GEN MUHOOZI KAINERUGABA aduumira amagye ga UPDF era omuwabuzi wa pulezidenti Museveni ku bikwekweto eby’enkizo amazeewo okukubagana empawa wakati wa poliisi n’amagye nga buli omu yeegaana nga bwatalina ky’amanyi ku kabinja ka bakkomando abakambwe ennyo aba Joint Anti-Terrorism Taskforce (JATT), bw’akakasiza nti ye akamanyi era bannayuganda tebalina kwebuuza nyo bikakwatako.
Gen Muhoozi yabadde ku mukutu gwe ogwa X, edda ogwayitibwanga Twitter n’ategeeza nga bakkomando ba JATT bwe bali bannayuganda era bamanyiddwa bulungi mu securite n’atendereza nyo omulimu gwe baakoze e Kawempe n’alabula nti effujjo bweritaakome baakugenda mu maaso nga bagolola abalikola ettumba.
Ebigambo bya Muhoozi bikakasiddwa Maj Gen Felix Kulayigye ayogerera UPDF abuulidde ONO BWINO nti JATT bagimanyi ng’ekitongole kya securite ekiyambako okunyweza emirembe mu Uganda nga balina obuduumizi bwabwe obumanyiddwa obulungi nga bakolera wansi w’ekitongole ky’amagye ekikessi ki Defence Intelligence and Security (DIS) ekyali kimanyiddwa nga Chieftaincy of Military Intelligence (CMI).
Wabula Gen Muhoozi yabadde tannavaayo kukakasa nga JATT bwe bagimanyi obulungi era nti yakoze omulimu omuyonjo e Kawempe bweyakubyekubye n’okukwata abawagizi b’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) abaabadde banoonyeza omuntu waabwe looya Erias Luyimbaazi Nalukoola obuwagizi okusobola okuwangula akalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North mu palamenti ekyalimu omugenzi Muhammad Ssegirinya, Maj Gen Kulayigye ye yabadde yeegaana nga bwe batamanyi bakkomando aboogerwako ng’abamawulire abajuliza wa Kituuma Rusoke ayogerera poliisi ng’alumiriza nti poliisi yeevunanyizibwa ku securite y’akalulu ke Kawempe North.
‘JATT TWAGITWALA E KAWEMPE LWA NSONGA’
Naye Maj. Gen Kulayigye abuulidde ONO BWINO nti teyali nsobi abakulu mu securite okusalawo okusindika bakkomando ba JATT e Kawempe ng’alumiriza nti baakikola nga bagoberera okuwabulwa kwa bambega baabwe abaababuulira nti e Kawempe wagenda kubeerayo effujjo lingi eryali ligenda okukolebwa abantu abalina obukodyo bw’okukola bbomu z’amafuta, abenyigirako mu bikolwa by’ebijambiya nga baalina okusindika bakkomando babakoleko.
Ono atukakasizza nti bakomando bano tebagenda kuva Kawempe okutuusa nga securite ekakasizza nti embeera eteredde wabula ensonda ez’omunda mu securite zitubuulidde nti aba JATT baasindikiddwa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo naddala ebibuga okuli Kampala, Mukono, Wakiso, Mpigi, Mbale, Masaka nga kino bakikoze okwetegekera obujagalalo obuyinza okubaawo naddala ng’eggwanga linaatera okutuuka mu kalulu ka 2026.
BAGENERO ABALALA BATABUSE
Wadde Gen Muhoozi awaga nga bakkomando ba JATT bwe baakoze omulimu omuyonjo, ye Gen David Sejusa eyaliko omukwanaganya w’ebitongole ebikessi mu ggwanga, buno abuyise butiitiizi n’asaba abakulu mu UPDF okukomya embeera bwetyo nti eyakoleddwa bakomando ba JATT e Kawempe ng’alumiriza nti UPDF eyonoona erinnya n’ekitiibwa ky’egye lye baalwanirira n’okuzimba okutandikira ddala mu nsiko z’okulwanyisa obukulembeze bwa Idi Amin.
