Akasattiro Ewa Nalukoola: Engeri Hajji Kigongo Gye Yatabukidde Abanene Mu NRM Okuyingiza Muwalawe Mu Palamenti…

AHMED KALULU MUKASA eyakulembeddemu bannamateeka ba Faridah Nambi Kigongo okumatiza Benard Namanya omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala okusazaamu obuwanguzi bw’omubaka omulonde owa Kawempe North, Looya Erias Nalukoola Luyimbaazi, awaze nti ne mu kkooti ejulirwamu eyawanguddwa gy’awaga okuwakanya obuwanguzi bwabwe nayo bagenda kumuwangulirayo bubi nyo.

Hadijja Namagembe
9 Min Read
Looya Erias Nalukoola Luyimbaazi ne Faridah Nambi Kigongo

AHMED KALULU MUKASA eyakulembeddemu bannamateeka ba Faridah Nambi Kigongo okumatiza Benard Namanya omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala okusazaamu obuwanguzi bw’omubaka omulonde owa Kawempe North, Looya Erias Nalukoola Luyimbaazi, awaze nti ne mu kkooti ejulirwamu eyawanguddwa gy’awaga okuwakanya obuwanguzi bwabwe nayo bagenda kumuwangulirayo bubi nyo.

Mukasa nga y’omu ku bannamateeka abaali bakulembeddemu okutunda omuzikiti gw’eggwanga omukulu e Kampalamukadde olwa mufuti Sheikh Shaban Ramathan Mubajje okuguliirako ebbanja, okuwera okulemesa Nalukoola palamenti nga bannamateeka b’akakiiko k’ebyokulonda nga bakulemberwamu Eric Sabiiti baakalangirira nga bwe batagenda kuwakanya byasaliddwawo kkooti enkulu era omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama ssentebe waabwe n’ategeeza nti akakiiko kalindiridde bbaluwa okuva ow’omuwandiisi wa palamenti ebategeeza ng’ekifo kya Nalukoola bwekiri ekikalu bategeke akalulu ak’okukijjuza.

Byabakama yategeezezza nti kino kirina okukolebwa obutasukka 1 July n’ategeeza nti bwekiyita kibeera kitegeeza nti kkooti ejulirwamu Nalukoola gyagenda okuwakanya obuwanguzi bwa Nambi ne bwenaasalawo nti ave mu palamenti abalonzi b’e Kawempe tebagenda kubeera na mukisa gwakulonda mubaka mupya kubanga ssemateeka ewera okujjuza ekifo kya palamenti nga wabula ebbanga lya myezi 6 okulonda kwa bonna okubaawo.

Nalukoola, amawulire g’okumusuuza ogufo, gaamusanze Mecca n’ategeeza nti gavumenti ya NRM erwanyisa buwanguzi bw’abantu b’e Kawempe North wabula n’abagumya nti agenda kujulira, wabula akaluku ne bwekanaddibwamu era ajja kubawangula n’enkoona enywe.

LOOYA ATABUKIDDE HAJJI KIGONGO

Samuel Muyizzi Mulindwa omu ku bannamateeka ba Nalukoola, alumiriza nti kino Al-Hajji Moses Kigongo omumyuka wa ssentebe wa NRM ky’ayagaliza abantu b’e Kawempe North abamaze ebbanga lya myaka 4 nga tebakiikirirwa mu palamenti kubanga omubaka waabwe omugenzi Muhammad Sseggirinya baali baakamulonda n’aggulwako emisango gy’okumenya amateeka g’akalulu ka 2021 munne gweyavuganya naye Sulaiman Kidandala gye yamuggulako nga gino yali yaakagimaliriza ate ne bamukwata ku misango gy’ebijambiya, mu kkomera yavaayo mu 2023 nga mulwadde muyi nyo era ebiseera ebyasigala yabimala mu ddwaliro okutuusa bweyafa mu 2025 ng’atandika.

Nalukoola yalondebwa ate naye abadde tanatandika kubaweereza Nambi n’awakanya obuwagizi bwe ate ng’akimanyi nti gavumenti ya NRM kitaawe mwalina obuvunanyizibwa obw’amaanyi ye yaleeta amagye n’akabinja k’abakambwe aka JATT negatabula akalulu nga y’emu ku nsonga eyaleetedde kkooti okukasasibwamu.

