PULOFEESA Ephraim Kamuntu omu ku bakadde abaggyeyo empapula okuvuganya ku bifo by’obukulembeze mu kalulu ka 2026 ku kkaadi ya NRM, atabukidde abamusimbyeko olukongoolo ne banne nti ekiseera kituuse bawummule ebyobukulembeze batandike okuwabula abaana baabwe n’abazzukulu ku ngeri gye balina okutambuzaamu eggwanga nti tebakyasobola kuvuganya bulungi na mbeera eri mu nsi naddala tekinologiya akulira ku misinde emiyitirivu.
Kamuntu eyaliko minisita wa ssemateeka n’essiga eddamuzi, mu mboozi ey’akafubo, atukakasizza nga bwebatagenda kukkiriza bavubuka nga n’abasinga abaagala okutwala obuyinza bw’eggwanga batamiivu basiiba mu mwenge n’enjaaga, ate nga bo abakadde bataddemu amaanyi gaabwe okulizimba okutuuka weriri
LUNO LUTALO LWA BAKADDE NA BAVUBUKA
Kamuntu avuganya ku kifo ky’omubaka wa Sheema South mu palamenti, yeewunyizza nyo abavubuka okubagamba nti babalekere ate nga bakimanyi nti mu nfuga ya demokulasiya omuntu yenna alina ebisanyizo ebibeera byetaagisa, akkirizibwa okwesimba ku kifo ky’obukulembeze abalonzi ne beesalirawo n’abasaba balekere awo okubayeeya obukadde.
Ono ategeezezza nti emyaka miwendo buwendo kubanga alina abakadde bangi baamanyi ng’obwongo busaza kimu ate ng’abavubuka bawoggana buwoganyi tebamanyi kyakukola nga balina okukkiriza okwongera okubayigirako.
MMWE ABAVUBUKA NGA BAAGIKWATAKO NGA MUTUNULA?
Kamuntu asekeredde nyo abavubuka abagamba nti be basinga obungi mu ggwanga okulemererwa okulemesa palamenti okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti ekyamanyibwa ennyo nga ‘Togikwatako’ mu 2017, nga kati Pulezidenti wa Uganda asobola okufuga okutuusa ku myaka gyonna Katonda gy’amuwangaazizza nga kino kitegeeza nti n’abalala basobola bulungi okutwala obukulembeze mu bifo ebirala okutuusa emyaka gyonna Katonda gy’abawadde kasita babeera nga bakyalina obusobozi.
AKAKODYO K’ABAKADDE OKULEMERA MU BIFO
Wabula Henry Muguzi, omutunuulizi w’ebyobufuzi ategeezezza nti wadde demokulasiya awa abakadde ebbeetu okuvuganya ku bifo by’obukulembeze, naye okuvuganya tekubeera kwa bwenkanya kuba abakadde olwokuba bakoledde ebbanga ddene babeera ne ssente nyingi zebayiwa mu kalulu nga bagula obuwagizi okusinga abavubuka.
Ono anyonyodde nti embeera eno yamutawaana kubanga obukulembeze bw’eggwanga bubeera mu matigga nga abakadde tebakyesobola wabula nga bakozesa eryanyi lye balina okulemera mu buyinza ekireeteera n’abavubuka okufiirwa emyaka gye baalibadde mu ofiisi.
ONO BWINO olwaleero akuleetedde olukalala lw’abakulembeze abakadde abalemedde mu ofiisi za gavumenti nga n’abamu benkana abalala basinza mukama waabwe Museveni emyaka wabula nga bakyalemedde mu kintu!
PULEZIDENTI MUSEVENI
Charles Rwomushana ategeezezza nti bannayuganda olwessanyu eringi lye baalina nga Museveni awambye obuyinza mu 1986, tebaamutegeererawo nti yali wakubafuga okutuusa bwanaafiira mu ofiisi nga kino yakibagambirawo nga yaakalayira ku bwapulezidenti nti abo bonna abalowooza nti Uganda egenda kubeera n’obukulembeze obulala babiveeko beekolere birala ebibagasa n’abantu baabwe, kubanga bo baali bazze nga bamazeeko nga muwogo bafuge ebbanga ddene nga ye nsonga lwaki bakadde banne abasinga tebaagala kuva mu buyinza.
