Bakazi Ba Besigye Balojja Ekkomera: Nyanjura Ne Turinawe Babanyize Ne Beeyambira Mu Kabbaketi…

OMUMYUKA w’Omuloodi wa Kampala Doreen Nyanjura, mukwano gwe Ingrid Turinawe ne bannaabwe abalala bwe baakwatibwa ku misango gy’okwekalakaasa nga bawakanya gavumenti ya pulezidenti Museveni obutatwala mukama waabwe Dr. Kizza Besigye mu kkooti za bulijjo oluvanyuma lwa kkooti ensukkulumu okulangirira nti kimenya mateeka abantu ba bulijjo okuwoleza mu kkooti y’amagye, baakitegedde nti abasirikale b’amakomera tebalina kisa kyonna ku basibe.

Editor Ono Bwino
2 Min Read

Bano baalina okudda mu kkooti wiiki ewedde okusaba okweyimirirwa bawoze emisango gy’okwefuula ekitagasa nga bava wabweru w’ekkomera, wabula ne bagaana ebiragiro by’abasirikale b’amakomera okubambaza engoye endala ezitaliiko bifaananyi bya Besigye ne munne Hajji Obed Lutale Kamulegeya eza kkala ya ‘Blue’ ze baabakwatiramu nga beekalakasa nga balumiriza nti okubambaza engoye endala omuli n’ezaamakomera eza ‘Yellow’ kityoboola eddembe lyabwe ery’obuntu.
Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Winnie Nankya Jatiko yakkiriziganya n’abasirikale b’amakomera nti bano baleetebwe mu kkooti nga bambadde engoye ezitalaga byabufuzi n’abongezaayo okutuusa wiiki eno gye baalabiseeko okusaba okweyimirirwa.
Bano baategeezezza nti okwekalakaasa okugaana engoye ezaali zibaweebwa kyanyiiza nnyo abakulu mu kkomera e Luzira ne babawa ekibonerezo kyakubasibira mu busenge bokka nga tebavaamu okumala ennaku 3 nga mwebabaweera akawunga k’ekkomera ak’ekibulooka, ebijanjaalo n’obuugi buli kumakya.

BEEYAMBIRANGA MU KABBAKETI

Bano ekyasinga okubaluma, kwekubawa kabbaketi kamu ke baateeka mu busenge mwe baabasibira nga mwe beeyambira nga balina okutya nti embeera eyo gye baayitamu eyinza okubalwaza ebirwadde ebikambwe.
Omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu Agatha Atuhairwe eyabakyaliddeko ategeezezza nti Turinawe ne Nyanjura abasirikale b’amakomera baagaana okubasibira mu kasenge akamu buli omu ne bamusibira mu kake nga balowooza nti bano bayinza okuleeta ensasagge mu kkomera.
Wabula bano bwe baviiridde mu kkomera ng’okwekalakaasa kwabwe kuvuddemu ebibala kubanga Dr Besigye ne munne Lutale baatwalibwa dda mu kkooti ya bulijjo e Nakawa gye baggulirwako emisango egyekuusa ku kulya mu nsi olukwe.
Share This Article