Olutalo Okuvunza Paasita Bujjingo: Bapanga Kumusiba Mu Kkomera Ne Mukazi We Makula…

OMUSUMBA omukulu ow’ekkanisa ya House of Prayers Ministries International -HPMI, Aloysius Bujjingo olwalangiridde nti ne bwekiribeera ki, waakuddamu okusisinkana abaana be mu ngeri yonna era awulira alumwa obutalaba ku baana be be yazaala mu yali mukazi we Teddy Naluswa, oluwulidde bino, bamafiya abamaze ekiseera nga bapanga okumusanyawo ne baddayo mu kibalo okukakasa nti byonna byasaba tebituukirira.

Sengooba Alirabaki
9 Min Read
OMUSUMBA omukulu ow’ekkanisa ya House of Prayers Ministries International -HPMI, Aloysius Bujjingo olwalangiridde nti ne bwekiribeera ki, waakuddamu okusisinkana abaana be mu ngeri yonna era awulira alumwa obutalaba ku baana be be yazaala mu yali mukazi we Teddy Naluswa, oluwulidde bino, bamafiya abamaze ekiseera nga bapanga okumusanyawo ne baddayo mu kibalo okukakasa nti byonna byasaba tebituukirira.
Bujjingo yalaze okulumwa nti wadde Katonda amuwadde obusobozi okulabirira abaana beyazaala mu Teddy Naluswa Bujjingo, wabula kimuluma nti ng’omusajja afaayo tasobola kusemberera baana be n’abalaga omukwano n’okubawa byonna bye beetaaga mu bulamu bwabwe wadde ng’obusobozi abulina.
Paasita yakakasizza abaana be Isaac Miracle Bujjingo gweyayogeddeko nti okumutuuma erinnya lya Miracle kyaddirira Naluswa okuzaala abaana 3 ab’omuddiringanwa nga temuli mulenzi ekyamuleetera okutya ng’omusajja nti omusaayi gwe n’obugagga bwonna bw’akoze obutootogana ng’obukolwa abaana b’abakozi be n’abantu abalala be bagenda okubusikira wabula Katonda n’amujjukira n’amuwa  eky’amagero kya Miracle.

ABAANA BANGE BANSULA KU MUTWE NGA NVIIRI

Bujjingo ategeezezza nti Miracle yakoma okumulabako ng’alina emyaka 3 egy’obukulu nga kati awezezza emyaka 10 era amulowoozaako nga bw’alowooza ku baana be abalala abawala okuli Gift Kirabo Bujjingo, Winnie Tressure Bujjingo ne Jenniffer Blessed Bujjingo nga bonna abaweereza obubaka nti bamuli ku mutima era abalowoozaako nyo kubanga bamusula ku mutwe nga nviiri.

BUJJINGO AYAGALA MAKULA AMUZAALIRE ABALONGO

Bujjingo yasabye abakkiriza ku kkanisa ye okumusabira enyo ne mukyalawe Suzan Nantaba Makula Bujjingo okulaba nga bazaala abalongo ekintu ekyasanyudde abagoberezi be ne basimbula essaala enkambwe. Bino we bijjidde, ng’abantu ab’enjawulo naddala ababeera ennyo ku mikutu gy’emitimbagano nga balumiriza nga Makula bw’ali olubuto, era nga bano basaasaanya ebifaananyi ebiraga ekimuli kya Bujjingo nga kyambadde engoye empanvu ne batuuka ku nzikiriziganya nti alabika ali lubuto!
ABAAGALA BUJJINGO ASIBWE BAPANGA
Banno baabadde batandika okusaba, ate na’balwana Bujjingo okulaba nga takwatagana na baana be n’omukyala Naluswa nga nabo bapanga okumutwala mu kkomera n’omugole Makula.
Bano bayise mu ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka ne ssabawaabi w’emisango gya gavumenti omulamuzi Jane Frances Abodo okusaba abalamuzi 7 aba kkooti etaputa ssemateeka okugoba okusaba Bujjingo ne Makula kwe baatwala mu kkooti nga bawakanya emisango egyabaggulwako mu kkooti ento Entebbe.

