Olutalo Okuggyawo BLB Ya Kabaka: Abanene e Mengo Abalya Mu Ddiiru Z’okutunda Ettaka Lya Beene Basattira…

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja, alagidde omuyambi wa pulezidenti Yoweri Museveni ku nsonga ez’enkizo Phiona Barungi mu bwangu ddala okulaba ng’ebiragiro bye yawadde omuli n’okuggalawo ekitongole kya Buganda Land Board (BLB) nga biteekebwa mu nkola.

Sengooba Alirabaki
9 Min Read
Kabka Mutebi, Minisita Maynja ne Bugaya wa BLB
MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja, alagidde omuyambi wa pulezidenti Yoweri Museveni ku nsonga ez’enkizo Phiona Barungi mu bwangu ddala okulaba ng’ebiragiro bye yawadde omuli n’okuggalawo ekitongole kya Buganda Land Board (BLB) nga biteekebwa mu nkola.
Minisita ebiragiro bino yabitadde mu lipooti nnamutaayiika gye yasomedde abantu abalina akakwate ku ttaka ly’abasikawutu erisangibwa e Kaazi mu Makindye Ssaabagambo gye yategeezezza nti ye kennyini ng’ayambwako Barungi n’omuwabuzi wa Museveni ku nsonga z’enjawulo Dr. Hillary Emmanuel Musoke Kisanja, ne Brig Gen Henry Isoke akulira akakiiko ka State House Anti-Corruption Unit akalwanyisa enguzi mu maka g’Obwapulezidenti be baagikoze oluvanyuma lw’okukola okunonyereza nga beesigama ku byafaayo, amateeka g’ettaka mu Uganda, ssemateeka wa Uganda, obuwangwa n’ennono za Buganda.

LWAKI MINISITA MAYANJA YAKOZE LIPOOTI ENKAMBWE KU BLB?

Mayanja anyonyodde nti okutandika ku mulimu gw’okunonyereza ku nsonga eno, kyaddirira okwemulugunya kwe baafuna okuva mu baffamire ya Ssekabaka Sir Daudi Chwa n’Omulangira George William Mawanda abalumiriza nti omugabo gwabwe gwabatwalibwako mu lukujjukujju abanene e Mengo abeekwese mu linnya lya Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi.
Mayanja anyonyodde nti ettaka ly’e Kaazi ly’erimu ku ttaka eringi Ssekabaka Chwa lye yagabana n’okugula ng’omuntu oluvanyuma lw’abakulu e Mengo nga bakulembeddwamu eyali Katikkiro Sir Apollo Kaggwa okukola endagaano ya 1900 n’Abangereza ng’ettaka eddala lisangibwa mu bitundu okuli Munyonyo, Lubowa, Nakigalala, Kigo, Busaabala, Kajjansi, Mmengo.
Minisita ategeezezza nti Ssekabaka Chwa nga tannakisa mukono-nga tannafa, ettaka lye lyonna ery’obwannannyini yalikubisa mu byapa wadde nga lyasigala liddukanyizibwa ekitongole ky’e Nkuluze ekivunanyizibwa ku kuddukanya obugagga bwa Kabaka wa Buganda abeera ku Nnamulondo.

CCWA AGABIRA ABASIKAWUTU ETTAKA

Mu 1938, Mayanja alumiriza nti Ssekabaka Ccwa yagabira Abasikawutu aba ‘Boy Scouts of Uganda’ yiika z’ettaka 100 e Kaazi era kino yakiteeka mu buwandiike n’alagira nti basooke babaweeko liizi ya myaka 99 nga bweginaggwako balibaweeko obwannanyini obwenkomeredde. Kino Ccwa yakikola olwokutya nti bwanaaba afudde abaliddawo bayinza okulibatwalako wabula ekyennaku Abasikawutu ekyapa baabawa kya liizi ya myaka 49.

YIIKA Z’ETTAKA ENDALA CCWA YAZIWA OMUSIKA WE

Yiika 20 ezaali zisigaddewo ku ttaka lya Chwa, Mayanja ategeezezza nti Ccwa yalaama liweebwe omusikaawe mu musaayi Omulangira Mawanda.

