BAPULEZIDENTI abeegattira mu mukago ogugatta amawanga ga Bulaaya ogwa European Union (EU), baminisita b’ensonga z’ebweru mu America, Bungereza ne bapulezidenti ba Africa n’abakulu mu kibiina ky’amawanga amagatte ekya United Nations (UN), abalwana okulaba ng’olutalo lw’omunda terubalukawo mu South Sudan erisinga obuto mu nsi yonna basannyaladde bwe bakitegedde nti tebalina kyebasobola kukola okutereeza embeera okuggyako nga bafunye olukusa okuva ewa pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni owa Uganda.
Okuva pulezidenti wa South Sudan Salvar Kiir bweyalagira okusibira omumyukawe asooka Dr. Riek Machar n’abenyumba ye omuli mutabaniwe ne mukyala we mu maka ge okutuusa nga okunonyereza kuwedde okuzuulira ddala oba talina mukono mu kuwagira akabinja k’abavubuka bamukwata mmundu aka White Army akagezaako okukozesa eryanyi okuwamba gavumenti ya Kiir.
Minisitule y’ebyamawulire e South Sudan yakakasizza nti singa kinaazuulwa nti Machar alina omukono mu kuwagira abayeekera abakola effujjo ku bantu ba bulijjo omuli n’okukwata abakazi n’okutta abajaasi ba gavumenti, waakuggulwako emisango gy’okulya mu nsi olukwe. Bano balabudde gavumenti z’Amawanga amalala naddala ez’Abazungu okukomya okweyingiza mu nsonga za South Sudan ne banyonyola nti bo ggwanga eryetongodde wadde tto erisobola obulungi okwekolera ku nsonga zaabwe nga tebeetaaga buyambi bwabwe.
Gavumenti ya Kiir okufulumya ekiwandiiko kino nga bapulezidenti b’amawanga g’Abazungu ne Africa nga bamutaddeko akazito okuyimbula Machar n’abantu ba famire ye nga balumiriza nti bwatakikola agenda kubeera atyobodde endagaano gye yateekako omukono ne Machar okukomya olutalo lw’ekiyeekera mu South Sudan omwali mufiiridde abantu abasoba mu 400,000 nga n’abalala babundabundira munda mu ggwanga lyabwe ne mu mawanga g’omulirwano naddala Uganda.
AKAZITO KASUSSE KU KIIR
Okuva endagaano eno bweyateekebwako emikono mu 2013, Kiir babadde bamutaddeko akazito okutegeka akalulu ka bonna bannansi balonde abakulembeze be baagala okubakulembera ekintu kyeyagaana ng’alumiriza nti gavumenti ye terina ssente za kutegeka kalulu ng’ensonda zirumiriza nti kino kye kyaleetedde bagenero mu ggye ly’eggwanga abakkiririza mu bukulembeze bwa Machar okutandikawo akabinja ka White Army okuwamba Kiir gwebalumiriza nti takyalina buyinza mu gavumenti wabula bamafiya abanyagulula eggwanga be bamutambuliza mu ntoli zaabwe.
Ensonda zitegeezezza nti Kiir alina obulwadde obumutawaanya nga yayagala dda okuwaayo obuyinza n’atuukirira ssaabalamuzi w’eggwanga eryo Chan Reec Madut ng’ono mukwano nyo gwa Ssaabalamuzi wa Uganda Owiny Dollo n’amusaba amukolere ekintu kimu alayize omumyukawe ow’okubiri ekintu kyeyagaana n’amutegeeza nti kityoboola endagaano gyeyakola ne Machar.
EBIRI MU NDAGAANO KIIR NE MACHAR GYE BAAKOLA
Okusinziira ku ndagano gye baakola, Machar nga mu kiseera ekyo balooya abaali bamuwabula baali bakulemberwamu Dollo, singa wabaawo embeera yonna ereetera Kiir obutabeera na busobozi bukulembera ggwanga, Machar omumyukawe asooka yaalina okutwala obuyinza wabula kino Kiir takyagala ng’amwekengera ate n’abanene mu gavumenti naddala Abadinka tebamukkiririzaamu.
