Ew’Omuloodi Lukwago Bibi: Nalongo Amudduseeko, Ekirwadde Kye Kisattiza Abamunonyeza Akalulu…

OBUNKENKE bw’amaanyi mu nkambi y’Omuloodi wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago bwe bakitegedde nti ebimu ku biragiro abasawo e Buyindi bye baawa omuntu waabwe biyinza obutabasobozesa kumuyiggira bulungi kalulu mu 2026.

Hadijja Namagembe
4 Min Read
Omuloodi wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago

OBUNKENKE bw’amaanyi mu nkambi y’Omuloodi wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago bwe bakitegedde nti ebimu ku biragiro abasawo e Buyindi bye baawa omuntu waabwe biyinza obutabasobozesa kumuyiggira bulungi kalulu mu 2026.

Wadde wakyaliwo abaperereza Omuloodi okwesimbawo ku bwapulezidenti mu kibiina kya People’s Front For Freedom (PFF) nga batya nti gavumenti eyinza okulemesa Dr. Kizza Besigye okubakwatira bendera, wabula abasinga batya nti Lukwago okumusimba ku bwapulezidenti mu 2026 obeera omuttidde ebyobufuzi bye nga baagala avuganye ku bwa Loodi Meeya ekisanja ekyokuna.

Omu ku bali ku lusegere lwa Lukwago atubuulidde nti bwe baabadde ku lyato wakati mu nyanja Victoria nga bamujagulizaako okuweza emyaka 55 egyobukulu, Lukwago yabategeezezza nti asuubira nti Obwaloodi mmeeya abuwummula mu 2031 wadde nga Ibrahim Kasozi eyaliko omubaka e Makindye amulumiriza nti mu 2021 baasisinkana e Kibuli ku muzikiti n’amukakasa nga bwatakomawo ku bwaloodi meeya mu 2026 n’amusaba bwabeera ekifo akyagala atandike okukyetegekera. Abajulizi abaaliwo ng’amubuulira ebyo kwaliko Ibrahim Ssemujju Nganda omubaka wa Kira Municipality ne Asuman Basalirwa omubaka wa Bugiri Municipality.

Tiimu ya Lukwago erina okutya nti singa enteeseganya zebalimu n’ekibiina kya NUP ekikulemberwa Bobi Wine okukolera ewamu mu kalulu ka 2026 ne bamusimbako omuntu, akalulu kayinza okubazitoowerera.

Lukwago alina okukola enyo okumatiza Bannakampala okumukomyawo mu ofiisi, wabula ensonda zitubuulidde nti abasawo baamuteekako amateeka amakakali omuli obutabeera mu kifo kireekaana nyo ng’eno y’ensonga lwaki ne bw’abeera mu kkooti ng’awolereza Besigye abawagizi be kasita batandika okuyimba enyimba ezimwaniriza mu kkooti n’okumugumya ng’ezimu zigamba “Muhoozi will die, Museveni will die One day…” nga ye ateeka obuuma bw’ekizungu mu matu obuziyiza amaloboozi ago okutuuka enyo mu matu ge. Kyokka era Lukwago bw’abeera mu kkooti, abeera ku bunkenke ng’omu ku bawala abayambi be, watuula bazooka kuteekawo katto mwatuula aka pulasitiika, okwewala okulumwa omugongo!

Kino tebamanyi bwebagenda kikola kubanga kampeyini zibeeramu ebidongo ebireekaanira waggulu n’abawagizi nga batya nti Lukwago okukola enyo ng’anoonya obululu nakyo kigenda kumukosa.

LUKWAGO TAKYASIBA MATAAYI

Lukwago abasawo baamulabula n’okusiba ettaayi ky’ova olaba ennaku zino ayambala nyo kawundassuuti nga abasawo batya nti engeri olumbe gyerwamukosa enyo emimiro bwasiba ettaayi eyinza okumunyiga nebuddamu.

Mu 2021, Omuloodi Lukwago baamuddusa mu ddwaliro e Kenya nga muyi nyo era eno abasawo gye baamuzuuliramu ekirwadde ekikambwe kye baakolako oluvanyuma ne bamwongerayo e Buyindi gyakyagenda n’okutuusa kati okufuna obujjanjabi nga n’okutuusa kati ensibuko y’ekirwadde kino ekyatakuza abawagizibe emitwe kubanga Omuloodi ekyali mbooko nyo ng’abamu bagamba nti omusajja kirabika waliwo eyamuwa obutwa.

NALONGO WE AMUDDUSEEKO

Lukwago abadde akyalwana okunyweza amaanyi ga PFF gy’akulembera, ate minisita we ow’ebyobulamu ku KCCA Naalongo Oliver Namazzi n’amusuulawo ne yeegatta ku Bobi Wine mu NUP.

Namazzi abadde ku mwanjo nyo mu PFF era ng’amanyi ebyama bya Lukwago bingi kubanga bwe baava mu FDC y’e Najjanankumbi, wabula okugenda ensonda zitubuulidde nti yamaze kwongerezeganya ne Lukwago bwebabadde bakolagana obulungi okuva bweyayingira ku City Hall mu 2016 nga kansala ng’ono ayagala kutaasa kafo ke aka kkansala akiikirira Nakawa ku KCCA ng’alaba bayinza okumukuba akalulu bwe yeesimbawo ku kkaadi ya PFF.

Ensonda zitegeezezza nti ba Foot Soldiers ba NUP Namazzi babadde bamutaddeko akazito nga baleese obwana obuto okumuvuganya ku kifo kya Kansala wa Nakawa West ku KCCA ng’okubeegattako ate ng’alina obumanyirivu, ssente, alabika bulungi, kkaadi agenda kugifuna era emikiisa mingi okudda ku KCCA.

Ono baamugasse dda ku ttiimu y’abalina okuwangula akalulu ka NUP mu Nakawa okuli Joel Ssenyonyi, Alex Waiswa Mufumbiro, Ali Bukeni n’abalala era akalulu bakayigga bubi ng’ekibalo kyabwe kyakuleeta Namazzi ku kifo kya sipiika mu 2026.

Abanoonyeza Ronald Balimwezo nabo bawaga nti Namazzi okwegatta ku NUP agenda kubayamba okubabuulira obukodyo n’ebyama Omuloodi Lukwago byabadde akozesa okuwangula Kampala okuva bweyayingira ebyobufuzi byamu mu 2006 kubanga amubadde ku lusegere nyo.

Share This Article