ENKALU NGA LOOYA WA BUJJINGO YEEZOOBA NE MABIRIIZI

Kiwanuka ebiwandiiko ebiwakanya omusango gwa Bujjingo ne Makula yabitwala mu kkooti mu 2023 nga bwe baawulidde nti atandise enteekateeka z’okutegeeragana ne famire ye olwo ne battusa fayiro era balooya ba gavumenti mu kkooti baabaddemu nga bawagirwa looya Male Mabirizi alumiriza nti obujulizi bwonna obwetaagisa kkooti okusiba Bujjingo olw’okuwasa omukazi Makula ate ng’akyali mu bufumbo obutukuvu ne Naluswa abulina.
Omuwandiisi wa kkooti etaputa ssemateeka nga mu kiseera ky’ekimu yeejulirwamu yasanze akaseera akazibu okukkakkanya Ronald Ruhinda nga ye looya wa Bujjingo obuteegwa mu malaka ne Mabiriizi eyabadde amutaddeko embeera ng’amulumiriza okugezaako okulemesa omusango gw’omuntu we okutambula.
Mabirizi yabuulidde kkooti nti yatwalira Ruhinda ebiwandiiko ebikwata ku musango ogwo n’agaana okubikwata nga kino yakikola mu bugenderevu okulemesa obwenkanya okutuukibwako wabula ono Ruhinda yamwanukudde nti ensonga zebaliko nkulu nga zikwata ku ssemateeka w’eggwanga nga Mabirizi alina okuziggyamu omuzanyo gwe ne katemba byakolera mu misango emingi gy’awaaba n’atawangula.
Ono yakkirizza nti ddala Mabirizi yawaaba mu kkooti Entebbe olwa Bujjingo okuwasa Makula ate ng’akyali mu bufumbo obutukuvu ne Naluswa wabula obuvunanyizibwa ku musango ogwo bwamuvaako omuwaabi wa gavumenti bweyagutwala nga mu kkooti tagwanidde kubaawo okutuusa ng’ayitiddwa ng’omujulizi.
Balooya ba gavumenti baawolerezza Mabirizi nti mu kkooti alina okubeeramu kubanga omusango ogugenda mu maaso gumukwatako era ye yagutandika.
Embeera ng’ekkakanye, omuwandiisi wa kkooti yalagidde Ruhinda okuteekamu okwanukula ku mpoza ya ssaabawolereza wa gavumenti obutasukka July wa 2025 wadde nga yagezezzaako kino okukiwakanya nga anyonyola nti ekiseera ekimuweereddwa kitono nyo.
Baamutegeezezza nti omusango guno ogwatwalibwa mu kkooti etaputa ssemateeka mu 2022 guluddewo nyo okuwulirwa ate ng’abalamuzi beetegefu okuguwulira obutasukka mwaka guno.

KIWANUKA AYAGALA BUJJINGO NE MAKULA BABASIBE MU KKOMERA

Kiwanuka yasabye abalamuzi 7 okugoba omusango gwa Bujjingo ne Makula mwebawakanyiza obuwaayiro 15, 39 mu kiwandiiko ky’emisango n’ebibonerezo ki ‘Penal Code Act’ n’obulala okuli 120 obutundu 41,42,50 bwe balumiriza nti bubasosola ng’abantu abaagalana abaagala okutongoza obufumbo bwabwe.
Bujjingo ne mukyala we baagasseeko nti obuwaayiro obubasiba bukadde nyo nga bwayitako ate nga bukontana n’obuwaayiro bwa ssemateeka mu katundu aka 2,17(b),7, 20, 21, 29(1)(b)(c), 31, 32, 33, 43 obulagira nti Bannayuganda bonna balina okubeera nga benkana wansi w’amateeka.
Bujjingo abuulidde kkooti nti tebasobola kumuggulako musango n’ekigendererwa ekyokumusiba mu kkomera olw’okuwasa omukazi omulala ye gw’awulira nti gw’ayagala okuva ku ntobo y’omutima gwe ate nga ssemateeka y’omu akkiriza Abasiraamu, Abayindi n’abobuwangwa bw’ekinnansi okuwasa omukazi asukka mu omu.
Ono n’omukyala balumiriza nti obuteeka Abodo mwayagala okubasibira bukontanna n’ebiruUbirirwa bya Uganda ku nkulaakulana ya bannansi n’ensi yonna.
Wabula Kiwanuka bino byonna abiyise byekwaso n’alumiriza nti Bujjingo n’omukyala bagezaako kukozesa kkooti okulemesa Naluswa, Mabiriizi ne Bannayuganda bonna abakwatibwako olw’ekikolwa kyabwe okufuna obwenkanya.

