NNAGGAGGA Sudhir Ruparelia,69, ayogerwako ng’omusuubuzi asinga obugagga mu Uganda, awadde obujulizi n’abuulira bagagga banne ne Bannayuganda okutwaliza ewamu nti ensi terina kubeemazaamu wabula okukola emikwano n’okwagala abantu kyekisinga mu byonna ezo ssente temuli.
Buno bwebumu ku bubaka Sudhir bweyatadde ku mitimbagano gye nga yeebaza Bannayuganda olwokumubeererawo mu kiseera ekizibu ng’afiiriddwa mutabaniwe Rajiv Ruparelia,35, gwabadde alinamu essuubi okutwala obugagga bwe mu maaso kubanga ye akaddiye era omwaka guno agenda kuweza emyaka 70.
Rajiv yafiiridde ku myaka 35, wabula ku ssente ezitootoogana ng’obukolwa Sudhir zaalina, teyasobodde kujjanjaba ku mutabaniwe nga kino kyamulumye nyo wamu ne mukyalawe nga bombi baategeezezza nti omwana waabwe yafiiridde mu ntiisa emmotoka mweyali atambulira bweyafuna akabenje ku luguudo lw’e Busaalabala n’ekwata omuliro yenna n’asiriiriramu n’afuuka vvu nga ne bwe babeera bakutenda tosobola kumutegeera.
Sudhir ne mukyalawe nga bonna amaziga gabayitamu, baategeezezza abakungubazi nti tebaamanya kubanga omwana waabwe baali mugaanye okutambulira mu mmotoka mweyafiira kubanga edduka nyo kubanga ono bwabadde atambulira mu nnyonyi babadde tebamukkiriza kutuula mu lukale ng’atuula mu bifo omutuula abakungu.
Sudhir mu kiseera kino agenda adda engulu era yeebazizza nyo securite okulemesa bannamawulire n’abantu abalala abateeka obubaka ku mitimbagano okubatuukako n’omukyala kubanga babadde bayita mu mbeera nzibu nyo.
OMWANA W’OMUNENE OMULALA YESSE
Sudhir agenze okutereera, ate nga mukwano gwe era mugagga munne Ambassador Richard Kabonero ali mu maziga olwa mutabaniwe okwekuba amasasi ku nsingo ne mu kifuba.
Kabonero eyaliko omubaka wa Uganda mu Rwanda ne Tanzania, ensonda zitubuulidde nti mutabaniwe Robert Kabonero yamusomeseza mu masomero agasingayo obulungi mu nsi yonna nga afiiridde ku myaka 24 era abadde yaakamaliriza diguli ye mu byenfuna, ng’alina endala mu nkolagana y’amawanga — zonna yazisomera mu America.
Omwana amasasi yageekubira mu nyumba ya kitaawe e Bugoloobi mu bagagga, yasooka kuweereza mikwano gye n’abenganda obubaka ng’abategeeza nga bwagenda okwerumya olwa kitaawe okumunyiiza n’amulagira akomewo mu Uganda ate nga ye yali akyanyumirwa okubeera mu America ne maamawe nga ono baayawukana ne kitaawe.
Omwana amasasi yageekuba mu nsingo ne mu kifuba. Bino byaliwo ku kabaga k’okujaguza amazalibwa ga kitaawe omuto omugagga Bob Kabonero nga basooka kumuddusa mu malwaliro ag’amaanyi mu Uganda oluvanyuma ne bamwongerayo e Nairobi mu Kenya gyeyafiiridde nga yaakamala emyezi 3 ku byuma ebiyambako okussa kwebateeka abalwadde abali mu mbeera embi.
Omugagga Kabonero okunyolwa kw’ayitamu kw’amaanyi olwokufiirwa omwana ku myaka 23 ng’abadde ayagala nyo abeere ambasada nga ye nga ne bweyamala emisomo yamuleeta mu Uganda n’amutwala mu minisitule y’ensonga z’ebweru gyeyafunira okwegezaamu nga tanatandika kukola.
OMUWALA OMUBALAGAVU EYAFIIRA MU BBAALA
Ono mugagga munne Seth Murari n’omukyala Barbara Murari be basobola okunyonyola obulumi bagagga bannaabwe bwe bayitamu kubanga mu March w’omwaka guno, baafiirwa muwala waabwe omubalagavu yekka gwe baali balina nga bamukuuma nga kabiriiti Martha Ahumuza Murari. Omuwala ono yazirikira mu bbaala y’abagagga mwebasanyukira eya Mezo Noir bar e Kololo mu Kampala.
