Abawala Abazina Ekimansulo Bafiiridde Mu Best Hotel e Busega: Omugagga Waayo, Abanene Mu Securite N’abasajja Abasiiba Beegadanga Babafunzizza…

BAMBEGA mu bitongole ebikessi nga bakulemberwamu ekikettera munda mu ggwanga ekya Internal Security Organisation (ISO) n’ekya poliisi ki Crime Intelligence, bazzeemu okunonyereza ku mugagga wa New Best Hotel e Busega ku biteeberezebwa nti waliwo abawala bamalaaya 3 abaafiiridde mu Hotel ye.

Hadijja Namagembe
3 Min Read
BAMBEGA mu bitongole ebikessi nga bakulemberwamu ekikettera munda mu ggwanga ekya Internal Security Organisation (ISO) n’ekya poliisi ki Crime Intelligence, bazzeemu okunonyereza ku mugagga wa New Best Hotel e Busega ku biteeberezebwa nti waliwo abawala bamalaaya 3 abaafiiridde mu Hotel ye.
Bambega batubuulidde nti abalala abanonyerezebwako be banene mu bitongole bya securite abatwala ebitundu by’e Nateete, Busega, Lungujja, Wakaliga, Kyengera, Nsangi nga bano babalumiriza okuzibikira amawulire gw’okufa kw’abawala bano abali wakati w’emyaka 20 okutuuka 30.
Bino we bibeereddewo nga bambega bakyanonyereza ku muwala Christine Babirye (23) eyatwala okwemulugunya mu securite ng’alumiriza abanene ku New Best Hotel okukukusa abawala abato okuva mu byalo ne babaleeta mu Kampala okukola obwamalaaya n’okuzina ekimansulo nga bazinira abasajja n’okubaweeweeta mu bitundu eby’ensonyi mu New Best Hotel.

ABAWALA ABAZINA EKIMANSULO GYE BABAGGYA

Okunonyereza kulaga nti abawala bano okusinga baggyibwa mu bitundu bya Ankole, Kisoro, Kabale, Hoima, Toro, Rwanda ng’okubaleeta mu Kampala babeera babasuubizza emirimu emisava ng’okukola mu Hotel nga basiimuula,  okwoza engoyte, kyokka bwe batuuka nga babakozesa bwamalaaya.
Babirye sitetimenti gyeyakola kyaddiridde okutabuka ne mukamawe Tom Bogere gwalumiriza okumusibya ku poliisi e Nateete okumala omwezi mulamba okutuusa ng’amusasudde emitwalo 50 z’amubanja.
Ono yategeeza nti yatandika okukola ku ‘Best’ -nga bwe basinga okugiyita mu January wa 2024 nga yali yaakakolera akaseera katono omwana we n’alwala nga ssente emitwalo 50 maneja z’amusaba yazimuwa kujjanjaba mwana we mu ddwaliro e Mulago nga bakkaanya okumusala ku musaala yeesasule.
Babirye alumiriza nti mukamawe yalaba anaatera okumalayo ssente ze n’atandika okumubala omufululo ekyamutabula ne bayomba nga kimuluma kubanga amukaka okwebaka n’abasajja ye nga gwebasasula olwokuba amubanja.

KIKAMBWE KU BEST!

ONO BWINO obutambi bw’alabyeko bambega bwe baakafuna ku Best bulaga abasajja nga n’abamu bagagga ab’amaanyi mu Kampala, abavuzi bataxi n’abasuubuzi, ‘abaana’ ba Boda nga beegadanga n’obuwala obulabika okubeera obuto nga kino bakikola mu lujjudde ng’abantu balaba wabula nga balabika ng’abatamidde.
Best emanyiddwa ng’ekifo abasajja gye bagenda okweggyako ebirowoozo nga kyettanirwa nyo n’abamenyi bamateeka ng’okutya securite kwerina nti abakola obutujju bagenda kukyeyambisa okuzimba agabondo gaabwe mu Kampala. Abategeera Best bagamba nti lino ly’ekkungaaniro oba ekitebe ky’okwegatta -‘sex’ mu Uganda olw’ebyo ebikolebwayo.
 Abakulira hotel eno nga bakulemberwamu omugagga John Ssebyala ensonda mu securite zitegeezezza nti baakuyitibwa bakunyizibwe ku bibogerwako.

OWA BEST KY’AGAMBA

ONO BWINO agezezzaako okutuukirira Bogere okubaako kyayogera ku kunonyereza okugenda mu maaso wabula ng’amasimu ge agamanyiddwa nga tagakwata ate aga Ssebyala nga tegaliiko.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *