OMWOGEZI wa minisitule y’ebyenguudo Suzan Kataike akakasizza nti gavumenti emalirizza enteekateeka empya okukwasisa amateeka g’okunguudo eyitibwa ‘Express Penalty Scheme’ mu tekinologiya omupya ayitibwa The intelligent Transport Monitoring System (ITMS).
Kataike ategeezezza nti mu tteeka eppya bagenda kukozesa kkamera okukuba ebipapula ku mmotoka ebeera ekoze ensobi nga ddereeva takkirizibwa kuvuga sipiidi zisukka 30 mu bifo omuli amasomero n’amalwaliro, mu bibuga wakati sipiidi terina kusukka 50 ate ku nguudo mwasa njala, dereeva talina kusukka sipiidi 80, nga yenna asussa sipiidi ezirambikiddwa alina okukubwa ebipapula.
Ayongeddeko nti baasooka kusisinkana abakulembeze ba boda boda nabo ne babasomesa ku tteeka lino eppya era abalulembeze ba boda ne bakakasa nti enkola eno bagenda kuddayo bagisomese bannaabwe bagitegeere bulungi.
EMISANGO EGIRINZE ABA TTAKISI N’ABAVUGISA EKIMAMA
Kataike agambye nti minisitule y’ebyentambula yataddewo ebibonerezo eri abavugisa endiima ng’essaawa eno singa ddereeva akwatibwa asasula 200,000, kyokka mu nkola enkadde ddereeva abadde aweebwa ennaku 28 okusasula ekipapula kyokka mu nkola empya ssente zaayongeddwa okutuuuka ku mitwalo 600,000 nga ddereeva alina kuzisasula mu ssaawa 72 ekisattizza aba ttakisi ne bawanda omuliro nga bagamba nti enkola empya egenda kubazza mu kyalo kubanga olaba bababadde balemererwa okusasula engasi ebaddewo mu budde ate ng’ebadde ya ssente ntono naye kati eno eya ssente enyingi egenda kubazibuwalira nnyo era bangi bagenda kugwgera mu makomera.
KITUUFU WALIWO OMUNENE EYASUUBUDDE KKAMERA ASOLOOZE?
Ensonda mu minisitule y’ebyentambula n’enguudo zitubbiddeko nti waliwo omunene mu minisitule y’entambula n’emirimu amanya ge agasirikiddwa eyakutudde ddiiru mu ggwanga n’asuubula kkamera ziino n’agibaliramu abanene ne bamukooneramu ne batandika okuteekateeka enkulungo kkamera zino wezigenda okuteekebwa era ezimu ku kkamera zitandise okuteekebwayo.
Kigambibwa nti ku buwumbi omunene ono bwagenda okukung’aanya mu bipapula gavumenti agenda kugiwaayo ebitundu 20 ku 100 ebitundu ebirala 80 ebisigadde abitwale yeeyagale ne famire.
Kyokka ku nsonga eyogerwako nti waliwo omunene eyasubudde kkamera asolooze Kataike ategeezezza nti enkola eno yaleeteddwa gavumenti okukukendeeza ku bubenje obukolebwa ku nguudo mu ngeri y’obulagajjavu abagamba nti waliwo omunene eyakukusizza ddiiru ya kkamera agifunemu balimba.
BATABUKIDDI GEN KATUMBA WAMALA
Aba ttakisi nga bakulembeddwa akulira ekibiina ekibagatta ekya Federation of Uganda Taxi Operations (UTOF) Rashid Ssekindi baawakanyizza minisita w’ebyenguudo n’emirimu Gen Katumba Wamala okukkirizza ne babaleetako etteeka lino erigendereddwamu okubasolooza nga bayita mu kubakuba ebipapula nga bakozesa kkamera z’okunguudo eziteereddwa ku buli nkulungo mu Kampala n’emiriraano kubanga etteeka lino lyayongedde ku bibonerezo ebibaddewo kyokka ng’abaalikoze tebasoose kubeebuuzako ng’abali mu mulimu. Aba ttakisi bawandiise ekiwandiiko ne bassaamu ensonga nga bawakanya ebibonerezo ebireeteddwa okutuusa nga Gen Katumba abayise ne bakkaanya ku buwaayiro obulina okubeera mu nkola eno.
Gen Katumba Wamala yakola nnyo mu kwegatta kw’ebiwayi bya ttakisi ebyali bikaayanira obuyinza ne bakola ekibiina ekya wamu wabula kati ebiriwo biraga nti aba ttakisi bamweweredde okumukolako olutalo singa Katumba anakkiriza enkola eno okutandika okukola nga tazzeemu kubeebuuzaako nga webamusabye.
Mustapha Mayambala amyuka ssentebe wa UTOF alabudde abanene ababaleeseeko eteeka ly’okubakuba ebipapula n’ekigendererwa eky’okubasolooza nti bagenda kubalwanyisa, bagenda kuduumira aba ttakisi bonna mu ggwanga beegugunge balage obutali bumativu kubanga singa etteeka lino litandika okukulo baddereeva bangi baakuggwera mu makomera olwa ssente enyingi ze babataddeko.