EBIRAGIRO M7 BY’AWADDE BISATTIZA ENSI
Wiiki ewedde pulezidenti William Ruto owa Kenya era ssentebe w’omukago gwa East Africa, South Sudan mweri nga mmemba, yasindise musajjawe eyaakasubwa okulondebwa okulira ekibiina ekigatta amawanga ga Africa gonna ki African Union (AU) Raila Odinga okugenda okwetegereza embeera egenda mu maaso e South Sudan nga yabadde alina okwogerezeganya ne Kiir wamu ne Machar oluvanyuma akomewo amubuulire byasanzeeyo asobole naye okuwabula bakulembeze banne ku ngeri gyebalina okukwatamu ensonga ya South Sudan.
E SUDAN TULI KU BUNKENKE
Raila yategeezezza bannamawulire e Kenya nti yasisinkanye Kiir n’amubuulira embeera y’obunkenke gavumenti ye mwetambulira nga alumiriza nti Machar y’avunaanyizibwa ku mbeera yonna ebasattiza nga yaviirako n’okuttira Genero we ow’amaanyi mu nyonyi ng’abalwanyi ba White Army be baamutta.
ODINGA AKUBIRA M7 ESSIMU
Raila yayongeddeko nti oluvanyuma lw’okwogerezeganya ne Kiir, yamusabye amukkirize agende asisinkane Machar ng’anyonyola nti kino kyabadde kigenda kumuyamba okuwa mukamawe eyamutumye lipooti ejjudde ku nsonga eno ekintu Kiir kyeyagaanye n’amutegeeza nti olukusa lw’okulaba ku Machar alina kulufuna kuva Uganda ewa pulezidenti Museveni.
Raila yanyonyodde nti yagezezzaako okunonya Museveni ku ssimu era olwamufunye yamusabye okujja Entebbe gyebabeera boogerera ku nsonga ezo ekintu kyeyakoze nga tannadda Kenya kubuulira mukamawe by’asanze e South Sudan.
MACHAR ALUMIRIZA UPDF YA M7 OKUTYOBOOLA EDDEMBE MU S.SUDAN
Machar okukwatibwa nga yaakawandikira abakulu mu UN ng’abasaba bayingire mu nsonga za Uganda okusindika amagye gaayo mu South Sudan ng’alumiriza nti ekikolwa ekyo kityoboola amateeka agafuga enkolagana ya Uganda n’amawanga amalala nti tewali ndagaano yakolebwa wakati wa Uganda ne South Sudan okutwalayo amagye ga UPDF.
Ono yalumiriza nti UPDF yeegasse n’amagye ga South Sudan okutyoboola eddembe ly’obuntu mu ggwanga lyabwe omuli n’okukasuka bbomu n’ebikompola mu bifo omuli abantu ba bulijjo nga bangi battiddwa wadde nga tebalina misango.
Gen Muhoozi Kainerugaba aduumira UPDF yasekerera Machar n’amutegeeza nti bagenda kumusiba n’abasajjabe abamulwanirako mu White Army babatte bonna singa takkiriza kumutwalira Kiir gweyayogerako nga taatawe omuto era nti Machar mbu alina okufukamirira Muhoozi n’okukomba engatto ze amwetondere.
Muhoozi yawaga nti bakomando ba UPDF naddala ab’ekibinja kya Special Forces Command (SFC) abakuuma pulezidenti Museveni n’ebifone by’enkizo mu ggwanga baali bakooye okutta abalwanyi ba White Army wabula nabo bafulumya ekiwandiiko nga bawaga nga bwe basse aba UPDF abawera era bakyatta bangi.