Abasawo baakizuula nti ono essanyu eringi lyeyafuna mu kiro ekyo ng’asisinkanye muganziwe lyeryamutabula obwongo okwesiba oluvanyuma n’afa nga wa myaka 23 gyokka.
Mu kuziika, maamawe yategeeza abakungubazi nti yagulira omwana we emmotoka ng’atya okufiira mu bubenje bwa bodaboda ng’akatta Belinda Birungi Mayanja muwala wa minisita omubeezi ow’ebyettaka Dr Sam Mayanja ku myaka 23 gyokka, kyokka laba ate bw’afiira mu bbaala mu ngeri etategeerekeka!
Maama w’omugenzi yattottola nti muwalawe yali amutangira nyo okugenda mu biduula nga n’okugenda okuzirikira mu bbaala n’afiira mu ddwaliro yali agenze kusuubula Dubai ng’eno amawulire g’okufa kwa muwalawe gye gaamusanga.
MUTABANI WA BABU AZIRIKIDDE E RWANDA
Abagagga bakyaweereza munnaabwe Edward Francis Babu eyaliko omubaka wa Kampala Central mu palamenti n’omukyala Olive Kigongo essaala olwa mutabani waabwe omukulu Cedric Babu okusimattuka ekirwadde ekyamugwiridde.
Kigongo yayawukana ne Babu oluvanyuma lw’omugagga Al-Hajji Moses Kigongo omumyuka wa ssentebbe wa NRM okumupasula ewa Babu wabula yagenda okumupasulayo ng’amuzaalidde abaana babiri omulenzi n’omuwala nga bonna b’amaanyi mu Kampala.
Cedric ekirwadde kyamugwiridde bweyabadde agenze e Kigali mu Rwanda okubeerawo nga mutabaniwe Asante Ndilima azannya mu mpaka za ttenna. Eno embeera gyeyamutabukiddeko n’agwa ekigwo ne bamuddusa mu ddwaliro, oluvanyuma ensonga baazitegeezezza mukwano gwe Gen Muhoozi Kainerugaba omuduumizi wa UPDF, eyalagidde mu bwangu addusibwe mu ddwaliro lya Agha Khan mu Kenya.
Ensonda zitubuulidde nti wiiki ewedde enteekateeka zaabadde ziri mu kukolebwa Cedric okumwongerayo mu America okusobola okufuna obujjanjabi obusingawo nga balumiriza nti atawanyizibwa ebirwadde ebyekusa ku mutima.
Cedric embeera egenze okumutabukako nga yalangirira dda nga bwagenda okuvuganya ku bwasentebe bwa NRM mu Kampala Central. Ono agenda kuvuganya meeya wa Kampala Central Salim Uhuru era mu kalulu ka 2021 y’omu ku baawangulwa omubaka Muhammad Nsereko ku kifo ky’omubaka wa Kampala Central.
Cedric y’omu ku bavubuka abaana b’abagagga abalya sente ne Gen Muhoozi mu bifo ebisanyukirwamu nga abalala kwekuli omuyimbi Moses Ssali (Bebe Cool) ng’ono mutabani wa munnabyabufuzi omugundivu eyawummula Jaberi Bidandi Ssali.
BAFIIRA NNYO EBWERU
Ensonda zitubuulidde nti abagagga ebiseera ebisinga abaana baabwe bafiira mu mawanga g’Abazungu naddala America, Bungereza, Canada gyebabeera babasindise okusoma nga omu ku bo akyali mu kiyongobero n’okutuusa kati ye mulamuzi wa kkooti ejulirwamu eyawummula Remmy Kasule.
Abaana b’abagagga babalumiriza nti bwe batuuka mu Bazungu bayiga emize gy’okukozesa ebiragalalagala nga ebiseera ebisinga byebibaviirako ebirwadde ebibatabula obwongo ne bafa. Abalala bayingira agabinja g’agavubuka agamenyi g’amateeka mu America ne mu mawanga amalala.
Omu ku bagagga atubuulidde nti okutwala abaana baabwe mu mawanga g’Abazungu nga pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu(Bobi Wine) bweyakola ku mutabaniwe Solomon Kampala, babeera batya kubakwatira mu bikwolwa by’obumenyi bw’amateeka n’okulaba nga bafuna okusoma okulungi okutwala mu maaso obugagga bwabwe n’omukululo.