M7 ALINA EMYAKA EMEKA EMITUUFU?
Museveni agamba nti alina emyaka 80 wadde ng’omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda alumiriza nti omukulu tamanyi myaka gye mituufu nga gy’ayogera gye gyamuweebwa bawalabe okumuyamba okumugyagulizaako amazaalibwa.
Ate waliwo olulala lwe yalabibwako nga yeebuuza ku bannaddiini b’omu Ankole omwaka mwe yazaalibwa ne bamugamba nti yazaalibwa mu 1944.
Museveni agamba nti ebyobukulembeze yabitandika mu myaka gya 1960 era y’omu ku Bannayuganda abaayingira ensiko okulwanyisa pulezidenti Idi Amin bweyawamba obuyinza mu 1971, ono yaliko minisita mu gavumenti ya pulofesa Yusuf Kironde Lule nga bamaze okuwamba Amin mu 1979.
M7 YAAKAKALAKATIRA EMYAKA 39
Uganda yaakagifugira emyaka 39, mukwano gwe era munnamawulire owerinya Andrew Mwenda alumiriza nti Museveni waakufiira mu ntebe y’Obwapulezidenti era takirowoozangako nti basobola okumuwa ekitiibwa ky’eyaliko pulezidenti wa Uganda n’okutambulira mu jjaamu nga bamuyeeya nti watweragirangako ng’okyali mu ntebe kati kookirabe!
GEM MOSES ALI ANAAWUMMULA DDI NG’AKADDIYE NNYO
Ku ntandikwa y’omwaka guno, abantu bangi baamubika ku mitimbagano nti afudde olw’ebirwadde ebikambwe ebimutawaanya nga gavumenti emusasanyizzaako ssente nyingi okumujjanjabira mu mawanga ga Bulawabu naddala Turkey.
Ono bwebabadde bamuwandiisa okuvuganya mu kamyufu k aNRM mu Moyo East, teyasobodde nakuva mu mmotoka ya gavumenti mwatambulira era Dr. Tanga Odoi akulira akakiiko ka NRM ak’ebyokulonda, ye yamutwalidde empapula nga n’okwogera takyasobola alinga mwana muto akyusa bukyusa mimwa kyokka akyagala kukiikirira bantu be mu palamenti eyeetaaga okwogera enyo.
AMIN YAWA MOSES ALI OGUFO
Gen Ali kati alina emyaka 86, Amin olwawamba obuyinza n’amuwa obwaminisita w’ebyensimbi era yalina omukono munene mu kugabira bannayuganda amaduuka g’Abayindi nga Amin abagobye.
Okumanya Ali yalina amaanyi mangi nyo, looya era minisita mu gavumenti ya Kabaka Ronald Muwenda Mutebi, Owekittibwa David Kisitu Mpanga amwogerako nti yalemesa kitaawe omugenzi Fredrick Mpanga eyaliko ssaabawolereza w’Obwakabaka okugenda e Bugereza okufuna obujjanjabi.
Gen Ali yalwanyisa nyo gavumenti ya Dr. Milton Obote mu kibiina ky’obuyeekera ki Uganda National Rescue Front era abakulembeze bangi mu Africa naddala Muamar Gaddafi ow’eLibya baali bamanyi nti yaagenda okuwangula obwapulezidenti olw’ebyokulwanyisa bye baali bamuwa wabula Museveni n’amusooka e Kampala.
Baakola endagaano ne Museveni okukola gavumenti ey’awamu n’abalwanyi be ne bateekebwa mu ggye ly’eggwanga wabula oluvanyuma ate Museveni yamusiba ku misango gy’okulya mu nsi olukwe bweyamusonyiwa n’amukomyawo mu gavumenti.
Mu kiseera kino ye mumyuka wa ssaabaminisita nnamba 2, omulundi gwokka bweyava mu gavumenti bwe baamuwangula mu kalulu ka 2011. Ku mulundi ogwo, Ali yatabukira nyo Museveni ng’amulumiriza okuva ku ndagaano gye baakola obutamuggya mu gavumenti okutuusa bwalifa kasita gavumenti yaabwe enaabeera nga y’eri mu buyinza.
