MINISITA omubeezi owa tekinologiya n’okulung’amya eggwanga Oweekitiibwa Joyce Nnabbosa Ssebuggwawo yeebazizza abataka abakulu ab’Obusolya mu Buganda olw’okuzimbira Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ofiisi ku ttaka pulezidenti Museveni lye yabagulira mu maaso ga Bulange e Mmengo mu Kampala.
Abataka nga bakulemberwamu Yusuf Walusimbi Mbirozankya omukulu w’ekika ky’effumbe, baalambuzza minisita Ssebuggwawo ekizimbe ekitonotono kye baatadde ku ttaka lyabwe nga bwe balindirira ekisuubizo kya Museveni okubaweereza abazimbi b’eggye lya UPDF okubazimbira ekizimbe ky’obusuubuzi gaggadde nga kisinga ne Bulange okutudde ekitebe ky’Obwakabaka bwa Buganda.
Mbirozankya eyakulembeddemu okulambuza minisita, yamulaze Ofiisi gye yagambye nti egenda kubeera ya Kabaka nga tebagenda kukkiriza muntu mulala kugituulamu kaabeere omukubiriza w’Olukiiko lw’abataka Kabaka gw’anaalonda n’anyonyola nti mu Buganda, Kabaka yekka y’alina okuba omukubiriza w’olukiiko lwabwe.
SSEBUGGWAWO BAMULAZE PULOJEKITI Z’ABATAKA
Minisita era baamulambuzza pulojekiti abataka ze batadde ku ttaka lyabwe okuli ey’okulunda eby’ennyanja, okuyigiriza abantu okulimira ewantu ewafunda, okumeza endokwa z’ebitooke n’emiyembe. Omulimisa Benon Kisomose akulira okuddukanya pulojekiti zino yabuulidde Owek. Nabbosa nti bayambye abavubuka bangi okwetandikirawo emirimu nga bayita mukulima.
Minisita eyabadde n’eyali minisita wa Kabaka Oweekitiibwa Ssewava Sserubiri yasuubizza bajjajja ng’essaawa yonna bwagenda okuddamu okubasisinkana okwogera ku nsonga ezikwata ku Bwakabaka bwabwe ezibabobbya emitwe.
OBUTAKKANYA BWA OWEK. NABBOSA NE KATIKKIRO MAYIGA
Minisita alina obutakkaanya bw’amaanyi n’obukulembeze bwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga obwatandikira ku ddiiru y’okutwala abataka ewa pulezidenti Museveni eyabagulira ettaka ng’obukulembeze bw’e Mmengo Mayiga bw’akulira tebumanyi.
Mayiga yategeeza nti ekikolwa Owek.Ssebuggwawo kye yakola kyagendereramu kukutulamu Buganda n’awera nga bw’atagenda kino kukikkiriza nga n’abataka bonna abaagenda ne Ssebuggwawo baakubonerezebwa abataka kyebawakanya nga balumiriza nti obuyinza obwo Mayiga tabulina kubanga ye mukopi e Mmengo.