EKYAPA TEKISOBOLA KUBEERA MU MANNYA GA KABAKA

Era wano Mayanja bw’alagidde omuwandiisi w’ebyapa mu bwangu akole ekyapa bakikwase abaddukanya obugagga bwa Ssekabaka Chwa n’anyonyola nti tekisobola kubeera mu mannya ga Kabaka wa Buganda olwokuba nti Ssekabaka Sir Edward Mutesa ye yasikira Obwakabaka bwa Buganda okuva ku kitaawe ssekabaka Chwa.
Mayanja yeesigamye ku bbaluwa eyawandiikibwa omugenzi Joash Mayanja Nkangi eyaliko Katikkiro wa Buganda ng’akakasa kkooti nti eby’obugagga ssekabaka Chwa byeyaleka ku lulwe bya famire ye, era omusika w’Omulangira Mawanda nga ye Omulangira Namugala Mawanda Chwa asobola bulungi mu mateeka okubifunako obuyinza obubiddukanya ku lwa banne kubanga si bya Bwakabaka bwa Buganda, wabula bya famire ya CCwa nga yo ku lwayo nga Mengo yeepaatiikawo bwepaatiisi. Eno y’ensonga lwaki Obwakabaka bwali busasula obusuulu eri Omulangira Mawanda omusika w’omusaayi owa Ssekabaka Chwa olwokukozesa eby’obugagga bwe.
Mayanja ayongedde okwesigama ku bbaluwa eyawandiikibwa kamisona w’okupunta ettaka mu minisitule y’ebyettaka Henry Opio Ogenyi ng’akakasa kamisona omuwandiisi w’ebyapa nti ettaka ly’e Kaazi okuli Abasikawutu lyali lya Chwa ng’alirinako obwannanyini obwenkomeredde ng’omuntu wabula si Bwakabaka bwa Buganda.

ETTAKA LY’E KIGO SSI LYA BUGANDA

Mayanja ayongedde okulumiriza nti n’ettaka okutudde ekkomera ly’e Kigo si lya Bwakabaka bwa Buganda nga kino ekyesigamizza ku kiragiro Ssekabaka Chwa kyeyali awadde nga tanafa okulisengula ku ttaka lye balitwala ku ttaka lya gavumenti nga kino omusikawe Omulangira Mawanda kyeyagezaako okuteekesa mu nkola wabula Ssekabaka Mutesa eyali ku Nnamulondo n’amutegeza nga kino bwekyali kitasoboka kubaawo kubanga e Ndejje gyeyali ayagala ekkomera okusengulirwa tewaliiyo bizimbe mwebagenda kusibira basibe n’okukola emirimu gya gavumenti.
Ssekabaka Mutesa eyaliko pulezidenti wa Uganda Mayanja alumiriza nti yakiteeka mu buwandiike n’ategeeza mugandawe Omulangira Mawanda nti ekkomera lisigalewo wabula kyebagenda okukola kwekusala mayiro biri ez’ettaka ku mmayiro 18 Chwa zeyali awadde gavumenti ya Buganda ekkomera ly’e Kigo lituule okwo. Mayanja alagidde omuwandiisi w’ebyapa mu bwangu okukola ekyapa kya mmayiro ebbiri Mutesa zeyawaayo akikwase aba famire ya Chwa.
Minisita ategeezezza nti obufere bungi n’okukyusa ebiwandiiko ebizze bikolebwa ku ttaka ly’e Kaazi nga baatondawo n’ekibiina kya The Uganda Scouts Association Limited ekirina banyini kyo okuddukanya emirimu gy’Abasikawutu nga ekigendererwa kyali kyakubba ttaka ekintu Omumbejja Diana Muggale kyeyalengerera ewala n’akiwakanya era minisita alagidde omuwandiisi w’amakampuni mu ggwanga okuwanduukulula ekitongole ekyo ng’alumiriza nti kyawandiisibwa mu bumenyi bw’amateeka.
Minisita anyonyodde nti The Uganda Scouts Association Limited  olwawandiisa kampuni yaabwe ey’obuntu nga tebasoose kwebuuza ku Boy Scouts and Girl Guide ekyawandiisibwa mu mateeka, kye baasookerako okukola kwali kutunda ttaka ly’Abasikawutu ng’alumiriza nti bonna be baaguza baagula mpewo era alagidde ebyapa byabwe bisazibwemu mu bwangu olwo aba Boys Scouts and Girls Guide bakkaanye ku mannya mwebalina okuwandiisa ekyapa kyabwe ekibadde kyabaferebwako kibaddire.
Mayanja asabye minisitule y’ebyenjigiriza okuyambako Abasikawutu okutereeza ekibiina kyabwe n’okumalawo emivuyo egibadde gikolebwa abafere.

