti tewali kintu kisinga kuluma mukulu ono ng’okulaba omuvubuka omugezi ava mu bitundu bya Ankole ng’alwanyisa gavumenti ya kitaawe Museveni nga kino akitwala ng’okubalyamu olukwe, era bangi azze abayita ne bakkaanya n’abawa ddiiru ensava ne bava mu byobufuzi.
Ensonda zitegeezezza nti Rubongoya abalumya nyo omutwe kubanga y’omu ku baana pulezidenti Museveni beyagenda kennyini mu bazadde baabwe n’ababasaba okubamuwa abasomese mu ssomero lya Kanyaryeru Primary School erisangibwa e Nyabushozi mu disitulikiti y’e Kiruhura ng’abateekateeka okutwala ebifo by’obukulembeze nga banne beyalwana nabo mu lutalo olwamuleeta mu buyinza nga bawummudde.
Ensonda zongeddeko nti e Kanyaryeru, Rubongoya yali mwana mugezi nyo, azze asomera mu masomero amalungi okutuusa bweyagenda e Makerere n’afuna diguli mu by’amateeka ne yeeyongerayo e Bugereza n’akuguka mu by’amateeka mu yunivaasite ezisinga mu nsi yonna ate ez’ebbeeyi, bweyakomawo e Uganda n’atandika okugasomesa ku Cavendish University ng’eno gyeyakwataganira ne pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) n’amuguza ekirowoozo ky’okuyingira ebyobufuzi, era okuva olwo ne batandika okuzoganya.
EBIKWATA KU SSOMERO M7 GY’AWEERERA ABAANA ABANAALYA AGAFO MU GAV’T
Omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda alumiriza nti essomero lya Kanyaryeru ery’omu Ankole, lyerimu ku gasinga okusasula ssente enyingi mu ggwanga lyonna nga gavumenti yeesasulira abaana abasomerayo nga basunsulwa okuva mu famile eziriina akakwate ku pulezidenti Museveni ng’abateekateeka kutwala buyinza bwa ggwanga.
Museveni ku ntandikwa ya 2025 yategeeza nti omu ku bayizi abaasomera e Kanyaryeru ye Jane Barekye akulira emirimu mu State House nga yanyonyola nti essomero lino yalitandika ng’okugezesa okulaba oba gavumenti esobola okusomesa abaana ku bwereere ne bafuna obuyigirize obulungi nga muno mwe mwava enkola ya UPE (bonna basome) nga yakubiriza abazadde n’abakulira amasomero okukomya okusaba abaana ebyetaago by’amasomero gamba ng’okusasula ssente z’ekyemisana babaleke basome nga gavumenti bw’esasula.
‘RUBONGOYA BW’OMUTUNUULIRA AMAGEZI GAMWESERA’
Munnamateeka Edward Luwaga Saansa alumiriza nti Rubongoya ne bw’omutunuulira alabikira ddala nga musajja mugezi era teyeewunya okubeera ng’abobbya abanene mu gavumenti n’abalabe ba Bobi Wine omutwe nga bakimanyi bulungi nti bwamuvaako Bobi Wine abeera awedde.
OLUTALO LWA RUBONGOYA N’ABA DA YA MPUUGA
Ensonda zitubuulide nti ekisinde kya People Power bwekyatandika nga Bobi Wine ayingidde palamenti, bannabyabufuzi mu Buganda naddala okwali Mike Mabikke, Henry Lubowa, Abed Bwanika, Samuel Lubega Mukaku baamanyira ddala nti essaawa y’okulya etuuse era ne baperereza bannaabwe abalala okuva mu DP okwali Mpuuga, Muwanga Kivumbi, Betty Nambooze okubeegattako.
Bano mu kusooka Bobi Wine baali bamuguzizza ekiteeso ky’okukozesa ekibiina kye People’s Development Party ekikulemberwa Bwanika mu kalulu ka 2021, wabula beewunya nyo ku ssaawa esembayo okukitegeera nti Bobi Wine yali afunye ekibiina kya National Unity, Reconciliation and Development Party (NURP), ng’akigula okuva ku Bosco Kibalama nga kikyusizza n’erinnya nga bakituumye National Unity Platform (NUP).
Ensonda zongeddeko nti kino Bobi Wine okukikola yali yeekengera Bwanika ne banne ng’akimanyi nti baali bakolagana butereevu ne pulezidenti Museveni, obumu ku bujulizi obuluma bano Dr Kizza Besigye ye yabumuwa nga y’ensonga lwaki yagaana okubawa ekifo kya ssaabawandiisi kye baali baagala okuwa Sulaiman Sserwadda Kidandala n’akiwa Rubongoya.