LWAKI M7 KU SOUTH SUDAN AFIIRAWO
James Kakooza omubaka wa Uganda mu palamenti ya East Africa alumiriza nti Museveni alina endagaano y’ekyama gye yateekako omukono ne Kiir okumuyambangako essaawa yonna wabeera amwetaagira ng’eno y’ensonga lwaki bweyali asindika amagye ga UPDF eSouth Sudan teyalinda kufuna lukusa lwa palamenti nga n’olukiiko lw’amagye olw’oku ntikko olwa ‘The UPDF High Command’ teyabeebuuzaako okuggyako okuwa Gen Muhoozi ebiragiro mu bwangu okusindika amagye okutaasa Kiir.
Ibrahim Ssemujju Nganda omubaka wa Kira Municipality ategeezezza nti bakomando Museveni beyasindise e South Sudan nyongereza bwongereza nti amagye ga Uganda ge gakuuma Kiir n’ebifo eby’enkizo nga palamenti, banka enkulu mu ggwanga eryo.
Kakooza ayongerako nti Museveni tasobola kukkiriza muntu gw’ateesiga nga Dr. Machar kutwala buyinza e South Sudan kubanga abalabe be basobola okumukozesa okutabangula Uganda kubanga kino yakirozaako pulezidenti Omar Bashir eyali owa Sudan bweyateeka ssente mu bassaabayeekera okuli Joseph Kony owa Lord’s Resistance Army(LRA) ne Jamil Mukulu Kyagulanyi eyali aduumira Allied Democratic Forces (ADF) okumulwanyisa olw’okuba naye yali awagira abalwanyi abali baduumirwa omugenzi Dr. John Garanga abaali baagala South Sudan yeekutule ku Sudan ey’awamu ng’olutalo Museveni yaluwangula.
SSENTE UGANDA Z’EFUNA E SUDAN
Ono agasseeko nti omwaka Uganda etunda ebyamaguzi ebireeta ssente ezisukka obuwumbi 25 nga tasobola kukkiriza kufiirwa katale bwekatyo ate ne bannayuganda abasoba mu bukadde 5 bakolera South Sudan ng’alina okukakasa nti securite yaabwe eri gguluggulu nga tebattibwa nga bwegubadde gubeera.
Maj Gen Muhanga Kayanja aduumira amagye g’okuttaka yakakasizza nti Uganda yayongedde abalwanyi abalala e South Sudan okuyambako embeera wabula nga yeetaaga obuwumbi 36 okubeezaawo olutalo luno.
Ensonda zitegeezezza nti Uganda yankizo nyo eri South Sudan nga Kiir ne Machar bonna balina amaka mu Uganda ng’omu ku bo yawasa n’omukazi Munnayuganda era yaafumba ewuwe ng’ono muganzi w’omu ku baminisita ba pulezidenti Museveni ow’amaanyi nga omwamiwe yatuuka n’okumuloopa ew’omukulu ng’asaba amugambire ku mukulu munne yeesonyiwe mukyalawe ng’ekikolwa kye kyali kimutabangulira amaka.
ABALWANYI BA MACHAR BAKOZE OMUKAGO NE BASAJJA BA BASHIR OKUFUNZA BAKKOMANDO BA SFC
Okusinziira ku mukutu gw’amawulire ogwa Al Jazeera, amagye ga Sudan eyawaggulu bakoze omukago n’abalwanyi ba White Army okulwanyisa gavumenti ya Kiir gyebalumiriza nti ewagira abayeekera abaagala okubawamba nga bano be baali bakomando bakuuma Bashir ng’akyali mu buyinza aba Rapid Support Forces (RSF) nga bakolagana n’aba Sudan People’s Liberation Movement-North (SPLM-N).
UGANDA NE SUDAN MBU BAWAGIRA ABAYEEKERA
Gavumenti ya Sudan erumiriza nti Uganda ne Kenya nabo bawagira abayeekera abo ng’okuva obutabanguko bw’e South Sudan bwe bwabalukawo amagye ga gavumenti gafunzizza nyo abayeekera nga bagezaako okubafulumya ekibuga ekikulu Khartoum.
Okutya kw’amaanyi nti singa amagye ga Sudan gayambako Machar ne bawanba Kiir, babeera basobola okukozesebwa okuwagira abalabe ba Uganda nga kino Uganda erina okukirabuukirira mu bwangu.