ETTAKA SSI LYA BWAKABAKA

Minisita ayongedde okukakasa nti kyakolebwa mu bumenyi bw’amateeka okukyusa ebyafaayo n’obwannannyini obulaga nti ettaka lya Chwa lya Bwakabaka bwa Buganda era alagidde ensobi zino zitereezebwe mu bwangu mu bitabo bya gavumenti era ekyapa ekipya kikolebwe kikwasibwe aba famire ya Chwa.

LAYISINSI YA BLB ESAZIBWEMU

Mayanja alagidde omuwandiisi w’amakampuni okusazaamu layisinsi eyaweebwa Buganda Land Board -BLB ng’alumiriza nti yawandiisibwa mu bumenyi bw’amateeka nga kino okutereezebwa ayagala palamenti ekole ennoongosereza mu mateeka agafuga obukulembeze bw’ensikirano nga muno mwebagenda okuyita okuwandiisa ekitongole ekipya omugenda okuteekebwa eby’obugagga by’Obwakabaka omuli ne mmayiro z’ettaka 16 ezaabaweebwa Ssekabaka Chwa.

MMENGO EDDIZZA MAYANJA OMULIRO

Denis Bugaya ayogerera Buganda Land Board alumirizza Mayanja okubeera n’enge ey’obuntu ku Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ng’amusabye nti bwaba alina ekintu kyonna ky’amubanja oba ky’abanja famile ye akyogere Abaganda balina obusobozi bw’okumusasula ekyo nakyo kiggwe.
Ono yeewunyizza nyo Mayanja agamba nti yasoma nyo amateeka obutamanya nti Buganda Land Board yawandiisibwa mu mateeka era esasula omusolo okuva n’ekitundu ekimusasula omusaala buli mwezi, okumugulira emmotoka kapyata mwatambulira, okusasula abakuumi b’emmundu abamutambulirako kubanga atya okumutuusaako obulabe olw’okunyiiza enyo abantu n’emisoso emirala gavumenti gyemukolera omuli n’okumujjanjaba.
Bugaya alayidde nti Mayanja ne bwanaakola atya ettaka ly’e Kaazi ligenda kusigala nga lya Kabaka kubanga yalifuna mu mateeka nga bwabeera alina obujulizi nga bweyatadde mu lipooti ye kale agende mu kkooti bamuswalizeeyo nga bwe bazze bakola ku banne baawaga ne beepima mu Kabaka.
Bugaya ategeezezza ONO BWINO nti bo nga Obwakabaka bakolagana bulungi n’obukulembeze bw’Abasikawutu era bakimanyi nti Kabaka ye mukama waabwe ng’ekiseera kyonna babadde balwanyisa obufere obuzze bukolebwa ku ttaka ly’e Kaazi omuli n’okulitunda nga bonna abakikola bagezaako nga bwebasobola okulaba nga bakisasulira.
Ensonda e Mengo zitubuulide nti bannamateeka b’Obwakabaka nga bakulemberwamu ssaabawolereza Owek. Christopher Bwanika ne balooya ba Kabaka ng’omuntu nga bakulemberwamu Edwin Karugire mukoddomi wa pulezidenti Museveni baatandise  dda okubikkula amateeka okulaba oba basobola okuggula emisango ku Mayanja ng’omuntu olwokuvvoola Kabaka ng’omuntu ne offisi ye nga baagala kkooti emuyiseeko ekiragiro ekimukomako obutaddayo kuyisa linnya lya Kabaka mu kamwa ke.
Wabula Mayanja gye buvuddeko yawaga n’abuulira ONO BWINO nti mu by’amateeka mu Uganda tewali amusobola nga waliwo omufere w’e Kiboga eyamwesimbamu n’amuwawaabira mu kkooti nti amwogerako nyo n’okumulemesa okukozesa ettaka lye lye yali afeze ku bantu, ng’ono yamuwangula bubi omulamuzi n’alagira amuliwe ssente zonna zaasaasanyizza mu kkooti, Mayanja yamusaba obukadde 100 obwa ssente za Uganda ate olwokuba ye musajja mugagga nnyo, yaziwa looya we eyawoza omusango ng’akasiimo.
Share This Article