Basajja Ba Kayihura Bakijambiya: Obujulizi Bulaze Lwaki Batta Kagezi, Afande Kaweesi ne Kirumira, Bamasheikh Abasiraamu Okwekolera Obugagga…

BAKOMANDO mu bitongole bya securite okuli SFC, DIS, JATT, CT ne bambega ba CID be baabadde mu kikwekweto ky’okukwata SSP Nixon Agasirwe eyali aduumira ebikwekweto eby’enkizo mu kiseera Gen Edward Kale Kayihura we yaduumirira poliisi.

Hadijja Namagembe
10 Min Read
Gen Kale Kayihura ne Nixon Agasirwe eyakwatiddwa

BAKOMANDO mu bitongole bya securite okuli SFC, DIS, JATT, CT ne bambega ba CID be baabadde mu kikwekweto ky’okukwata SSP Nixon Agasirwe eyali aduumira ebikwekweto eby’enkizo mu kiseera Gen Edward Kale Kayihura we yaduumirira poliisi.

Agasirwe okukwatibwa, kyaddiridde bambega mu bitongole ebikessi okukitegeera nti yabadde ne pulaani etoloka mu ggwanga oluvanyuma lw’omusajja Daniel Kiwanuka Kisekka okumuwaako obujulizi mu kkooti enkulu ewozesa bakalintalo nti olukwe lw’okutemula Joan Namazzi Kagezi eyali omuwaabi wa gavumenti lwapangibwa n’okuteekebwamu ensimbi omunene mu gavumenti ya pulezidenti Museveni gwe baategeerako erinnya limu erya Nixon.

Kisekka nga mu kiseera kino yakkiriza omusango n’ayingira ddiiru y’okuyambako oludda lwa gavumenti okusingisa banne bwe baakwatibwa ku musango guno, yabuulira kkooti y’abalamuzi 4 nga bakulemberwamu Micheal Elubu nti munnaabwe Kibuuka eyabaleetera ddiiru ye yasisinkananga Nixon. Era nti enfunda zonna ze baamusisinkana, yabeeranga mu mmotoka eriko ennamba za gavumenti nga baateeranga kusisinkana ku Kaleerwe.

Ono kkooti gweyawa edda ekibonerezo kyakusibwa mu kkomera emyaka 35, yabuulira kkooti nti Kibuuka yababuulira nti omugagga Nixon ayagala Kagezi attibwe kubanga alemedde mu musango gw’Abasiraamu. Mu kiseera ekyo Kagezi ye yali omuwaabi omukulu mu musango gavumenti mweyali evunaanibwa abasajja okwali bannayuganda, Bannakenya, Abatanzania, Abasomali, Aba

Ethiopia n’abalala okwenyigira mu lukwe lw’okutta abantu mu bbomu ezaabwatukira e Kabalagala ne Lugogo ng’abadigize balaba empaka z’omupiira gw’ensi yonna egw’akamalirizo mu 2010.

BAABASUUBIZA OBUKADDE 700

Kibuuka okusinziira ku bujulizi bwa Kisekka, omugagga yali abasuubizza okubasasula obukadde bwa ssente za Uganda 700 wabula nga yasooka kubawaako obukadde 2 okukola omulimu nga buli omu yatwalako emitwalo 50, kuno yabagattirako emmundu eyakola omulimu.

Obujulizi buno bwe bwaleetedde bambega okukwata Nixon ng’ensonda mu securite zitubuulidde nti ssaabawaabi w’emisango gya gavumenti omulamuzi Jane Frances Abodo n’abawaabi ba gavumenti abalala, be baatadde akazito ku securite okukwata Nixon Agasirwe kubanga bamaze ekiseera nga bamuteebereza okwenyigira mu lukwe luno.

LWAKI BEEZINZE KU AGASIRWE?

Omulamuzi Owiny Dollo kati ssaabalamuzi bweyatandika okuwulira omusango gw’abatujju b’e Lugogo ne Kabalagala mu 2015, Kagezi yafuna obutakkaanya ne bambega abaali banonyereza ku musango guno ng’abalumiriza okutandika okuwabya abajulizi beyali ateeteseteese okuleeta mu kkooti.

Ensonda zirumiriza nti Agasirwe yatuukirira Kagezi n’amuguza ddiiru y’okutta omusango ng’aliko abamu ku basibe beyali ayagala okutaasa.

EBISAWO BYA SSENTE AGASIRWE N’ABANENE MU POLIISI BYE BAALI BAFUNYE

ONO BWINO akitegeddeko nti Agasirwe n’abanene mu poliisi baali bafunye obuwumbi bwa ssente okuva ew’omugagga Omungereza wabula nga nzaalwa y’e Somalia gwebalumiriza okuteeka ssente mu bulumbaganyi buno okulumya Bannayuganda olwa gavumenti yaabwe okusindika UPDF okulwanyisa abatujju ba Al-Shabab e Somalia.

