ABAKOZI ku KCCA ne bakkansala batiisizza okwelakakaasa olw’enkukakyuka ez’amaanyi akulira KCCA omupya Hajjati Sharifah Buzeki zaaleese mu kitongole.
Ensonda mu KCCA zitubuulidde nti Buzeki, yakyusizza ennaku z’omwezi abakozi ne bakkansala kwebabadde bafunira omusaala ekibasattizza olw’ensonga nti ku mirembe gy’ababadde bakulira KCCA omuli Jennifer Musisi ne Dorothy Kisaka, emisaala baali bagifuna ennaku z’omwezi 23 buli mwezi
kyokka okuva Buzeki weyatuula mu ntebe, kati abakozi ne bakkansala omusala bagufuna omwezi guweddeko abakozi kyebawakanya. Nti kubanga endagaano ze bakola ne bbanka ezibawola, bakkaanya nti ssente ezibatemebwako ku musaala okusasula ku mabanja bazifuna omwezi tegunaggwako, kyokka olw’okumenya endagaano olwa Buzeki okukyusa ennaku kwe basasulibwa, banka zibatadeko engasi olw’okulwawo okusasula, abamu baafunye obubaka obubatisatiisa bbanka okuwamba emmotoka n’amayumba bye baasingayo bbanka zeesasule.
Kigambibwa nti abakozi ne bakkansala ku City Hall abasinga emisaala gyabwe baagirya dda nga bayita mu kwewola, okugula amamotoka, okuzimba abalala ne bakola bizinensi ez’enjawulo ekyaviirako abamu ku bakkansla okuddukira ku kyeyo bagaziye ku nfuna yaabwe kubanga ku City Hall baalinga bagenda kwebuzaabuza n’okunywa ccaayi n’emmere bya Lukwago.
BAKKANSALA BANYIIVU
Omu ku bakkansala ku City Hall agambye ONO BWINO nti banyiivu n’enkola Buzeki gyaleese ku City Hall kubanga ebabazisa bubi, omusaala bafuna mutono kyokka gulwawo okutuuka ku akawunti emyezi esatu gye yaakamala mu ntebe ekiwadde bbanka ezaabawola okwagala okutwala emmaali yaabwe kyebatagenda kukkiriza era baluuse pulaani beegugunge nga bayita mu kuwanika ebipande ku miryango gya KCCA balage obutali bumativu eri Buzeki. Abalala bategezezza nti Buzeki okuva weyakwatagana ne loodi Meeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago, y’amubalira buli kimu mu KCCA. Abalala batiisizza n’okwambula Hajjati Buzeki singa agenda mu maaso n’okubasasula mu ngeri bog ye bagamba nti ebaliisa bubi ssente zaabwe.
WALIWO ABAKOZI ABAALI AB’EMPEWO
Ensonda zitegeezezza nti mu kulambula ebitongole Buzeki kwabaddemu nga yaakafuna omulimu, weyatuuka mu kitongole ekikulira eby’ensimbi mu KCCA yakizuula nti waliwo abakozi abaali basasulwa ab’empewo ng’abanene mu kitongole kino emisaala gino bagyesasula kwekusalawo okwongezaayo ku budde bw’okusasula kimusobozese okumanya abakozi abatuufu abalina okufuna omusaala n’emizimu egibadde gisasulwa.
KCCA EYOGEDDE
Omwogezi wa KCCA Daniel Nuwabine nti Buzeki akyekenneenya emisaala egisasulwa abakozi mu kitongole y’ensonga lwaki waliwo enkyukakyuka mu by’ensasula byonna webinaggwa abakozi bajja kusasulwa mu bwangu mu nnaku ezimanyiddwa n’olwekyo baguminkirizeeko.