‘TEWALI YANDIGAMBYE KU BUJJINGO NE MAKULA NAYE EKIZIBU BAATONGOZA LAAVU YAABWE’

Anyonyodde nti etteeka ly’obufumbo lyakolebwa mu 1904 okugezaako okunyweza ekitiibwa ky’obufumbo mu Uganda n’ategeeza nti tegwalibadde musango era tewali muntu yaligambye ku Bujjingo n’omukyala singa baasigala mu bufumbo bwa kawundo kakubye eddirisa naye kasita baasalawo okubutongoza nga bakola okukyala mu bakadde ba Makula okwakolebwa nga December 2021 e Katabi mu disitulikiti y’e Wakiso, kaali kaweddemu nga kitegeeza nti amateeka g’obufumbo gabasiba.
Ono abuulidde kkooti nti Bujjingo n’omukyala omusango guno baaguzza bagutegeera bulungi nga tebasobola kwekwasa nti obuwaayiro mu Panel Code mwe babavunaanira bukadde nyo olwokuba bwakolebwa mu 1950 ate nga etteeka ly’obufumbo bw’Obusiraamu abawasa abakazi [Hakki] abasukka mu omu mwebayita lyo lyakolebwa mu 1906 nga kino kikakasa nti beekwasa n’okwekwata ku bisubi.
Kiwanuka abuulidde kkooti nti amateeka gonna mwe bavunaanira Bujjingo n’omukyala gazze gakolebwamu ennongosereza okusobola okukwatagana obulungi ne ssemateeka wa 1995 nga zino zaatandika okukolebwa mu 2002, 2005 ne 2014 nga Bujjingo n’omukyala tebasobola kwekwasa nti gayiseeko n’asaba abalamuzi obutayiwaayo bannayuganda abagoberera obutereevu omusango guno.

BALAMUZI KI ABAWULIRA OMUSANGO GWA BUJJINGO?

Ensonda mu kkooti zitubuulidde nti Ruhinda bw’anaamaliriza okuddamu empoza ya Kiwanuka ne Abodo, omuwandiisi wa kkooti mu July waakuweereza fayiro y’omusango guno ew’omumyuka wa ssaabalamuzi Dr. Flavian Zeija okulonda abalamuzi abagenda okugiwulira.

ANI ALEMESEZZA DIVOOSI YA BUJJINGO NE NALUSWA?

Obujulizi Bujjingo n’omukyala bwe baatutte mu kkooti mwemuli okwemulugunya ku Kiwanuka nga ssaabawolereza wa gavumenti obutawabula balamuzi ba kkooti enkulu ekola ku nsonga z’amaka okwanguya okuwuliriza n’okusala omusango gweyatwalayo ng’ayagala kkooti ebaawule mu bufumbo obutukuvu ne Naluswa.
Bujjingo abuulidde kkooti nti kino bakikola mu bugenderevu okumulemesa okuwasa omukyala ye gw’ayagala ku mutima gwe. Mu kubuulira okumu ku kkanisa ye e Makerere Kikoni, Bujjingo yalayira nti ye bwakola okusalawo ne bwekibeera ki teyejjusa ng’eno y’ensonga lwaki abantu bangi bamwewunya bweyatongoza Makula nga mukyalawe nga n’okutuusa kati batya obuvumu bweyakozesa.
Omulamuzi Joseph Mulangira yagezaako okwanguyiriza omusango gwa Divoosi okusalwa wabula balooya ba Naluswa abaakulemberwamu Arther Ssempeebwa ne bamulemesa nga bamulumiriza okubeera ne kyekubiira ng’ayanguyiriza okuwuliriza omusango gwabwe.
Mulangira yagezaako okuteeka Ssempeebwa ku nninga amuleetere Naluswa Mulokole munne boogere wabula n’agaana nga buli kiseera yalinga abuulira kkooti nti omuntu mulwadde nga n’ebyapa kwosa obugagga obulala ng’emmotooka byonna Naluswa yagaana okubireeta mu kkooti.
Ensonda zitubuulidde nti entalo mu basumba b’Abalokole ze ziremesezza divoosi okuggwa nga balwana okulaba nti omusango gwa Bujjingo okuwasa omukazi omulala ate ng’akyali mu bufumbo obutukuvu gwegubeera gusooka okuwulirwa gusalibwe olwo divoosi ewulirwe nga Bujjingo ne Makula bali mu kkomera.
Bano balumiriza nti abasumba bano nga n’omu ku bbo Musumba w’amaanyi nnyo mu ggwanga mu kiseera kino be bategeerera Naluswa n’abaana nga babatambuliza kumpi ku limooti, era kigenda kubeera kizibu okukkiriza enkolagana mu famile ya Bujjingo okuddawo okutuusa nga bamaze okutuukiriza kye baagala omuli okusuula ekkanisa ye n’okumusiba mu kkomera ne Makula.
Share This Article