Ddiiru Ezisudde Omugagga Aponye: Obulippo Kiremya Bamafiya Bwe Bataddewo Okutwala Obugagga Bwe Butiisa…

SSAABAWOLEREZA wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka akakasizza nga abakulu mu minisitule y’ebyensimbi bwe bakyetegereza ebiwandiiko kwebagenda okwesigamako okukozesa ssente y’omuwi w’omusolo okutaasa obugagga bw’omugenzi Apollo Nyegamehe (Aponye) banka bwe zaagala okutunda lwa bbanja lya buwumbi 38.

Sengooba Alirabaki
7 Min Read
Omugenzi Apollo Nyegamehe (Aponye)

SSAABAWOLEREZA wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka akakasizza nga abakulu mu minisitule y’ebyensimbi bwe bakyetegereza ebiwandiiko kwebagenda okwesigamako okukozesa ssente y’omuwi w’omusolo okutaasa obugagga bw’omugenzi Apollo Nyegamehe (Aponye) banka bwe zaagala okutunda lwa bbanja lya buwumbi 38.

Ono ategeezezza nti Museveni yamulagira okuwabula abanene mu minisitule nga bakulemberwamu mukama waabwe minisita Matia Kasaija, aba minisitule y’ebyobusuubuzi abakulemberwamu minisita Francis Mwebesa nga bakolera ku kuwabulwa kwa ssabaminisita Robinnah Nabanja ku ngeri gye balinamu okwewala okumenya amateeka nga bateekesa mu nkola ekiragiro kye okutaasa obugagga bwa Aponye eyafiira mu kabenje k’emmotoka mu 2023 mu bitundu bya Western Uganda.

Museveni yawandiikira Nabanja ebbaluwa ng’amulagira okukulemberamu enteekateeka z’okutaasa Vangi Nyegamehe Nnamwandu wa Aponye ne famire obutafiirwa bugagga bwabwe banka bwe zaagala okutunda.

Ensonda mu State House zitubuulidde nti Museveni okuwandiika ebbaluwa, kyadiridde Namwandu n’aba famire abalala okugezaako okusisinkana Museveni mu buntu wabula nebalemererwa okutuusa bwe baamuwandiikira ebbaluwa gyeyafuna n’abakolako nga bwe baamusaba.

Wabula aba famire nga bakyalinda okutaasibwa gavumenti, ate balooya ba banka okuli AF Mpanga ne Cristal Advocates baatadde ekirango mu mawulire nga balagira bonna abali mu by’obugagga bya Aponye byeyakozesa ng’omusingo okufuna ssente oba babiveemu obutasukka nnaku 30 okusobozesa abagagga abalina obusobozi okubigula okutandika okubirambula n’okuyingira enteeseganya z’obutunzi n’obuguzi.

Bano bawadde aba Aponye okukozesa omukisa gw’ennaku 30 ezaawereddwa abantu be okufuluma eby’obugagga ebyogerwako oba okusasula sente ezimubangibwa ng’ayongeddemu n’amagoba kwossa n’eza balooya abakola ku mulimu gw’okununula ssente za banka.

EBYOBUGAGGA BYA APONYE EBIGENDA

Kuliko ebizimbe ebitudde ku ttaka erisangibwa ku Block 273 plot 22141 e Makindye mu Kampala nga liwezaako obunene bwa yiika 0.9806.

Eddala lisangibwa ku Volume 4197 Folio 5 Plot 4 e Nalukolongo mu Kampala nga liweza yiika 0.592 nga kuliko n’ebizimbe, eddala kisangibwa ku Volume 3446 Folio 6 plot 6 e Wankulukuku mu Kampala nga liwezaako obunene bwa yiika 0.780 nga kuliko n’ebizimbe.

Obugagga obulala obutundibwa busangibwa ku Volume 2629 Folio 4 e Masaka mu Buddu plot 52 Block 423 Plot 52 nga liwerako obunene bwa yiika 2.40 nga kuliko n’ebizimbe.

Ettaka eddala lisangibwa ku volume HQT642 Folio 24 plot 81 Buwekula Block 229 e Bakijulula Estate Mubende district nga kuliko ebizimbe, eddala lisangibwa ku Kibuga Block 33 plot 887 land e Nalukolongo mu Kampala nga liwezaako yiika 0.249 n’ebizimbe.

Ensonda mu minisitule y’ebyensimbi zitubuulidde nti tebamanyi oba ebbanga eryateredwawo banka bwerinaggwerako nga enteeseganya zonna ez’okuyamba famire ya Aponye nga ziwedde ng’ono atunyonyodde nti abakulu abakola ku nsonga eno beetaaga okuddayo ewa pulezidenti abanyonyole engeri gy’ayagala bataaseemu Aponye kubanga ebbaluwa ye tenyonyola bulungi.