MATIA KASAIJA
Ono yasuubizza nti mu 2031 takomawo kwesimbawo mu byabufuzi agenda kuwummula wabula abamuvuganya bagamba nti ako ke kabadde akakodyo k’azze akozesa ebbanga lyonna okulemerawo ng’akiikirira abantu b’e Buyanja.
Kasaija nga ye minisita w’ebyensimbi, y’omu ku baateeka ssente mu lutalo olwaleeta gavumenti ya Museveni mu buyinza. Okuva bwe baawamba abadde mu gavumenti, yasookera mu kugabanya byabugagga by’Abayindi Amin beyali yagoba ng’abaliwo abibaddiza ate abataliiwo abalina obusobozi babisaba oba abanene nga bafuna engeri gye babyeddizaamu era munno yakolamu obugagga bungi.
Ensonda mu minisitule gyakulembera batubuulidde nti emirimu egisinga baminisita abavubuka okuli Henry Musasizi n’omuwandiisi w’enkalakkalira Ramathan Ggoobi be bagikola Kasaija mu ofiisi tatera kubeeramu.
Okutya okuliwo nti minisita omukulu bwatabeerawo abavubuka bakola obufere n’okumala geekolera ng’eno ye nsonga lwaki ssente zibula nyo mu minisitule y’ebyensimbi ne mu banka enkulu gyakulembera.
KAHINDA OTAFIRE EKINTU AYAGALA KUKITA AKIREKEMU M7
Ono y’omu ku baali ku lusegere nga Museveni alayizibwa ku bwapulezidenti mu 1986 ng’akyali mulenzi muto.
Kati alina emyaka 74, yategeezezza nti kino kyekisanja kye ekisembayo ng’akiikirira abantu b’e Ruhinda mu palamenti.
Otafire bwe baamuwangula mu kalulu ka 2016, yatiisatiisa nga bwagenda okukolawo akatiisa singa Museveni amugoba mu gavumenti era yatuma Gen Muhoozi Kainerugaba okulabula kitaawe era ne bamukomyawo mu ofiisi.
Abantu baffe batubuulidde nti ono mu ofiisi takyabeeramu, ebiseera ebisinga abimala mu maka ge e Bugoloobi n’omuwala omuto gweyawasa, abasawo baamuwa amagezi okuwumula enyo era emirimu egisinga Gen David Muhoozi minisita we omuto ow’ensonga z’omunda yagikolako.
MAJ GEN JIM MUHWEZI
Okuva bwe baawamba obuyinza mu 1986, abadde mu gavumenti nga kati ye minisita wa securite.
Alina emyaka 74, yategeezezza nti kino kyekisanja kye ekisembayo okukiikirira abantu b’e Rujumbura mu palamenti. Ono ayogerwako ng’omu ku basinga obugagga mu Uganda.
REBECCA KADAGA
Y’omu ku bakazi abatono abaali mu lukiiko olwakola ssemateeka wa 1995, okuva olwo tafulumangako gavumenti -yaliko minisita, omumyuka wa sipiika wa palamenti, sipiika wa palamenti nga kati ye mumyuka wa ssaabaminisita asooka era minisita wa East Africa, era ye MP omukazi owa Disitulikiti y’e Kamuli.
Kadaga ku myaka 69, akyalwana okusigala mu kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kamuli, ku lukiiko lwa NRM olw’oku ntikko olwa Central Executive Committee ne mugavumenti wadde ng’omubiri gulaga nti ‘Maama Busoga’ eky’amazima akooye asaana awummule.
ANIFA KAWOOYA
Palamenti yagiyingira mu 2001 era ekiseera kyonna abadde mu gavumenti nga kati ye minisita omubeezi ow’ebyobulamu era omubaka wa Mawogola West.
Ku myaka 68, Kawooya akyalwana okusigala mu palamenti, yalagidde abavubuka abamusekerera obukadde bamukwane bamuwase bakakase nti akyalina amaanyi wadde nga bamulaba ng’omukadde olw’omubiri gwe.
BRIG GEN EMMANUEL RWASHANDE
Omubaka Theodora Ssekikubo alumiriza nti Rwashande ayagala okumwesimbako ku kifo ky’omubaka w’e Lwemiyaga mu palamenti asussa emyaka 62 gyagamba nti gyalina nti tamanyi lunaku lutuufu lwe baamuzaala.
