Obunkenke Bw’akalulu 2026: Gen Sejusa N’abajaasi Abaawummula Babataddeko Ebiragiro Ne Kamera Ezibalondoola, Ewa Bobi Kitokota; Lwaki Bamwetolozza Kamera, Bodaboda ne Bambega Buli Waalinnya…

KU NTANDIKWA y’omwaka guno 2025, Gen David Sejusa eyakulirako okukwanaganya ebitongole ebikessi yakubira mukwano gwe munnamawulire ow’amaanyi mu Kampala ng’amusaba okugenda okumukyalirako ku ffaamu ye e Ssembabule babeeko ensonga enkulu ze banyumyako nga bwe bookya n’okulya emicomo gy’ennyama y’embuzi n’enkoko ebimu ku bisinga okumuwoomera

Sengooba Alirabaki
7 Min Read
KU NTANDIKWA y’omwaka guno 2025, Gen David Sejusa eyakulirako okukwanaganya ebitongole ebikessi yakubira mukwano gwe munnamawulire ow’amaanyi mu Kampala ng’amusaba okugenda okumukyalirako ku ffaamu ye e Ssembabule babeeko ensonga enkulu ze banyumyako nga bwe bookya n’okulya emicomo gy’ennyama y’embuzi n’enkoko ebimu ku bisinga okumuwoomera.
Munnamawulire ono atubuulidde nti olwokuba yali ayagala okutegeera obulamu Gen Sejusa bwayitamu okuva bweyawummula mu 2023 n’okubaako ensonga enkulu ezigenda maaso mu ggwanga zaayogerako, yakkiriza okusisinkana Gen Sejusa ku ffaamu ye nga bwe baali bakkaanyizza.

YEESITULA OKUGENDA OKULABA GEN. SSEJUSA

Ono bweyali asimbula, yamukubira essimu n’amutegeeza nga bwe yeetadde mu ddene atandike olugendo naye n’amukakasa nga bwamulinze. Wabula kyamubuukako bwe yatuuka ku mulyango oguyingira ku ffaamu ya Gen Sejusa abajaasi abakambwe beyasangawo ne bamutegeeza nga bwe bafunye ebiragiro okuva mu bakama babawe obutamukkiriza kusisinkana Genero nga bweyali ayagala.
Wano yagezaako okukuba amasimu ga Genero Sejusa wabula nga tegakwatibwa era kino kyamukakasa nti waliwo embeera etali ntuufu, wabula abeera akyusa emmotoka ye n’amulengera ng’atudde mu kati ng’abadde agoberera byonna ebigenda maaso ku ggeeti naye kyeyakola kwe kumuwuubirako ng’amusiibula.
ONO BWINO okufuna emboozi yamunnamawulire ono amaze ekiseera ng’akubiriza pulogulamu z’ebyobufuzi ku leediyo ne TV, kyaddiridde Gen Sejusa okuteeka obubaka ku mukutu gwe ogwa X, edda eyayitibwanga Twitter nga yeemulugunya lwaki tebamuyita ku mikolo gya gavumenti ne UPDF ate nga y’omu ku baalwana okuleeta gavumenti ya pulezidenti Museveni mu buyinza mu 1986.

OBA SEJUSA AFUNYE NSAALWA?

Gen Sejusa okwogera bino, yalinga afunye ensaalwa olwokulaba munne eyali ssaabaduumizi wa poliisi Gen Edward Kale Kayihura ye ayitibwa ku mikolo gya gavumenti ne UPDF.

SEJUSA BAKYAMULONDOOLA WADDE YAWUMMULA AMAGYE

Ensonda mu securite zitubuulidde nti wadde Gen Sejusa, pulezidenti Museveni yakkiriza okumuwummuza mu UPDF oluvanyuma lw’okumala ekiseera ng’alwanira mu kkooti n’okwenyigira mu byobufuzi obutereevu nga yakubirako ne Besiye kampeyini mu 2016, ng’ayagala amuwummuze, wabula akyagoberera entambula ze era buli wiiki alina okufuna lipooti okuva mu bitongole ebikessi okutegeera embeera gyalimu.
Batukakasizza nti abagenyi abasisinkana Gen Sejusa balina okusooka okusunsulwa securite n’ekakasa nti ebigenda okunyumizibwako si byabulabe eri gavumenti ya Museveni ono gy’amaze ekiseera nga yeewerera nga bwayagala eveeko.

