OMUSAJJA omwejaasijaasi w’omu Kampala, era ayambala amasuuti n’atonnya mmooli, Frank Gashumba, gyebuvuddeko yasazeewo ave mu by’okwekwekerera era yayanjuddwa mu maka ga bazadde ba mukyala we Mutoni Patience Malayika ateeberezebwa okubeera ow’emyaka 26 era nga Gashumba amusinga emyaka 26 bwe ddu.
Ebifaananyi by’abafumbo bano abapya ennyo mu ggwanga bwe byalabikidde ku mitimbagano, Bannayuganda badda mu kutenda bufere bwa Frank Gashumba era ne bamusibako ogwokubatomeza anti okusinziira ku byazze ayogerera abakazi, banji babadde bamanyi alifa buwuulu ate abalala nga bamanyi nti ajja kuwasa malayika ng’avudde butereevu mu Ggulu.

KYOKKA BULIJJO GASHUMBA AVUMIRIRA OKUWASA
Gashumba bulijjo bw’ayogera ku kuwasa, agamba omukazi gwaliwasa alibeera ne feesi empanvu era nga eya Malayika, n’amagulu amawanvu ng’aga Malayika, ensingo nga eringa eya ng’aali era nga eya Malayika mbu era nga ava mu bitundu bye Kololo, Buziga, Ntebbe oba ebifo ebirala ebigwa mu ttuluba eryo.
Kyabuuse ku bannayuganda okumanya nti Gashumba yasomose Lwera, Ssembabule era omutima gwe ne gukkakkanira e Rwemiyaga anti eddungi liva wala era ono yatutte ente 12 n’obukadde mukaaga mu bazadde ba mukazi we.
Ekyamututte e Rwemiyaga kiri nti mu Kampala abawala emyaka mito, naye baakalabuka dda era balwanye entalo ezaabulwa abala, ate Gashumba jjukira alimu olw’emanyi n’okwekanasa nga kigambibwa bulijjo baabadde nabo babadde bakuyitamu buyisi ng’omusajja yenna okusobola okubeerawo.
Abo abagamba nti Malayika muto nnyo, Gashumba yababuzizza oba mwabadde mwagala awase Annet Nandujja oba Namirembe Bitamazire?
Bulijjo Gashumba bamutenda okwagala muwala we, n’okuvumirira abakazi wamu n’okulengezza abaagala abasajja abakodo n’abaavu era nga bwewunya bwabeera mu mukwano kiba kitya.
Okuva lweyatongozza enkolagana ye ne Malayika, omutima gwe mutebenkevu era guli mu ssanyu. Abadde akuba muwala we Sheilah Gashumba eri ensi ng’ogamba kawala ke kano akaseegu ke kasoose okuzaalibwa, kati Malayika tamuva ku mumwa. Ekisookera ddala nti alinga bweyamuloota ng’agamba nti yamusisinkana yaakamala okusoma era bwatyo n’amuzzaayo ku ssettendekero emu, ayongere ku bitabo.

BULIJJO OMUKAZI GY’ALI
Abamulengezza bulijjo nti ayogera ku nsonga z’abafumbo nga si mufumbo abasekeredde kuba ye ekyebbeeyi kye bulijjo gyekiri si kya buli omu.
Wetuwandikidde emboozi eno nga Malayika musomi ate era nga yamufunira n’omulimu ogw’ebbeeyi.
Mbu yasooka n’amugezesa ng’alinnya boda okumala emyezi munaana alabe oba mwana muwala teyazze na kaveera kukung’anya Frank Gashumba bye yeekung’anyiza. Yalaba ebigendererwa bikuumuufu, n’amusindika gyebayigira okuvuga emotoka era olwamala okukansa siteeriingi, n’amuyiwamu enzirusi ya bukadde asatu mu musanvu ayigire kweyo okuvuga n’oluvanyuma amuyiwemu endala ey’akabi ennyo. Ey’obukadde 37 Malayika abadde yaakagitomeza emirundi egiwerako.
Oluvanyuma lw’omukolo gwabwe, Gashumba ne Malayika we baalabibwako mu kivulu ky’omuyimbi The Ben naye nga buli omu atambula bibye balinga abateerabanganako.

GASHUMBA ASEKEREDDE ABATOKOMOKA OMUGAMBO
Ababitema amangu ne bagamba nti engeri gy’amaze mu buwuulu emyaka abiri mu ettaano, ebyomukwano takyabimanyi.
Abo yabasekeredde ng’agamba nti ogwo si gwe gwabadde omulundi gwabwe ogusooka okutambulako bombi nti era bagenze ku mikolo mingi babiri ne mu State House baatuuka dda.
Byonna Gashumba abyogedde naye bannayuganda basigadde bakukkuluma nga bamulangira okubafera anti gweyalaze ensi ne bulijjo gwayogerako baawukanira ddala.
KYOKKA NE KASUKU YAFERA ENSI?
Gashumba tali yekka, munamawulire Isaac Katende – Kasuku yawAananga abakazi ab’obubina obunene era n’alowozesa abantu nti ekyama kyava dda mu bukazi obutono kiri mu balina Nyash. Abamugoberera kyababuukako bweyakyala ewa maama wa baana be, ebifaananyi ne bifuluma nga ddala mukyala mutono ng’ensiri okusinziira ku Kasuku beyajjanga awaana.
Ne Sheebah Karungi bwatyo bweyalowozesa abantu nti abasajja talina kalungi kaabagalako kyokka ate n’afuna olubuto mu musajja ateeberezebwa okuba omufumbo era n’akubawo ezzadde lya mwana mulenzi, era kati abuusa bbebi we.