Akakwakkulizo akaali ku ssente zino kwali kutta musango kkooti yejjeereze abasibe ekintu Kagezi kyeyagaana nga wano Agasirwe yamulagira okusalawo okutwala ssente oba okufiirwa obulamu nga bino byonna yabitegeezaako eyali mukamawe mu kiseera ekyo Mike Chibita kati omulamuzi wa kkooti ensukkulumu ne Lino Anguzo akulembeddemu balooya ba gavumenti abawoza omusango gw’okumttemula mu kiseera kino.

Ensonda zitegeezezza nti Kagezi baamuwa amagezi okuloopa ewa pulezidenti Museveni nga bamukakasizza nti ne bw’anaaloopa ewa Kayihura talina kyagenda kumutaasa kubanga Agasirwe yali musajjawe nyo ate nga ddiiru erimu abanene mu poliisi bangi ekintu kyeyakola wabula nga obubaka obumulaalika okumutta buyitiridde.

Abaali balondoola Kagezi bategeera nti ayagala kusisinkana Museveni kubanga baalina abantu baabwe mu State House abaababuulira ebigenda mu maaso ng’eno y’ensonga lwaki baayanguya omulimu era enkeera w’olunaku lwe baamutta, omu ku balooya abaali bawolereza abatujju atubuulidde nti baabagamba nti baali tebagenda kujja mu kkooti naye nga tebaababuulira nsonga.

Kagezi baamutta kawungeezi ng’adda ewaka we, era abazigu baamutaayiriza Kiwatule ng’ayimiridde okugula obutunda n’ebibala ebirala. Mu mmotoka mwe baamuttira yalimu n’abaana be nga bano baabuulidde kkooti nti obulamu bwabwe bwonna tebagenda kwerabira nsisi gye baafuna ng’omusajja aboggola n’okukomerera maama waabwe amasasi nga balaba.

DDIIRU YA SSENTE EBATABULA

Kisekka yabuulidde kkooti nti ku mitwalo 50 gyeyafuna, ate 20 yagiwa musawo wa kinnansi okusiba omusango baleme kumukwata n’omuzimu gwa Kagezi obutamulemerako, okuva olwo teyaddamu kulaba ku Kibuuka nga yaddamu okumulaba nga babakutte mu 2024 nga ne ssente ze baasigala babanja teyazibasasula.

BATTA AFANDE KAWEESI

Ensonda zirumiriza nti ddiiru y’okutemula Kagezi ye yaviirako okutta Andrew Felix Kaweesi eyali omwogezi wa poliisi nga balumiriza nti ono yamanya ku lukwe luno era okumutemula mu 2017, State House yali emuwadde olunaku okusisinkana Museveni amubuulire ku ngeri banne mu poliisi gye bamutiiisatisa okumutta ate nga mukamawe Kayihura tamuyambye.

Ensonda zongerako nti okutemulwa kwa Kaweesi kwakakasa Museveni nti ddala abaatemula Kagezi baali mu poliisi nga y’ensonga lwaki yalagira Kayihura okulongoosa poliisi aggyemu kawuukuumi nga ye tanatandika wabula omulimu guno gwabeerera Kayihura muzibu kubanga abasajjabe baali bafunye amaanyi mangi nga bw’abavaamu naye bayinza okumwefuulira n’okumuloopa ewa pulezidenti olwa ddiiru ez’omusaayi zeyali abakozesezza oba naye ne bamuggyawo.

Embeera eyaliwo nga bamaze okutta Kaweesi omuli okukwata Jonathan Baloza eyali omuyambi wa Kayihura ng’asima ettaka ewaali wayiise omusaayi gw’omugenzi Kaweesi kyabaleetera okutya ne balumiriza nti kino yali akikola kugezaako kutta musango n’okusirisa omuzimu gwe obutabalondoola.

NE KIRUMIRA ALUGENDERAMU

Mu lutalo lw’okusirisa abantu abaali bamanyi ku bikolobero bye baakolanga, muno mwebattira Muhammad Kirumira eyali omuduumizi wa poliisi y’e Buyende eyali abakozeeko lipooti ewa pulezidenti Museveni ng’abalumiriza nti balina omukono mu kutemula mukwano gwe Kaweesi.

Kirumira baamutegeera ku luguudo lw’e Mityana ne bamukuba amasasi agaamuttirawo ng’adda ewaka n’omuwala gweyali naye mu motoka nga Museveni yenyini yagenda mu kifo webattira

Kirumira n’awera nga bwe baali bagenda okukwatta abatemu ne webuliba ddi nga kino kyeyawera ne ku Kagezi.