Muyizi ategeezezza nti emisinde omulamuzi gyeyakozesezza mukuwuliriza n’okusala omusango gwabwe yabatiisizza nyo nga yaatuuka n’okugaana abamu ku bajulizi mu buntu okuwaayo obujulizi ne yeesigama ku birayiro byabwe bye baakuba mu kkooti ate bweyabadde asala omusango n’ategeeza nti obujulizi bwabwe Nalukoola teyabuwakanya ate nga tebaamuwa budde bumala okubuwakanya nga kino kyabalaze nti mu musango guno mulimu omukono ogw’amaanyi ogutaddewo embeera n’awera nga bwe bagenda okulwana okulaba ng’abantu b’e Kawempe bafuna obwenkanya.

OMULIRO MU LUKIIKO OLWASALAWO OKUWAKANYA OBUWANGUZI BWA NALUKOOLA

Looya Mukasa yeebazizza nyo olukiiko lwa NRM olw’oku ntikko lu Central Executive Committee (CEC) lweyagambye nti lubayambye nyo okuwangula omusango guno. Ensonda zitubuulidde nti eno ye waava ekiragiro ky’okuwakanya obuwanguzi bwa Nalukoola mu kkooti wadde nga ku kitebe ky’ekibiina e Kyaddondo abamu ku balooya baali bawakanya okugenda mu kkooti nga balumiriza nti obujulizi obuwanguza Nambi omusango tebuliiwo naye nga tebalina webanyonyola Kigongo ne ssentebe w’ekibiina pulezidenti Museveni abaali abakambwe enyo olw’okuwangulwa e Kawempe.

Ensonda zitubuulidde nti mu lukiiko lwa CEC olwasalawo okuwakanya obuwanguzi bwa Nalukoola, Kigongo yateeka Museveni ku nninga ng’ayagala okunyonyolwa lwaki ab’amagye batwaliddwa e Kawempe ng’alumiriza nti kino kyabadde kigenderere okulemesa muwalawe okuwangula.

MP Ibrahim Ssemujju Nganda owa Kira Municipality alumiriza nti Museveni okukkakkanya Kigongo ne banne nga Ssaalongo Godfrey Kiwanda atwala ekitundu kya Buganda ku CEC yabategeeza nti akoze buli kimu ekyetaagisa okulaba nga Nambi awangula n’abakakasa nti waakukola kyonna okuzuula ensobi weyavudde.

Ssemujju ategeezzeza nti mu lukiiko wakati, Museveni yakubira bonna beyawa obuvunanyizibwa bwa muwala wa Kigongo okuwangula e Kawempe nga munno mwe mwali n’aduumira obukessi mu poliisi Brig Gen Christopher Ddamulira, Maj Emmanuel Kutesa omuyambiwe ku nsonga za Ghetto nga munno yatwaliramu n’abajaasi abatalina nnyota beyasindika ku misoni eno eyabalema okutuukiriza.

Ssemujju alumiriza nti ssente ezikunukkiriza mu buwumbi 7, Museveni zeyasindika mu kalulu k’e Kawempe North nga zino zimuluma nyo ng’alina okukola kyonna ekisoboka nga bonna abaazirya ababonereza.

Ensonda zongeddeko nti akalulu k’e Kawempe n’okutuusa kati kakyasattiza abakulu n’abakozi mu kakiiko k’ebyokulonda Museveni baalumiriza nti balina omukono mu kuwanguza Nambi ng’eno y’ensonga lwaki baakyusa abakozi abalina okukola mu kalulu ako ne baleetamu abakozi abalala nti bano baali baagulirirwa Nalukoola.

ABAMANYI AMATEEKA BOOGEDDE KU KIKI EKIDDAKO MU KKOOTI EJULIRWAMU

Looya Male Mabiriizi atubuulidde nti tagenda kwewuunya singa okujulira kwa Nalukoola kuwulirwa nga July 12, 2025 tannatuuka, ne balangirira Nambi ne bamulangirira ayingire butereevu palamenti ng’alumiriza nti kino omulamuzu Namanya yatidde okukikola wadde mu nsala ye yagezezzaako okwesigama ku misango ng’ogwa Robert Kibirige Ssebunnya eyagenda obutereevu mu palamenti oluvanyuma lw’okumatiza palamenti nti Musoke Wakayima teyalina buyigirize bumusobozesa kubeera mu palamenti.

