Bobi Awadde Ebiragiro Ku Ba MP Baagenda Okugoba: Buli Omu Amutaddeko Ttiimu Y’abalwanyi 9…

ROBERT KYAGULANYI SSENTAMU (Bobi Wine) pulezidenti wa NUP akakasizza nga bwe bataddewo enteekateeka ezigenda okubayamba okutuuka ku bawagizi bwabwe naddala abavubuka oluvanyuma lwa poliisi n’ebitongole bya securite okubalemesa obutabaako mukolo gwonna ogw’ebyobufuzi gwebategekera ku kitebe kyabwe e Makerere Kavule mu Kampala.

Hadijja Namagembe
4 Min Read
ROBERT KYAGULANYI SSENTAMU (Bobi Wine) pulezidenti wa NUP akakasizza nga bwe bataddewo enteekateeka ezigenda okubayamba okutuuka ku bawagizi bwabwe naddala abavubuka oluvanyuma lwa poliisi n’ebitongole bya securite okubalemesa obutabaako mukolo gwonna ogw’ebyobufuzi gwebategekera ku kitebe kyabwe e Makerere Kavule mu Kampala.
Omubaka Betty Nambooze Bakireke owa Mukono Municipality ategeezezza nti mu nteekateeka zino, mulimu n’okununula konsituwansi ze baawangula mu kalulu ka 2021 wabula nga mu kiseera kino ababaka ba palamenti n’abakulembeze mu gavumenti ez’ebitundu baabeekyusiza dda nga bawagira pulezidenti Museveni.
Mu nkola gye batuumye ‘blue water wave’, Nambooze ategeezezza nti muno mwe bayise okulamba konsituwense zebalina okulwaniramu naddala wano mu Buganda nga balina okutuukiriza ekiragiro ky’omumyuka wa pulezidenti wa NUP Muhammad Muwanga Kivumbi kyeyawa nti mu Buganda baagalamu ababaka ba palamenti 100.
Ono ategeezezza nti mu nkola eno basindise ttiimu okugenda ku buli kyalo nga balondamu ttiimu y’abakulembeze 9 ku buli kyalo abagenda okukulemberamu enteekateeka z’okunonyeza NUP obuwagizi n’okubasobozesa okuwangula ebifo by’obukulembeze okuviira ddala ku byalo.
Omubaka Kivumbi ategeezezza nti ttiimu ye yatandiise dda okutalaaga ekitundu kya Buganda nga banyweza emirandira mwebagenda okuyita okuwangula –wiiki ewedde yabadde Kasanda, nga yatwaliddemu ne Mubende azzeeko Masaka, Gomba n’ebitundu ebyetoloddewo.

EKISEERA KYE BAAWA MPUUGA NE BANNE KIGGWAYO

Ono yategeezezza nti ekiseera ky’omwezi ekyaweebwa ababaka bakyewagula okuli Joyce Bagala owa Mityana, Jimmy Lwanga ow’e Lugazi, Dr. Twaha Kagabo ow’e Bukoto South, Mathius Mpuuga Nsamba owa Nyendo-Mukungwe, Abed Bwanika – Kimanya-Kabonero, Kazibwe Bashir Mbaziira [Kawempe South], Juliet Nakabuye Kakande [Mukazi Masaka City], Joyce Baagala Ntwatwa [Mukazi, Mityana] n’abalala kigenda kiggwayo nga tewali wadde yaagenzeeko ku kitebe okwetonda n’alayira nti mu kalulu ka 2026 bagenda kubasimbako abantu era balabe nga bawangulwa.
Ababaka bano bakibateekako nga bwe bakukuta ne Museveni nga y’ensonga lwaki Baagala ne Bwanika ekibiina bwe kyabagoba ku bukulu bw’akakiiko k’ebisuubizo bya gavumenti, sipiika Annet Anita Among yalwana nyo okulaba nga tebakavaako n’okutuusa kati.
Okuva Mpuuga bwe baamuyimiriza ku bumyuka bwa pulezidenti wa NUP, ababaka abaali bamukkiririzaamu naddala Baagala ne Bwanika tebaddangako ku kitebe kya kibiina era kibawunyira zziini wadde nga bakyalumiriza nti eyo nsonga nnafu nyo nti bo tebavanga ku mulamwa emirimu gy’ekibiina bagikolera ddala.
Ensonda zitubuulidde nti ababaka bano bali mu kiseera kizibu ddala kubanga ekibalo kyabwe eky’okutunda ekisinde kya Democratic Alliance (DA) okubayambako okuwangula ebifo byabwe kikyaganye okukwatayo nga abantu tebabategeera bulungi.
Ensonda zigasseeko nti n’omunene mu gavumenti ya Museveni eyali yabasuubiza akasente okukola emirimu gy’okukunga obuwagizi naye atandise okwebuzaabuza nga kati bali mu kattu ekibaleetedde okulowooza okudda e Kavule okwetonda wadde nga kino Mpuuga takyagalirako ddala, era buli emmotoka ye bw’emuyisa e Kavule ajula kuwandulawo malusu.
Kivumbi alumiriza nti bano essaawa yonna bagenda kulangirira ekibiina ky’ebyobufuzi mwebagenda okwesimba mu kalulu ka 2026 nga y’ensonga lwaki yabanguyidde okulangirira oba bakyali nabo oba nedda basobole okunonya abantu be bagenda okusimba mu bifo byabwe.
Wabula Abdulnoor Kyamundu omusomesa w’ebyobufuzi ku ttendekero ly’Abasiraamu erya IUIU agambye ONO BWINO nti aba NUP kyebaliko si kulwana lutalo lugoba Museveni ku bwapulezidenti naye kuweza muwendo gw’ababaka abangi ku ludda oluvuganya mu palamenti basobole okufuna ssente eziweebwa ba MP olwo NUP egaggawale n’abagikulira.
Share This Article