Mayiga Bamufulumya Bulange Nga Talinnya: M7 Agaanye Okukwata Amasimu Ge, Abataka n’Abalangira Babatwala Kyankwanzi Ewa Muzeeyi…

KU ntandikwa ya wiiki ewedde, abayambi ba pulezidenti Museveni mu State House baamutuukiridde ne bamutegeeza nga Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga- CPM, bwayagala okwogerako naye ku nsonga y’enteekateeka zeyaliko okugenda e Mengo mu butongole okutema evvuunike ly’okutandika okukulaakulanya ettaka lyeyagulira abataka abakulu b’ebika mu Buganda.

Hadijja Namagembe
7 Min Read

KU ntandikwa ya wiiki ewedde, abayambi ba pulezidenti Museveni mu State House baamutuukiridde ne bamutegeeza nga Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga- CPM, bwayagala okwogerako naye ku nsonga y’enteekateeka zeyaliko okugenda e Mengo mu butongole okutema evvuunike ly’okutandika okukulaakulanya ettaka lyeyagulira abataka abakulu b’ebika mu Buganda.

Ensonda zaffe mu State House zitubuulidde nti okuva Mayiga bweyakitegeera nti Museveni agenda kukyala ku ttaka ly’abataka bo lye beeyitira ‘puloti one’, yatandikirawo okulwana okulemesa obugenyi buno ng’ayita mu bantu be munda mu State House nabo abaamukakasa nti omulimu bagunywezezza era omukulu bweyayongezaayo olunaku lweyalina okubeera mu kifo kino, Mayiga n’awaga n’ategeeza banne ku Bulange nti Museveni bwakyala ku ttaka ly’abataka, alekulira Obwakatikkiro bwa Buganda.

KYOKKA NE OWEK. SSEBUGGWAWO ALWANA

Ensonda zitegeezezza nti Mayiga abadde alwana okulemesa obugenyi bwa Muzeeyi, kyokka nga ne minisita omubeezi owa tekinologiya Owekitiibwa Joyce Nabbosa Ssebuggwawo naye ng’alwana okulaba nga Museveni akyala ku ttaka lino nga yakozesezza omukisa gw’okukulemberamu bannamawulire abagasakira mu Kampala okusisinkana Museveni mu State House e Nakasero n’amukuba akaama ng’abataka bwe bamulindiridde nga 25/07/2025 nga atongoza enteekateka z’okukulaakulanya ettaka lye yabagulira ku buwumbi 9.

Museveni yamukakasa nga bwagenda okubaawo nga tasobola kwerabira nsonga z’abataka ba Buganda, Mayiga yagenze okutuma abantu be ayogereko n’omukulu ku ssimu nga yasazeewo dda era beyabadde amutumidde yabategeezezza nti bajja kwogera oluvanyuma nga yagenze anyenya omutwe nga yeewunya Mayiga jaggye amaanyi okwagala okumulemesa ye nga pulezidenti wa Uganda okugenda mu kifo kyonna ekya Buganda nti olwokuba tafunye lukusa lwe.

M7 BYE YABADDE AYAGALA OKWEGAYIRIRA MUZEEYI

Ensonda zongeddeko nti Mayiga yabadde ayagala kutegeeza pulezidenti ng’obukulembeze bw’Obwakabaka bwe bukyetaagayo obudde okwetegekera okukyala kwe ku ttaka ly’abataka ng’ayagala kugula budde ayongere okwogerezeganya n’obukulembeze bw’abataka.

Museveni bweyagaanye okukkiriza okuwuliriza Mayiga, obukulembeze bw’Obwakabaka bwonna tebwalabiseeko ku mukolo nga muno mwotwalidde n’omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Jjajja Augustine Kizito Mutumba n’abataka abawerako.

Museveni bweyatuukidde mu kifo kino ekiriraanye ekitebe ky’Obwakabaka bwa Buganda ekikulu Bulange, nga Mayiga mu ofiisi taliimu nga yabadde ku kitebe kya disitulikiti e Wakiso ng’atongoza lipooti enyonyola okutyoboola kw’eddembe ly’obuntu mu Buganda nga eno yavumiridde nyo effujjo eryabadde mu kamyufu ka NRM omwabadde n’okuyiwa omusaayi nga kwogasse n’aba securite okulinnyirira eddembe ly’obuntu.

OBUNKENKE KU BULANGE NGA SFC EBASAZEEKO

Ab’ebitiibwa n’abakungu abaabadde ku Bulange baasanze akaseera akazibu nga bakkomando b’ejje lya Special Forces Command (SFC) bwe baasazeeko ekizimbe kyonna nga tebakiriza akiyingira oba akifuluma wadde oli wa kitiibwa otya olw’okunyweza eby’okwerinda bya pulezidenti.

Omulongo William Wasswa Ndigeza eyakulemberako ekibiina ky’abayizi ba Buganda Nkobazambogo, atubuulidde nti embeera y’okusomoozebwa eyabaddewo wiiki ewedde nga Museveni akwasa abataka ettaka lye yabagulira n’okutongoza okuzimba ekizimbe kye baatuumye ‘Lwattamu’ kwaleeteddwa abakulu e Mmengo obutavaayo mangu kukola ku nsonga z’abataka.