Mabirizi atubuulidde nti Nalukoola teyeetaaga kiragiro kya kkooti okusigala mu palamenti, era y’akyali MP wa Kawempe North- omulonde tagenda kuvaayo okutuusa ng’okujulira kweyakoze kuwedde okuwulirwa ng’awakanya ensala y’omulamuzi Namanya eyategeezezza nti Nalukoola yakola kampeyini ku lunaku lw’okulonda bweyagenda mu kifo ekironderwamu n’ategeeza abalonzi nti ye Nalukoola yennyini gwebalina okulonda.

Omulamuzi yategeezezza nti Nambi wadde yakuba akalulu, wabula akalulu ke n’obwabalonzi abalala abasukka mu 16000 tebwabalibwa oluvannyuma lw’amagye okubwonoona ne bakifeesi ng’abantu abo baggyibwako eddeembe lyabwe ery’okulonda abakulembeze baabwe.

OLUTALO KU SSENTE Z’AKALULU LUTANDISE MU NRM

Ensonda zitubuulidde nti Hadijjah Namyalo akulira ofiisi ya ssentebe wa NRM e Kyambogo yatandise dda okuperereza abakulu bekikwatako mu NRM nti singa akalulu kaddibwamu ye gwebabeera bakwasa omulimu gw’okukulemberamu okunonyeza Nambi akalulu ng’alumiriza nti ku mulundi oguwedde abakulu ku kitebe kya NRM e Kyambogo abaakulemberwamu ssaabakunzi

Rosemary Sseninde omulimu gwabalema nga y’ensonga lwaki baawangulwa.
Ensonda zongeddeko nti ssente z’akalulu zonna ab’okukitebe e Kyambogo n’aba State House baazeefuga, nga kati Namyalo awaga nti yaategeera Ghetto ezisinga e Kawempe.

LOOYA WA NALUKOOLA AGGYIDDEYO MPUUGA ENJALA

Omu ku balooya ba NUP, Sam Muyizzi avuluze eyaliko amyuka akulembera ekibiina kyabwe mu Buganda, Owek. Mathias Mpuuga

Nsamba ng’eggulo yatongozza ekibiina kye ekipya ekya Democratic Front (DF). Muyizzi yaweze nti buli kimu akikoze okusiguukulula Mpuuga mu kifo kya MP wa Nyendo-Mukungwe.
Muyizzi Ono Bwino yamusanze ku kkooti enkulu mu Kampala, mu musango ogwawanguddwa Nambi wabula Nalukoola n’ajulira.

Looya ono Muyizzi, twamubuuzizza nti naye ddala kkanso onaasobola Mpuuga eyakolerako n’e Mmengo? Yatuzzeemu akimba n’ategeeza nti ebyo Mpuuga by’agenda yeewaana nti wakitiibwa abirimbe baana bato n’abatamanyi kubanga naye nga Muyizzi, yaliko mu kibiina kya Nkobazambogo, musajja Omuganda asibuka e Masaka nga n’ekisinga mu byonna, taata we yaliko Pookino nga y’akulembererako Kabaka essaza ly’e Buddu, n’olwekyo Mpuuga akomye okugenda nga yeesoma nga bw’ali Oweekitiibwa gy’oli y’asoose.

Muyizzi yayongedde n’ayisaamu Mpuuga eggaali n’ategeeza nga ye bw’ali ‘ssiniya’ mu mateeka ng’omulimu gw’okugawoza yaakakugokolera emyaka 19, bw’ogerageranya ku Mpuuga gwe yayise omwana eyaakagamalamu kumpi emyaka 3 nga talina na misango giri awo gy’oyinza kugamba nti Mpuuga yawoza guno.

Muyizzi yatugambye nti aludde ng’ayiirawo NUP omubiri naddala mu by’amateeka gaawolezza okwetoloola Uganda yonna, sso ssi mu kitundu gy’ava e Masaka yokka, ng’eno alowooza y’emu ku nsonga egenda okutanula abakulu mu NUP okumuwa kkaadi aggye Mpuuga mu kifo kya Nyendo- Mukungwe ave mu paalamenti addeyo ku nnoni asomese abaana ku ttendekero lye erya Datamine oba lyonna ly’anaabeera ayagadde.

Wabula Muyizzi, akyalina okuyita ku bannakibiina okuli Alice Nannungi ne Lubowa Ssebina Gyaviira nabo abeepikira ekifo ekyo ku tiketi ya NUP.

TAGGED:
Share This Article