Rwashande okumuwandiisa okuvuganya ku tiketi ya NRM, akakiiko k’ebyenjiyiriza mu ggwanga kaakung’anyizza ebiwandiiko bye byonna gyabadde agenda okutendekebwa n’emisomo gy’amagye okuweza ebyo ebyenkanankana n’ebya S.6 gy’ataasoma ng’alwana kuleeta gavumenti ya Museveni mu buyinza mu 1986.
Rwashande amagye yagawummula mu 2023 oluvanyuma lw’okuweza emyaka egiwummula nga Ssekikubo amulemeddeko nti ono alina kubeera waka alye ssente z’akasiimo ke n’okulabirira abazzukulu.
LT GEN HENRY TUMUKUNDE
Okuva bwe baawamba obuyinza mu 1986, Lt Gen Tumukunde abadde asasulwa musaala gwa gavumenti wadde ng’ebiseera ebimu Museveni abadde amuteeka ku katebe.
Yaliko minisita wa securite, yakulirako ebitongole ebikessi okuli ISO ne CMI. Wadde alina emyaka 66, akyalwana okuyingira palamenti ng’omubaka wa Rukungiri Municipality.
BRIG. GEN BRIGHT RWAMIRAMA
Y’omu ku bannabyabufuzi ab’emikisa kubanga abadde mu palamenti ne mutabaniwe Mwine Mpaka ebisanja bibiri era okuva gavumenti ya Museveni bweyawamba obuyinza abadde mu gavumenti.
Mu kiseera kino ye minisita omubeezi ow’ebyobulimi -ku myaka 65 akyalwana okusigala ng’akiikirira abantu b’e Isingiro mu palamenti wadde nga yategeezezza nti ebyobufuzi abiwummula mu 2031.
VICTORIA RUSOKE BUSINGE
Okuva mu 2000 abadde mu gavumenti, kati ye minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, ku myaka 69 akyalwana okusigala ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kabarole.
ABALALA ABATAYAGALA KUWUMMULA
Baminisita abalala mu gavumenti ya pulezidenti Museveni abakyalemedde mu kintu wadde emyaka gibawuubidde akatambaala kuliko; Peter Aimat Lokeris (78), Tom Butime (78), Hilary Onek (77), Janet Museveni (76), Sam Cheptoris (75), Jeje Odongo (73), Wilson Muruli Mukasa (72), Katumba Wamala (68), Raphael Magyezi (64), Monica Musenero (60), Joyce Nabbosa Ssebuggwawo (81), Magode Ikuya (79), Kania Mario Obiga (72), Okasai Opolot (70), Dr. Sam Mayanja (66), John Chrysostom Muyingo (65), Henry Oryem Okello (65), Amos Lugoloobi (63), Gen Wilson Mbasu Mbadi (62), Frederick Ngobi Gume (62), Beatrice Atim Anywar (61), Hellen Asamo (61).
NAYE LWAKI TEBAAGALA KUWUMMULA
Rwomushana ategeezezza nti abamu nga pulezidenti Museveni balina pulaani ennenne gye balwanirira era gye bagezaako okunyweza nga bali mu gavumenti.
Omu ku bakadde abalemedde mu kintu atubuulidde nti okubeera mu gavumenti kibayamba obutakaddiwa mu bwongo kubanga ebiseera ebisinga babimala basoma ebiwandiiko n’empapula z’amawulire ze babateera mu ofiisi n’okutegeera ebigenda mu maaso m unsi ne batafa mangu kiwuubaalo.
Abalala balina ebirwadde ebikambwe ebyekikadde nga okubijjanjaba kyetaagisa ssente nyingi nga gavumenti yeesobola okuzimuwa ng’akyagirimu ate abalala balina mululu gwa byabufuzi nga tebaagala kuva mu ofiisi.
Omulala atubuulidde nti okubeera mu gavumenti kibayamba okukuuma obugagga bwabwe bwebakoze ebbanga ddene nga buno butootoogana nga bukolwa kubanga mu gavumenti kibayamba okutambuza ddiiru mwebafuna ssente n’okutiibwa abalyagadde okububatwalako naddala abo ababufunye mu bumenyi bwamateeka.
Abakadde abamu bazzizza emisango nga batya nti bwe bava mu gavumenti basobola okubaggulako emisango ne babasiba mu makomera.


