BWEKITUUKA ku nsonga z’omukwano, abasajja bokka be balangirwa kasita ebintu bitagenda bulungi mu kisenge. Be bagamba nti tebamalaako era beebaswaza mu lujjudde. Naye owaaye, obadde okimanyi nti n’abakazi tebamalaako?
Ebimu ku bintu kw’osobola okulabira nti omukazi gwoli naye abulamu kwekuba nti ye nga ye tategeera mubiri gwe. Nga tamanyi watuufu woomukwata buli kimu nekigenda bukwakku n’otambuza ekintu okutuuka naye okukusiima nti oli muka.
Abasajja abamu bagamba omukazi atamanyi kukwata muzindaalo kutumira naye bamulabira ddala nga atamalaako.
TOLINA KUBEERA NGA KITEREKE
Waliwo n’ababeera nga ekitereke mu ssaawa y’akaboozi nga tebenyenya ate nga tebavaamu yadde eddoboozi. Nga bw’ebeera ya binyanyanyanya ebulamu okusindogoma obulungi.
Omusajja bwasanga omukazi nga alwanye entalo nyingi era nga tebakwataganye bulungi, atera okumusibako ogwobutawooma oba obutamalaako. Omukazi omukyafu era avaamu ekisu oyo naye abalibwa mu batamalaako. Zino ze ensonga eziyinza okuviirako omukazi obutamalaako mu kisenge.
EKIKULA N’OBUTEKKIRIRIZAAMU
Ekikula kye kasita abeera nga teyekkiririzaamu. Omukazi bwaba munene nnyo, asobola okukiteeka mu bwongo bwe nekimumalako emirembe okukkakkana nga takoze ekyo kyateekeddwa kukola mu nsonga z’akaboozi. N’omutono ennyo era asobola okufuna obuzibu bwebumu.
Amadagala gebakozesa naddala agenkola ya kizaala ggumba gakyankalanya obusimu bwabwe nebatosobola kukola bulungi mirimu gya mu kisenge.
OKWERALIIKIRIRA
Nga kwogasse okwennyamira, n’obuvune nabyo bisobola okulemesa omukyala okulagako kyalinawo bwekituuka mu kaboozi era eyo yeemu ku nsonga lwaki abamu babeera nga bitereke.
OBUTABANGUKO MU MAKA Engeri gyekiri nti omusajja ye agalula ne bwaba takwagala, ate ye omukazi bwaba anyiize ayinza obutasobola nsonga za kwegatta era beebo boowulira abakakibwa omukwano mu bufumbo.
Obutaba na bumanyirivu mu nsonga za mukwano nakyo kiviirako omukazi obutamalaako anti aba tamanyi kyakukola.
EBIBUUZO N’OKUDDAMU KWA SSENGA: Kiki ekibuza ffiiringi zange?
EKIBUUZO: Ssenga ogamba otya, nze Shina, nze mbuuza nti lwaki bba wange wetugenda mu kisenge ne tutandika sex feeling zange tezijja kyokka wendaba ‘blue movie’ feeling zijjirawo?
OKUDDAMU: Ekimu ku nsonga lwaki abasawo ne bannaddiini bagaana abantu okulaba obutambi bw’obukaba kwekuba nti bukabawaza obwongo n’omubiri by’omuntu. Ekyokuba nti obwagazi bwo bujja omaze kulaba butambi obwo kiri mu mutwe gwo n’olwekyo tandika okufa ku mwami wo, weewe obudde ng’omanya ebikusikiriza ku ye, mpolampola ojja kumuwa ekifo ky’agwana mu kisenge kyammwe. N’ekirala, ekyo ky’okola kikolwa kyakuyisa maaso mu muganzi wo kuba kiraga nti takusobola yeetaaga obuyambi okukuteeka mu mbeera.
EKIBUUZO: Nnaweza emwaka 20 nga sizanyagako kaboozi, naye kati nyina 22 nasisinkanye exiwage naye ssaamazeeyo wadde eddakiika 5 nengwa eri n’ansekerera, nkole ntya?
OKUDDAMU: Yakusekeredde kubanga ye atabadde nnyo ate ggwe okyali mupya mu nsonga z’omukwano. Teweemalaako mirembe kubanga teri atandika kintu mu bulamu buno na bumanyirivu. Kyokka ate era kiba kirungi ne weegatta n’omuntu akwagala naawe gwoyagala so si abo abeenonyeza ebyabwe kubanga akwagala ategeera mangu nti obusonga ng’okumalamu akagoba amangu bubaawo mu kisenge.
EKIBUUZO: Ssenga, ono Bosco e Kiboga, bwe nneegatta ne mukazi wange avaamu amazzi galinga amata matonotono, buzibu ki ate ang’amba ye tayina buzibu ate nze mba njagala ttaapu egayiwe ekikyaganye, ssenga nkole ntya?
OKUDDAMU: Mukyala wo talina buzibu, ago amazzi agamuvaamu ge gakuyambako okuseereza w’oyita nga mwegatta. Ky’olina okumanya buli mukazi yakula bubwe. Ago aga ttaapu gajja kujja nga omukutte awatuufu wegava. Yongera okunonya n’okuyiga omwagalwa wo. Kyokka amazzi agamuvaamu bwegaba gajja n’ekisu, mugambe alabe omusawo.
EKIBUUZO: Ssenga bwendowoza ku mukazi nsituka ate siri naye kumpi.
OKUDDAMU: Ekyo tekikweraliikiriza kubanga kyabuntu naye osobola okukyewala ng’otandika n’okukyusa ebirowoozo byo. Bwebaba nga bakazi be bakuyimusa, baggyeko ebirowoozo ebiteeke ku bintu ebirala eby’amakulu ebikukulaakulanya. Bw’otalwanyisa birowoozo byo ojja kuswalira mu bantu.
EKIBUUZO: Ssenga ono Jovan e Kiboga. Nnina mukazi wange bwetuba twepicha avaamu amazzi galinga amata nga makwafu, oyo kabootongo?
OKUDDAMU: Nedda mukyalawo mulamu bulungi. Amazzi gaba ga kkala eyo kubanga abeera mu kaseera k’okufulumya eggi era aba anaatera okugenda mu nsonga.
Ekibuuzo; SMS/WhatsApp; 0774602433/0758007311.