Wasswa atubuulidde nti Mmengo erina okukitegeera nti abataka ba Buganda abasinga kati bayivu ddala, bavubuka abasalawo amangu ku nsonga ezitwala Buganda mu maaso tebakyetaaga kusooka kulowooleza nga bajjajja abaasooka.

EKIZIMBE OBWAGUUGA M7 AGENDA KUKIZIMBIRA ABATAKA

Museveni yakakasizza abataka nti gavumenti ye egenda kunonya obuwumbi 58 obw’okuzimba ekizimbe kino ekyogerwako nti kigenda kubeera tekimanyi Bulange mu buwanvu nga babeera okwo ne balengera ebigenda mu maaso mu Bulange ne Masengere. Kuno kwe bagenda okuteeka ofiisi z’abataka abakulu b’ebikka bonna mu Buganda, ofiisi ya Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ne ofiisi z’okupangisa n’amaduuka.

M7 ACOOMEDDE AB’E MMENGO

Museveni yategeezezza nti omulimu gw’okuzimba ekizimbe kino gwakukolebwako bayinginiya ba UPDF nga kino akikoze okuyamba abataka abasosolebwa abakulu e Mmengo abaakulemberwamu eyali Katikkiro wa Buganda Sir Apollo Kaggwa bwe baali bagabana ettaka lya Buganda n’Abangereza mu ndagaano ya 1900.

Museveni yayongeddeko nga bwagenda okulwana enyo okulaba ng’ebifo ebyenkizo mu Buganda nga bikuumibwa n’okukulakulanyizibwa, wano yalagidde balooya be mu bwangu okutaasa ettaka ly’ekika ky’effumbe bamafiya lye baagala okuwamba ku lyanyi.

ABALANGIRA N’ABATAKA M7 ABATWALA KYANKWANZI

Abalangira abaabadde ku mukolo guno, Museveni nabo yabayiyeemu kavu wa bukadde obusoba mu 100 nga yazitadde mu SOCCO yaabwe bazikozese okwekulaakulanya, n’abo abatalina mirimu ng’eyasoma obusawo, tekinologiya, ow’ebyobulimi n’obulunzi n’abalala yabawadde emirimu mu gavumenti ye batandike okusasulwa omusaala buli mwezi nga yategeezezza nti ekimusanyusa kwekulaba Abalangira abakola wadde nga babitiibwa mu bitundu byabwe.

Abalangira bamaze ekiseera nga beemulugunya nti obugagga bwa bajjajjabwe naddala obwa Ssekabaka Daudi Chwa bwonna Kabaka Mutebi ne banne abazaalibwa ssekabaka Edward Mutesa babwezza ng’ettaka lyabwe baliteeka mu kitongole kya Buganda Land Board-BLB ekiddukanya ettaka ly’Obwakabaka ate nga balumiriza nti ettaka lyabwe si lya Bwakabaka.

Abalangira abaana ba Mutesa abamu nabo beemulugunya nti obugagga bwa kitaabwe bwonna bwatwalibwa Kabaka Mutebi n’Omulangira David Kintu Wassajja be babuddukanya ekintu omwogezi w’Obwakabaka Owek. Isreal Kitooke Kazibwe kyeyawakanya bweyali ayogerako n’olupapula luno gyebuvuddeko.

Museveni yasabye abataka n’Abalangira okulwana enyo okunyweza obumu mu Bannayuganda bonna ng’eno ye nsonga lwaki yakkirizza okusaba kwabwe okubatwala ku ttendekero ly’ebyobufuzi n’obukulembeze e Kyankwanzi basomesebwe mwoyo gwa ggwanga.

Obwakabaka bwavumirira enteekateeka ya Museveni okusisinkana n’okugulira abataka ettaka nga tasoose kwebuuza ku bakulu e Mengo okuli Kabaka Mutebi ne Mayiga nga kino Mayiga yategeeza nti kigendereddwamu kunafuya Bwakabaka.

Kabaka ng’ayita mu Mayiga yawandiikira abakulu b’ebika ng’abalagira okumuwa ebiwandiiko byonna ebikwata ku ttaka Museveni gyeyabagulira ne kampuni mwe baaliwandiisa wabula ne bagaana nga balumiriza nti Kabaka ettaka lyabwe yali ayagala kulikwasa BLB ezze ng’ebatwalako ettaka ly’ebika byabwe.

MINISITA NABBOSA AWAGA KUGOBA MAYIGA KU BWAKATIKKIRO

Minisita Ssebuggwawo yabuulidde banne mu State House e Nakasero nga bwataliddamu kulinnya ku Bulange okutuusa nga Mayiga agobeddwa ku Bwakatikkiro bwa Buganda n’ategeeza nti kino tekiri wala nyo.

Ono yabuulidde banne nti abantu b’e Mmengo tebasiima era okuddamu okubasisinkana abeera alidde mu mwamiwe omugenzi Eng Daniel Ssebuggwawo olukwe eyalwana enyo okukomyawo Obwakabaka wabula bweyafa Mengo n’egaana okumusiima.

Obusungu bwa Mayiga ne Nabbosa bwatandika Nabbosa bweyakulemberamu ddiiru y’okutwala abataka ewa Museveni nga tasoose kumwebuuzaako nga kino kyalinga okumukkakkanya, era okuva olwo beesojja.

Share This Article