BASAJJA BA KAYIHURA BABUNA EMIWABO NGA KAKA AZZE

Kaweesi baamutta n’omukuumiwe Kenneth Erau ne dderevawe Godfrey Mambewa, obunkenke bweyongera Col Frank Bagyenda Kaka eyali akulira bambega ba ISO bweyatandika okunonyereza ku musango guno era abasinga ku basajja ba Kayihura ne batandika okudduka mu ggwanga.

Baroza yaddukira Algeria, Abel Kitagenda yaddukira Canada wabula baamukwata bweyali akomyewo okufuna pasipooti empya gyeyali awandiisizza mu mannya amalala ng’ensonda zirumiriza nti ono y’omu ku basajja ba Agasirwe beyali asinga okwesiga nga yamufunira ofiisi ku poliisi e Kawempe nga y’akulira ebikwekweto mu kitongole kya Flying Squad, bano baakola obugagga bungi mu biseera bye baakolera wansi wa Kayihura.

Maj Gen Abel Kandiho eyali aduumira CMI, Col Kaka baatandika ebikwekweto ku basajja ba Kayihura era abawera okwali Abuddalah Kitatta, Abel Aguma, Herbert Muhangi, Col Nduhura Atwooki baakwatibwa ne baggulwako emisango mu kkooti y’amagye, okukwatibwa baabasanga bagezaako okudduka mu ggwanga nga mukama waabwe Kayihura bweyali ayagala naye okukola wabula Gen Wilson Mbadi n’amufundiza e Kashagama.

LWAKI BABALUMIRIZA OKUTEMULA BAMASHEIKH ABASIRAAMU

Agasirwe bamulumiriza nti yakozesa ekifo kye mu poliisi okubuzaabuza okunonyereza ku ttemu ery’amaanyi mu ggwanga lye bamulumiriza okwenyigiramu nga kino yakikola nga mu kukwata abantu naddala Abasiraamu bamanyi nti tebalina kyebamanyi ku nsonga ye nga kino akikola kubuzaabuza kunonyereza bambega beesibe ku bantu abatali batuufu.

Abdul Ojerere, Umar Mugabi, Ahmed Senfuka be bamu ku baakwatibwa mu kwenyigira mu kutemula Kagezi ate bamasheikh okwali Sheikh Muhammad Kamoga akulira Abatabbuliiki ne bamasheikh abalala ku muzikiti e Nakasero ne bakwatibwa nti benyigira mu kutemula abagenzi Sheikh Ibrahim Hassan Kirya, Sheikh Abdukarim Ssentamu, Sheikh Mustafah Bahiga, Sheikh Maj Muhammad Kiggundu n’abalala wabula bonna kkooti zaabejjeereza nga tewali bujulizi bubaluma.

Col Kaka eyakuliramu okunonyereza ku misango gino alumiriza nti okutemula abantu abo bonna abapoliisi ku mulembe gwa Kayihura baalinamu omukono nga eno y’ensonga lwaki emmundu y’emu ye yakozesebwa mu ttemu lyonna.

Ensonda ku lusegere lwa Col Kaka zitubuulidde nti yagezaako okubuulira Museveni amazima wabula abantu Kayihura beyali atadde mu State House nga babuzaabuza pulezidenti nti amubuulira bulimba nga bweyalemerako enyo ne baagala n’okumutta.

BAAKOLAGANA N’ABAAMASIMU

Ensonda zitubuulidde nti bano baakolagananga n’abakozi mu makampuni g’amasimu nga kizubu okubalondoolera ku masimu ge baakubanga okupanga okukola emisango, okutuusa Col. Kaka bweyayingirira ekyuma ekisembayo mu kutereka ebyama by’amasimu agakubiddwa n’abifuna byonna nga biraga nti abantu bano benyigira mu butemu bw’abantu abanene mu ggwanga nga fayiro zonna yaziwa Museveni azirina.

Ensonda zongerako nti Agasirwe ne banne baakola obugagga bungi mu bufere buno nga mwalimu n’okuwamba abagwira abaali baddukidde mu Uganda okusimattuka gavumenti zaabwe okubatta, nga gavumenti ezibanonya zibawa ssente ne babawaayo nga n’abamu battibwa ekintu ekyanyiiza Museveni n’alagira Kayihura asibwe wadde oluvanyuma yamusonyiwa.

BASAJJA BA KAYIHURA BAAYAVUWALA

Ensonda zitegeezezza nti basajja ba Kayihura bwe banaakwatibwa kigenda kubabeerera kizibu okusimattuka kubanga obugagga bwe baakozesa okulwana omulundi ogwasooka kati bwaggwawo.

Balooya mu ofiisi ya ssaabawolereza wa gavumenti bawera nti ekirabo kyokka kyebasobola okuwa munnaabwe Kagezi gwebattira olwokukola omulimu gwe kwekulwana okusingisa abaamutta omusango nga kino nakyo kiteeka Agasirwe ne banne mu kattu.

Share This Article