ECONGO NAYO UPDF EKINTU KIGITABUSEEKO
Gen Muhoozi ng’akyalwana okunyweza embeera e South Sudan, ate mu Congo obubinja bw’abalwanyi nabo busitudde enkundi. Omwezi oguwedde omu ku baduumizi wa UPDF abaasindikwayo Col. David Byaruhanga yattiddwa.
Col Chris Magezi akola ng’omwogezi wa UPDF yategeezezza nti UPDF yalumbiddwa akabinja k’abalwanyi aka Cooperative for Development of Congo (CODECO) nga mukulwanagana kuno Col Byaruhanga yafunye ebisago eby’amaanyi nebamuddusa mu ddwaliro e Nakasero mu Kampala gye yafiira.
Col Byaruhanga y’omu ku balwanyi abakambwe, yaduumirako ebikwekweto ebiwerako e Karamoja ng’alwanyisa Abakaramoja abakozesa emmundu okubba ente.
Wadde Col Magezi teyayogedde muwendo gw’abajaasi abattiddwa mu bulumbaganyi buno, wabula MP Ssemujju alumiriza nti webatuukira okutta Col, Uganda erina okuba nga yafiiriddwa abajaasi bangi.
Col Magezi ategeezezza nti abalumbaganyi abasoba mu 500 battiddwa era Gen Muhoozi yalabudde nti bangi bakyattibwa n’alangirira nti obubinja bw’abayaga bwe bubeera bulowooza nti bw’amaanyi nyo nti era busobola okuwangula UPDF eggye lya Katonda nti beerimba ye ye ssaabaduumizi w’abayaga mu nsi yonna nga waakubatta abamalewo.
Ono ategeezezza nti obubinja obulwana ne UPDF e Congo bukozesa nyo ebikolwa by’obusamize nga balowooza nti bugenda kubayamba n’awera nti bwebatalokoka agenda kubasanyawo bonna.
Ensonda zitegeezezza nti pulezidenti Felix Tshisekedi owa Congo alina omukono mu kufunira obubinja buno ebyokulwanyisa ng’ayagala bumuyambeko okulemesa abayeekera ba M23 baalumiriza nti bawagirwa Rwanda okumuwamba.
Amawanga g’omukago gwa Bulaaya, Bungereza, America, Bufalansa n’amalala baateeka dda nnatti ku banene mu magye ne mu gavumenti ya Rwanda lwakuwagira bayeekera ba M23 wadde nga Paul Kagame owa Rwanda yalayira nti nnatti tezigenda kumutiisa kulwanirira Banyarwanda olw’eddembe lyabwe eriri mukutyobolwa mu Congo.
BAWAMBYE ABAVUZI B’ENYONYI NE BASABA OMUSIMBI
Obubinja bw’abayeekera mu Congo, wiiki ewedde bwawambye abavuzi b’ennyonyi okuli Munnayuganda n’omu South sudan ababadde bagenze mu bitundu by’e Bukavu okunonayo abakozi b’ekitongole kya Red Cross.
Ensonda zikakasizza nti Omu S.Sudan ye baamusse nga Munnayuganda yanunuddwa n’atwalibwa e Rwanda gyali mukufuna obujjanjabi nga ONO BWINo we yagendedde mu kyapa nga takakasizza oba waliwo ssente ezaasasuddwa okununula abantu bano.
OMUKUGU ALABUDDE
Charlse Rwomushana omutunuulizi w’ebyokwerinda alabudde nti embeera y’obunkenke egenda mu maaso mu mawanga ageetolodde Uganda yabulabe nyo nga essaawa yonna mu Uganda muyinza okubalukamu olutalo olugenda okuva mu ntalo UPDF zeerwana n’okuwakula wabweru wa Uganda.
Bambega Abagereza n’Abamerica abasinga obukessi mu nsi yonna baalabula dda bannansi baabwe abali mu mawanga agakola omukago gwa East Africa okwegendereza enyo entambula zaabwe nga batya nti essaawa yonna olutalo lwakubalukawo mu kitundu kino.