EBY’OKUTTA ABANENE BANYIGEWO MUHOOZI

Gen Sejusa ye yasooka okufulumya ekiwandiiko ng’alumiriza nga bwewaliwo pulaani y’okusanyawo abanene mu UPDF ne mu byobufuzi nga batya nti bano baali bayinza okulemesa Gen Muhoozi Kainerugaba okusikira kitaawe ku bwapulezidenti.
Bino pulezidenti Museveni yabiwakanya era n’alagira okuggala empapula z’amawulire ezaafulumya ebbaluwa ya Gen Sejusa naye okuwona okusibwa mu kkomera, yaddukira e Bungereza wabula oluvanyuma baateesa ne Museveni n’akomawo kuno wadde nga oluvanyuma yamuggulako emisango ne bamusiba mu kkooti y’amagye.
ONO BWINO agezezzaako okutuukirira Gen Sejusa ku masimu ge agamanyiddwa okubaako ky’ayogera ku nsonga eno nga tegakwatibwa nga bwetunonyeza looyawe David Mushabe, omuyambiwe omukyala ye yakutte essimu ye n’atubuuza byetwagaza mukamawe, bwetumubuulidde n’atusuubiza okumuwa essimu zaffe atubuulire buli kimu wabula tuzzeemu okukuba amasimu ge nga tegakwatibwa okutuusa bwetugenze mu kyapa.
Ensonda zitubuulidde nti Gen Sejusa si ye yekka securite n’ebitongole ebikessi gwebirondoola, wabula abajaasi naddala abo abaali baagala enyo ebyobufuzi n’okubyenyigiramu babalondoola nga batya nti bayinza okukozesa obukugu bwabwe okutabangula eggwanga mu kalulu ka 2026.
Enkiiko okuli olwa Security Council ne UPDF High Command ezaatuula wiiki ewedde zakkaanya okunyweza ebyokwerinda mu bitundu bya Buganda ne Busoga nga kuno baagattako okuyisa ekiragiro okukola ku bannabyabufuzi bonna abakozesa olulimi olusiga obukyayi n’okuvuma pulezidenti Museveni n’abantu be.

EWA BOBI WINE KITOKOTA

Obunkenke bw’amaanyi nyo ku kitebe kya NUP e Makerere Kavule ne Magere mu maka ga pulezidenti waabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) nga eno yonna waasimbiddwayo kamera ezirengera obutereevu mu ofiisi ye ne mu nnyumba ye munda.
Bobi Wine ategeezezza nti kino kyakoleddwa securite okusobola okulondoola entambula ze n’okwetegereza abantu baasisinkana mu maka ge ne ku ofiisi ye n’agattako nti embeera eno yeeteereddwa ne ku bakulembeze b’ekibiina abalala ab’enkizo.
Ono abuulidde ONO BWINO nti yateereddwako n’abasajja abatambulira ku pikipiki ekika kya bodaboda n’emmotoka entono ezimulondoola ng’atambula. Baagasseeko okupangisa amayumba agamwetolodde nga bambega be bagasulamu.
Winnie Byanyima ye yasooka okulumiriza nga securite bweyasimba kamera ezirengera obutereevu munda mu nyumba yaabwe era kino kyabaleetera okubeera nga tebakyatuuza nkiiko za nkizo mu maka gaabwe nga kino kyebakoze ne ku Bobi Wine. N’ennyumba ezeetolodde amaka ga Besigye Byanyima alumiriza ezisinga bambega ba Museveni baazigula n’endala okuzipangisa.

LWAKI ABAZUNGU BAAGENZE EWA BOBI ?

Ku Mmande, ababaka b’amawanga g’omukago gwa Bulaaya baakyaddeko e Makerere ku kitebe kya NUP okubaako ensonga enkulu ze boogerako n’obukulembeze bwabwe.
Bobi Wine eyakulembeddemu ttiimu ya NUP yategeezezza nti Abazungu baabadde baagala kwogera ku pulaani gyebalina ku kalulu ka 2026 era baakozesezza omukisa guno okubabuulira okunyigirizibwa kwebayitamu omuli n’okuwamba abawagizi baabwe.
Wabula ONO BWINO akitegeddeko nti Abazungu bano okugenda ewa Bobi Wine embagirawo, baabadde bagenze kumusaba akkakkanye obusungu bwalina n’abawagizi be nga batya nti kino bwekitaakolebwa obutabanguko buyinza okubalukawo mu ggwanga mu kiseera ky’akalulu ate nga ne Museveni yeeyogerako nga kafulu w’okukola effujjo.

‘PROTEST VOTE’ YA BOBI

Bobi Wine yalangirira dda ng’akalulu ka 2026 bwekagenda okubeera ak’okwekalakaasa mu nkola gye yatuuma ‘Protest vote’ nga kuno yagattako okulagira abakulembeze b’ekibiina yonna gyebali okuzimba eggaali z’abavubuka zibayambeko okukuuma obuwanguzi bwabwe mu kalulu.
Kino kyatiisa nyo abakulu mu securite era ensonda zitegeezezza nti Abazungu bano okwogerezeganya ne Bobi Wine ng’ensonga eno baasooka kugitwala mu bakulu ku kitebe kya Bungereza mu Uganda ne basisinkana Bobi Wine.
Ono Bwino akitegeddeko nti amaanyi securite egatadde mu kuyigga abakulembeze b’eggaali okwetoloola eggwanga lyonna era bangi bakwatiddwa, kuno bagasseeko okulondoola entambula ya ssente mu NUP.
Ensonda zitubuulidde nti waliwo okutya nti embeera y’obunkenke bwegenda nga bweri, kyandiwaliriza gavumenti okuwera ekibiina kya NUP obuteetaba mukalulu ka 2026 nga bakiranga okwenyigira mu bikolwa by’ekijaasi ebimenya amateeka.
Ensonda zitegeezezza nti ensonga eno yayogeddwako nyo mu nkiiko za Security Council ne High Command wiiki ewedde.
TAGGED:
Share This Article