NUP ETUUKA OKUGABA KKAADI ZA 2021
Ensonda zongeddeko nti mu kugaba tiketi za NUP mu 2021, Bobi Wine yawuliriza nyo Rubongoya, Benjamin Katana ng’ono alina oluganda ku mukyalawe Barbra Kyagulanyi Itungo era y’omu ku bavubuka abaatendekebwa John Patrick Amama Mbabazi okutwala obuyinza bw’eggwanga ng’ayogerwako ng’omu ku bannamateeka abagezi enyo.
Katana, Rubongoya baagattibwako Joel Ssenyonyi kati akulira oludda oluvuganya mu palamenti, mu kiseera ekyo yali munnamawulire ku NTV nga banno be baayiwa ekibalo kya Mukaku ne banne okutwala tiketi za NUP mu 2021 ng’abantu nga Kasibante -Yali ayagala kya Rubaga North, Paul Keneth Kakande -Yali ayagala kwesimba Nakawa, Mukaku kennyini eyali ayagala ekya Rubaga South tiketi ne bagiwa Aloysius Mukasa, Lubowa ow’e Rubaga, Mabikke tebaazifuna, okuva olwo balina obusungu bungi ku Rubongoya ng’omuntu.
MPUUGA YAKOZESANGA EKYA LOP OKUYEEKERA BOBI
Ensonda ku lusegere lwa Mpuuga balumiriza nti Rubongoya ye yabuusa Bobi Wine nti Mpuuga yali akozesa ekifo kye ng’akulira oludda oluvuganya okumuyeekera amutwaleko obukulu bwa NUP era kino Mpuuga yakikakasa bweyategeeza nti Rubongoya yakubiranga ababaka ba palamenti aba NUP amasimu n’abeegayirira obutatambula na Mpuuga nti kyebakola kyali kinyiiza Bobi Wine.
LWAKI BOBI AKOONERAMU NNYO RUBONGOYA?
Ensonda mu NUP zitukakasizza nti Bobi Wine akkiririza nnyo mu Rubongoya ng’ebiseera ebisinga kyasazeewo kye kiteekesebwa mu nkola, ekimu ku kyokulabirako y’ensonga y’okuwa ba Foot Soldiers ensako buli lwe babeera batambude naye nga kino Bobi Wine yali akiwakanya nti ekibiina tekirina ssente, wabula Rubongoya olwakiwagira naye n’akikkiriza.
Ensonda zongerako nti famire ya Bobi Wine tebakiwulira bulungi omuntu waabwe okukulembeza okusalawo kwa Rubongoya ng’ebiseera ebisinga kino kitabula nnyo Fred Nyanzi Ssentamu mukulu wa Bobi Wine wabula nga mutoowe ebisaliddwawo Rubongoya tabisazaamu.
Ensonda zitubuulidde nti emu ku nsonga endala lwaki Bobi Wine ayagala nnyo Rubongoya, musajja mukozi, ku ofiisi atuukayo ku ssaawa 11 ez’okumakya nga bukya n’avaayo ku ssaawa 5 ez’ekiro mu nnaku ezitali za bunkenke.
Rubongoya bamwogerako ng’omusajja alengerera ewala obutego bw’omulabe akageri keyakolako ne Museveni n’abuusa Bobi Wine mu bwangu ate amanyi okunonya ssente n’okuteekateeka ebiwandiiko ebitambuza ekibiina nga kino kisanyusa nyo omukulu.
Abavubuka ba foot soldier ne bannamawulire Rubongoya bamukkiririzaamu nyo olw’okubanguyira n’okubawuliriza nga kino kinyiiza abalabe ba Bobi Wine.
RUBONGOYA AYANUKUDDE ABAMUFITINA
Rubongoya yayanukudde Muhoozi eyamuyise ow’enkwe n’amutegeeza nti ye talina muntu gweyali aliddemu lukwe wabula akolerera Uganda ennungi Bannayuganda bagyenyumiririzeemu n’amusaba naye akyuke awagire Bobi Wine by’awagira alabe oba taamuwagire.
Ono asekeredde bulijjo abakimuteekako nti akolera Museveni n’asaba bannayuganda okweggyamu okusosolegana mu mawanga ne mu ddiini bwe bagenda okusobola okununula eggwanga lyabwe obukulembeze budde mu mikono gyabwe.
Wabula ensonda mu baasomako ne Rubongoya ne Katana, batubuulidde nti okwegatta ku Bobi Wine kyaddirira NRM okubalwanyisa ne babamma ebifo ebisava mu gavumenti, Katana baamuyitanga mbega wa Mbabazi kati mu kiseera kino kizibu nnyo okubazzaayo kubanga ewa Bobi Wine beeyagala bulungi.