SSENTE Y’OMUWI W’OMUSOLO BAGENDA KUGIKOZESA

Bano batubuulidde nti pulezidenti alina okubalung’amya oba asemba ekya gavumenti ng’akozesa ssente y’omuwi w’omusolo egenda kugula emigabo mu bugagga bwa Aponye oba ebawole buwozi nga bajja kusasula mpola emmaali ereme kulugenda.

Ensonda mu State House zitegeezezza nti abakola ku nsonga za Aponye tebeetaaga kuddayo kusisinkana pulezidenti ng’ensonga zonna yazikwasiza Nabanja nga batunyonyodde nti okwekwasa ebyokusisinkana pulezidenti baagala kulwisaawo nsonga olwo banka zitunde obugagga.

Minisita Mwebesa ategeezezza nti ebbaluwa ya pulezidenti n’ebiwandiiko byonna ebyetaagisa yabiwadde bekikwatako okulaba nga bataasa obugagga bwa Munnayuganda eyafa ng’asuubira nti ennaku 30 bwezinaggwerayo nga basasudde banka.

Ensonda zitubuulidde nti ekizibu ekiriwo mu kiseera kino kwekubeera nti baminisita abasinga nga ne Nabanja mwali bali mu kalulu nga obudde bwa ofisi balina butono nga mu kiseera kino abakugu be balina okuyamba wabula okutya okuliwo nti bo bakolera nyo ku njawulo n’enguzi.

Omugagga Aponye si y’agenda okusooka okutasibwa gavumenti obugagga bwe obutatwalibwa banka, omugagga Mathius Magoola nanyini kampuni ya Dei Biopharma Uganda Limited ekola eddagala ly’abantu nga ayambwako omumyuka wa ssabaminisita asooka era minisita w’omukago gwa East Africa Rebecca Alitwala Kadaga yafuna obuwumbi obusoba mu 300 okusasula banka eyali eyagala okutunda obugagga bwe okuli n’enyumba mwasula olw’ebbanja.

Abagagga abalala okuli Patrick Bitature, Donati Kananura n’abalala bangi baddukira mugavumenti ebataase.

EBANJA LYA APONYE ENGERI GYE LYAJJAMU

Ensonda zitubuulidde nti omugagga ng’akyali mulamu yagenda mu banka ya Uganda Development Bank-UDB ne yeewolayo sente kati eziweze obuwumbi 24, yagattako obuwumbi 6 bweyeewola mu DFCU banka, obuwumbi obulala 8 yabwewola mu Equity kati zonna zaagala kusasulwa sente zaabwe aba famire ze batalina.
Ensonda zitegeezezza nti famire egezezzaako nga bwesobola okusasula ku mabanja gano nga yatunda n’ekizimbe kya Aponye Mall ekisangibwa ku luguudo Burton Street mu maaso ga ppaaka enkadde mu Kampala wakati kyeyaguza omugagga John Bosco Muwonge.

Ensonda zongeddeko nti omugagga yalina obusoboozi okusasula amabanja gano wabula omuggalo gwa Covid-19 negumukola bubi nga kaabulakata bamutwale ne mu kkomera olw’okufiiriza gavumenti.
Ono ng’ayambwako ow’oluganda lwe eyali ssaabaminisita mu kiseera ekyo Ruhakana Rugunda yafuna ddiiru y’okuguza gavumenti obuwunga n’ebijanjaalo ebyalina okuweebwa abantu mu bibuga abatalina kyakulya wabula olw’entalo n’abagagga abalala abaali baagala ddiiru eno baamulumiriza ewa Museveni nti akawunga n’ebijanjaalo byeyali agaba byali bivundu nga tebisanye kuliibwa bantu nga birimu mbu ne kawuukuumi.

Kino Museveni yakiraba ng’okulya muv nsi olukwe n’okumukyaya mu bantu kubanga kyakolebwa mu 2019 nga agenda mu kalulu ka 2021 era abanene mu ofiisi ya ssabaminisita baakwatibwa ne baggulwako emisango olw’okwekobaana ne Aponye okufiiriza gavumenti sente.

Aponye okusimattuka yasasula sente nyingi nga muno mweyafiirizibwa ne ddiiru y’obuwumbi bwa ssente nga ayagala URA okupangisa ebizimbe bye ebiddukanyizibwa amakampuni nga Uganda House Investments Limited, Aponye House Limited, Apple Properties Limited nga ddiiru eno yatwalibwa mugagga munne Sudhir Ruparelia ate nga yali ataddemu ssente nyingi nyo.

Aponye yagezaako okuwakanya okuwa Sudhir ddiiru eno, wabula mu kkooti gyeyaddukira nayo ne bamuwangulirayo ne bamulagira asasule mugagga munne ne URA olw’okuboononera obudde ne ssente nga bawoza omusango ogutaliimu, era okuva olwo teyadda ngulu okutuusa bweyafa.

Ensonda zitubulide nti Aponye obugagga bwe obusinga yabukola mu ddiiru zaakola ne zi gavumenti okuli eya Uganda, Tanzania, South Sudan ne Kenya ng’aziguza emmere n’ebyokulya ebirala.

Share This Article