Gen Sejusa ategeezezza nti butiitiizi bwennyini bakomando abaatwaliddwa okukuuma emirembe, ate okubikka ffeesi zaabwe ne bambala n’obukookolo nga tebaagala ate abantu be baagenze okutaasa okubalaba n’ategeeza nti ye entalo zonna zaalwanye bakomando ne bwe babeera beekuba amasasi n’omulabe tebabikka bwenyi bwabwe.
Ono yeewunyizza aba JATT okubikka ffeesi zaabwe ate ng’abalamuzi abawanika abantu ku bulabba nga bamaze okubasingisa emisango gya nnaggomola bakikola buli omu alaba n’abantu bonna ne babamanya n’abuuza aba JATT bakweka ki?
OBA ABA JATT B’AMAANYI BABATWALE E CONGO
Awadde abakulu mu UPDF amagezi nti bwe babeera bakakasa nti bakomando ba JATT bakambwe nyo era basobola okusanyawo omulabe yenna atiisatisa gavumenti ya Museveni, mu kifo ky’okubateeka mu bantu e Kawempe babatwala mu gabira g’e Congo balwanyise abatujju ba ADF oba okuyambako abayeekera ba M23 oba aba pulezidenti Felix Tshisekedi owa Congo.
Ono ayongeddeko nti bakomando ba JATT baasoose okulaba nga bambadde obukookolo n’ategeeza nti alabye ebikwekweto bingi ebikolebwa amagye g’amawanga gakirimaanyi nga America, Bungereza, Yisirayiri nga tebeesibye bukokolo, obubinja bw’abatujju nga ISIS, Hamas, Al Qaeda, Al Shabaab n’obulala bwe bwesiba obukookolo nga bukola ebikwekweto byabwo kubanga bumanyi nti bye bukola bimenya mateeka g’ensi yonna n’okutyobola eddembe ly’obuntu.
GEN MUNTU ABASEKEREDDE
Gen Sejusa awagiddwa Maj Gen Mugisha Muntu omu ku baadumirako UPDF nga Museveni ne banne baakawamba mu 1986 ategeezezza nti Museveni okuleeta bakomando ba JATT mu bantu ba bulijjo agezaako kupima busungu bwe balina n’okubatiisatiisa obutagezaako kwegugunga beeyiwe ku nguudo nga beekalakasa okuwakanya ebikolwa bya gavumenti ye.
Ono wabula alabudde n’ategeeza nti abantu ba bulijjo naddala abavubuka tosobola kubakuumira mu kutya ekiseera kyonna nga bw’obanyigiriza enyo basobola bulungi okwabika nga bwo bwe baayabika ne bakola ku gavumenti ya Milton Obote obuyeekera.
EBY’OKUTEESA MUZEEYI AVE MU NTEBE
Mugisha asabye Mzee Museveni akkakkane akkirize okuteesa n’abavubuka bakkaanye ku ngeri gy’asobola okuwaayo obuyinza mu mirembe ku lw’obulungi bwa Uganda mu kifo ky’okulaga eryanyi.
Omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu Agath Atuhairwe alumiriza nti effujjo abasecurite lyebakola ku Bannayuganda naddala abavubuka abagezaako okuwakanya gavumenti ya pulezidenti Museveni ekigendererwa kyabwe kyakubeetamya ggwanga lyabwe baddukire mu Bazungu nga n’abalala bayinza okugwa eddalu olwokutulugunyizibwa.
Mubiru Njuki omutunuulizi w’ebyobufuzi abuulidde ONO BWINO nti effujjo erikolebwa ab’ebyokwerinda nti katemba akolebwa abali mu gavumenti n’abali ku ludda oluvuganya okunyiiza bannansi beetabe mu bungi mu kalulu ka 2026 nti kubanga bo be bakafunamu ng’abantu.
Wabula ensonda mu securite zitubuulidde nti ebimu ku biragiro ebiweebwa bakomando ba JATT nga baliko ekikwekweto kye bagendako kwekukakasa nti ffeesi zaabwe tezirabwa era oyo yenna gwe babeera balabye abeera alina okutwalibwa mu bitongole ebirala nga poliisi.
Bano batubuulidde nti abo bonna abaasindikiddwa e Kawempe okukola ku ba NUP wabula obwenyi bwabwe ne bufulumizibwa ku mitimbagano ne mu mawulire bagenda kutwalibwa mu bitongole ebirala n’akakasa abantu nti kati ttiimu mpya yeegenda okusindikibwa mu bitundu securite byerinamu okutya nti biyinza okuteekawo embeera y’obutabanguko mu kiseera ky’akalulu ka 2026.
ABA MILITARY ABANTU BAABAMANYIIRA
Bambega bongerako nti securite okusalawo okuleeta ba JATT okutereeza embeera kyaddirira okukakasa nti abapoliisi, ab’amagye ga bulijjo ne militale abaateekebwa mu bantu okunyweza ebyokwerinda, abantu baabamanyira nga n’abamu baatandika okubalyako enguzi n’okukwata abakazi n’okwagala abasajja be babeeramu nga babadde balina okuleeta ttiimu empya.
EBYAMA EBIPYA KU BAKKOMANDO BA JATT
Ensonda zitubuulidde nti JATT eteekebwamu bakkomando ababeera basinze okukola obulungi mu kutendekebwa mu poliisi ne mu magye. Bano batwalibwa mu nkambi z’amagye ga UPDF ezisangibwa e Nakasongola ne Kasese gye batendekebwa ebbanga eritakka wansi wa myaka 3, tebatera kuggyibwayo ng’ekikwekweto si kyamutawaana nyo.
Bano be baasindikibwanga okukwata abavubuka abaali bateeberezebwa okutegeka obuyeekera mubitundu by’eggwanga ebyenjawulo ng’akalulu ka 2021 kaakaggwa nga pulezidenti Museveni obuyinza obw’okukalondoola yali yabukwasa omugenzi Lt Gen Paul Lokech.
Ensonda zongeddeko nti akabinja ka bamuntunsolo bano okuva mu nkambi zaabwe, Museveni alina okukimanyako era mu kiseera ky’akalulu Gen Muhoozi ne Lt Gen Kayanja Muhanga kati aduumira amagye g’okuttaka nabo baalinanga okukimanyaako.
Simon Mulongo omukugu mu bya securite eyawabulako n’omukago okugatta Africa ogwa African Union ku lutalo lw’e Somalia atubuulidde nti JATT kabinja ka bakomando bamuntu nsolo nga yeewunyizza nyo okukalaba e Kawempe n’anyonyola nti bweyabeerera e Somalia ko kaasindikibwanga kulwanyisa batujju ba Al-Shabab nga mu bantu ba bulijjo tebabeeramu.
Ono anyonyodde nti yakakasirizza ku ngatto n’emmundu nti aba JATT ze baabadde nazo e Kawempe kubanga ezaabwe zibeera za njawulo nyo ku z’ebitongole by’ebyokwerinda ebirala.
Ono awagiddwa James Kakooza omubaka wa Uganda mu palamenti ya East Africa ategeezezza nti bakomando abaatwaliddwa e Kawempe emmundu ze baabadde nazo zikakasa nti si ba bulijjo wabula n’alumiriza nti abamu ku baabadde mu kikwekweto ekyo abamanyi.
Kakooza ategeezezza nti komando eyasika Nalukoola ku bodaboda amumanyi bulungi era alina munnabyabufuzi omu ku ludda oluvuganya gwakuuma n’alumiriza nti bakomando abaaleeteddwa e Kawempe baabadde baakatendekebwa nga y’ensonga lwaki beeyisizza mu ngeri y’ekiboggwe nga bakyakayiga.


